Ebyamaguzi ebyaziyizibwa abyebyo ng’okuyingizibwa oba okufulumizibwa kwabyo mu Uganda kwassibwako obukwakkulizo ng’era kuteekeddwa okuyisibwa mu mitendera gy’okuweebwa olukusa okuva eri ekitongole kya gavumenti. Ebyamaguzi ebyaziyizibwa bisobola okuyingizibwa oba okufulumizibwa mu ggwanga singa oyo abiyingiza aba afunye olukusa. Okugeza emmere eba yeetaaga olukusa okuva mu minisitule okuli ey’ebyobulamu n’ebyobulimi, ate eddagala lyetaaga okukakasibwa abakugu ba gavumenti mu by’eddagala.
Weetegereze: Ab’obuyinza bwe baba bagaanyi okuwa pamiti olw’ensonga ez’enjawulo okugeza ebyobulamu, ebyokwerinda n’ensonga endala, ebyamaguzi ebiyingizibwa mu ggwanga biboyebwa
Ebyamaguzi ebyaziyizibwa bitwaliramu bino wammanga;
|
S/N |
Ebyamaguzi ebyaziyizibwa okuyingira mu Uganda |
Ebyamaguzi ebyaziyizibwa okufulumizibwa mu Uganda |
|
1 |
Ebyuma aebikozesebwa okussa sitampu ku mabaluwa n’ebitereke (Postal Franking Machines) okuggyako nga biyingizibwa oluvannyuma lw’okuweebwa olukusa ekitongole ekikwatibwako ensonga okuva mu limu ku mawanga g’omukago ga East Africa. |
Ebyamaguzi bino wammanga tebikkirizibwenga kufulumizibwa ggwanga ng’omuntu — · Ebyamaguzi ebiterekeddwa mu warehouse; · Ebyamaguzi ng’omusolo ogwabisasulirwako gwa kuddizibwa eyabiyingiza mu ggwanga; · Ebyamaguzi ebiyisibwa mu Uganda okwolekera eggwanga eddala (Transhipped goods). |
|
2. |
Emitego egirina obusobozi okukwata ebisolo by’omunsiko ng’oggyeeko ebyo ebiweereddwa olukusa erimu ku mawanga g’omukago gwa East Africa |
Ebifulumizibwa eggwanga ebyazizibwa nga bwe birambikiddwa mu Schedule esooka mu tteeka lya Consumer Protection (Export Control) Regulations 2000 1. Omuceere 2. Obuwunga bw’engano 3. Omusenyu 4. Limestone 5. Seminti 6. Engoye z’okutundibwa mu mawanga okuli Amerika ne Canada 7. Ekyobugagga kyomuttaaka ekya diamond ekitannagattibwako mutindo
|
|
3 |
Ebyuma n’amayinja ag’omuwendo. |
|
|
4 |
Ebyokulwanyisa nga bwe birambikiddwa mu Chapter 93 ey’engeri ebiwandiiko bya Kasitomu gye birambikibwamu. |
|
|
5 |
Ossein and bones treated with acid. |
|
|
6 |
Amagumba n’amayembe g’ebika byonna (nga kuno kw’otadde n’ensaano eggyibwa mu mayembe n’amagumba ago. |
|
|
7 |
Amasanga g’enjovu mu mbeera yonna gye gaba galimu. |
a) Ebyamaguzi byonna ng’okubifulumya eggwanga kwassibwako obukwakkulizo mu tteeka lino oba mu tteeka lyonna erigobererwa erimu ku mawanga g’omukago gwa East Africa; b) Waste ne scrap of ferrous cast iron; c) Embaawo nga ziggyibwa mu kimu ku bibira ebisangibwa mu limu ku mawanga ga East Africa; d) Ebyennyanja ebibisi ebitannagattibwako mutindo (Empuuta n’engege); e) Amanda agakozesebwa mu kufumba. f) Baatule z’emmotoka enkadde n’ebyuma byonna ebikadde |
|
8 |
Amannyo g’envubu mu mbeera yonna gye gaba galimu. |
|
|
9 |
Amayembe g’enkula, mu mbeera yonna gye gaba galimu |
|
|
10 |
Amasanga amalala gonna |
|
|
11 |
