WEYAHWUSI
Weyahawusi ya Kasitomu kye kifo ekyaweebwa Kamisona wa Kasitomu olukusa okuterekamu ebyamaguzi ebirina okusasulirwa omusolo kyokka nga tegunnasasulwa.
Emitendera gy’okussa ebyamaguzi mu weyahawusi gigendererwamu kukuuma byamaguzi n’okukakasa nti tewali kibulira mu weyahawusi, awamu n’okulambika abakozi n’abasuubuzi ku ngeri ebyamaguzi gye bikolebwako mu weyahawusi. Emitendera gino gigabanyizibwamu engeri okuli okutuusa ebyamaguzi ku weyahawusi, okubyekenneenya, okubikolako mu weyahawusi n’okubiwa ba nnyini byo okubitwala.
Ebyetaagisa
Emigugu gy’amawanga magatte (groupage cargo) kwe kugatta emigugu egy’enjawulo okuva ku bannannyini gyo ab’enjawulo nga basuubula mu ggwanga lyerimu ne biggattibwa mu konteyina emu nga bitwalibwa mu ggwanga limu nga wano bikolebwako lumu aba Kasitomu.
Buli mugugu guteekeddwa okubeera ne House Bill of Lading nga kino kye kiwandiiko ekiraga nannyini gwo omutuufu, ebigukwatako, obungi bw’ebyamaguzi ebigulimu n’obuzito bwagwo. Ekiwandiiko kya House Bill of Lading bwe bukakafu obulaga obulaga obwannannyini omusuubuzi bw’aba alina ku byamaguzi ebyo. Era kye kiwandiiko ekisooka ekisobozesa asaabaza ebyamaguzi oba omusuubuzi okukola ku nsonga z’omusolo gwa Kasitomu gw’aba alina okusasula oluvannyuma ne bimuweebwa.
Obubaka buno bugendereddwamu kumanyisa na kulambika bawi ba musolo. Tebulina kutwalibwa kiseera kyonna nga tteeka kubanga amateeka ku musolo gakyuka obudde bwonna.