Ensaano ekolebwa mu masanga g’enjovu |
|
|
12 |
Ekikaata ky’enfudu (Tortoiseshells, amagumba g’ekyennyanja ekika kya whale, ebiviiri byakyo, amayembe g’ebisolo byomunsiko, enjala zaabyo, nga bino byonna tebinnayongerwako mutindo. |
|
|
13 |
Coral n’ebirala ebibifaanana nga tebyongeddwako mutindo, crustaceans oba echinoderms n’amagumba g’ente, yadde ensaano eba eggyiddwa mu magumba gano. |
|
|
14 |
Ebyoya n’emifaliso ebikoleddwa mu biva ku nsolo. |
|
|
15 |
Spent (irradiated) fuel elements (cartridges) of nuclear reactors. |
|
|
16 |
Amasanga g’enjovu agongeddwako omutindo n’ebigeetooloolerako. |
|
|
17 |
Amagumba, ebikaata by’enfudu (tortoise shell), amayembe, n’ebintu ebirala bingi ebiggyibwa ku bisolo byomunsiko nga bisobolwa okuwundibwa. |
|
|
18 |
Ebintu byonna ebyonoona olububi mu bbanga nga bwe birambikiddwa mu ndagaano okuli eya Protocol (1987) ne Vienna Convention (1985). |
|
|
19 |
Ebintu ebikyusiddwamu mu buttoned bwabyo mu nkola ya sayansi (genetically modified products) |
|
|
20 |
Ebika ny’ebyennyanja ebitali bya mu Uganda oba egg of progeny. |
|
|
21 |
Ebisolo n’emiti egiri mu ttuluba ly’ebyo ebiyigganyizibwa ng abwe birambikibwa mu Endangered CITES March 1973 n’ennongoosereza zonna ezaakolebwamu |
|
|
22 |
Emipiira emikadde |
|
|
23 |
Eddagala erikozesebwa mu kujjanjaba abaalwala emitwe |
|
|
24 |
Ebintu ebisangibwa mu makaddiyirizo |
|
|
25 |
Ebyamaguzi ebirambikiddwa mu Chapter 36 ey’engeri ebiwandiiko bya Kasitomu gye birambikibwamu (okugeza, persuasion caps, detonators, signalling flares). |
|
|
26 |
Ebitundu by’emmundu n’ebyokulwanyisa ebirala (Ekitundu XV eky’enkola ya Harmonised Commodity Description and Coding System), oba ebyamaguzi bya plastics wansi wa Chapter 39 ey’engeri ebiwandiiko bya Kasitomu gye birambikibwa |
|
|
27 |
Emmotoka ezikozesebwa ng’ebyokulwanyisa ng abwe birambikiddwa mu heading No. 8710 mu ngeri ebiwandiiko bya Kasitomu gye birambikibwamu |
|
|
28 |
Ebitangaaza ebikozesebwa n’ebyokulwanyisa mu kiseera ky’olutalo okuggyako ng’ekitangaaza ekyo kyakolebwa ku ky’okulwanyisa ng’era kireeteddwa kwekiri okusinziira ku Chapter 90 ey’engeri ebiwandiiko bya Kasitomu gye birambikibwa |
|
|
29 |
Obusaale, fencing foils oba toys nga bwe biragiddwa mu Chapter 95 ey’engeri ebiwandiiko bya Kasitomu gye birambikibwa |
|
|
30 |
Ebitundu by’emmundu n’ebyokulwanyisa ebirala eby’enjawulo eby’enjawulo ebiri wansi wa heading No. 9705 oba 9706 ey’engeri ebiwandiiko bya Kasitomu gye birambikibwa. |
|
Weetegereza: Teri muntu yenna anakkirizibwanga okuyingiza emmere ey’ekika kyonna okuggyako ng’ebbanga ly’enaamala nga tennayonooneka terisukka bitundu 50 ku 100 (50%) eby’ebbwanga emmere eyo ly’eba emaze ku mmeeri ng’ereetebwa mu Uganda.
Okulabula: Obubaka buno bugendereddwamu kulambika bawi baffe ab’omusolo ng’era busobola okukolebwamu ennongoosereza mu mateeka agalambika enkungaanya y’omusolo.