Situudiyo

Situudiyo kye ki?

Kkampuni omukolebwa, ennyumba omukolebwa, situudiyo omukolebwa ye kkampuni oba situudiyo ekola emirimu mu kitundu eky’eby’emizannyo, ebifulumizibwa mu tekinologiya owawaggulu, firimu, telefayina, ladiyo, obuzannyo obusesa, okuzanyirira okwetabwamu abalabi, obuzannyo bwa vidiyo, emigatta byalo, muzik (ebivuga oba amaloboozi) ne vidiyo/obutambi

Byetaba mu bizineesi efulumya ebiyiiye oba ebintu mu ngeri ezenjawulo omuli telefayina n’obulango ku laadiyo, amaloboozi/ebivuga ebiwulibwa n’ebirabwako/vidiyo, firimu, pulogulaamu za telefayina, pulogulaamu za laadiyo n’ebirala.

Add to Bookmarks
Print Friendly, PDF & Email
(Visited 20 times, 1 visits today)

Bizineesi ya situudiyo yetaagibwa okuwandiisibwa ne;

  • Uganda Registration Services Bureau (URSB) ku lw’okuwandiisibwa kwa kkampuni
  • Uganda Revenue Authority ku lw’emisolo
  • Local Council Authority okugeza KCCA, municipal council okufuna layisinsi ekkukkiriza okutunda n’okugula.

Weetegereze:

Oluwandiisibwa, bizineesi yandyetaagibwa okugondera ebyetaago by’ebibiina ebiteekeddwawo mu mateeka nga;

  • Uganda Communication Commission (UCC)
  • Minisitule ye byamawulire n’okulungamya mu ggwanga lyonna

Minisitule ya gender labour ne social development ey’abakozi

Ku lwa ssekinoomu

  • Endaga muntu oba kaadi endala zonna bbiri ezikwogerako; paasipooti, pamiti y’emmotoka, kaadi okulonderwa, kaadi ey’okukyalo eva ewa kyayimaani, kaadi y’okumulimu, kaadi y’obubuddami, sitatimenti ya banka eraga ennyinga n’ensasanya, pamiti ekkukkiriza okukolera mu Uganda, kaadi ya ssente, Visa, kaadi y’ekittavvu ky’abakozi (NSSF) n’ebirala.
  • Satifiketi ey’obuwandiike (bw’oba oli mu bizineesi)
  • Sitatimenti y’ebikukwatako n’endagaano z’abeggasi (eri abeggasi)

Eri atali ssekinoomu

  • Foomu nnamba abiri (20) eya kkampuni
  • Satifiketi eraga okutondebwawo kwa kkampuni

Nnyiga wano eri ebyetaagisibwa okuwandiikibwa

  • Wetaagibwa okukyalira omutimbagano ku kibanja kya URA ura.go.ug
  • Nnyiga wano okwewandiisa nga ssekinoomu
  • Nnyiga wano okwewandiisa nga atali ssekinoomu

  • Nnyiga wano ku ddembe lyo ng’omuwi w’omusolo.
  • Nnyiga wano ku buvunanyizibwa bwo ng’omuwi w’omusolo.

Emisolo egiteekebwa ku kkampuni/bizineesi ezikola ebya situudiyo mulimu gino;

Omusolo ku Nnyingiza – gukola ku bonna, oba ssekinoomu oba atali ssekinoomu eyetabye mu nkola eno.

Weetegereze: Omutemwa gw’omusolo ku nyingiza eyatali ssekinoomu guli ebitundu 30% ku nnyingiza eyawamu eya bizineesi esalibwako (ennyingiza mu mugatte eyawamu yawuzaako okutoolebwako okukkirizibwa).

Wazira omutemwa gw’omusolo ku nnyingiza eya ssekinoomu gwesigamizibwa ku kika ky’ennyingiza omuntu mwagwa.

Nyiga wano ku mitemwa gy’omusolo ku nnyigiza

Omusolo ku bitongole oba kampuni

Gwe musolo oguteekebwa ku batali ssekinoomu nga ebitongole oba kkampuni abali mu nkola eno ku mutemwa ogwemanyi gwa bitundu assatu ku kikkumi (30%)

Omusolo ogwa Namulanda (VAT)

Omusolo gwa namulanda (VAT) musolo ogw’obuliwo ogugibwako ku mutemwa gwa 18% ku byonna ebikolebwa/ebifulumizibwa abantu abasasuzi b’emisolo kwegamba abantu abawandiisibwa oba abetaagisibwa okuwandiisibwa ku lw’ensoga za VAT. Omuwaatwa ogutandikibwako okuwandiisibwa ku VAT gwe mugatte/omuwendo ogw’omwaka ogussukka obukadde 150 oba obukadde 37.5 mu myezi essatu (3) egisooka egy’omudiringana.

Nyiga wano kubisingawo ku VAT

Weetegereze:

Bonna abawi b’omusolo abawandiisiddwa ku musolo ogwa namulanda (VAT) kibakakatako okuwandiisibwa ku EFRIS n’okuwa e-yinvoyisi (yinvoyisi eya EFRIS)

Nyiga wano ku ngeri y’okuwandiisibwa ku EFRIS

Omusolo ogugyibwa ku ssente ezisasulwa abakozi oba abantu abakuwa ebyamaguzi

  • Omusolo ogugyibwa ku bantu abakuwa ebintu – bwoba nga omanyikiddwa mu butongole nga agenti w’omusolo guno, weetaagibwa okugyako omusolo ku mutemwa gwa 6% okuva eri abakuwa ebintu abatundira ku muwendo ogussukka UGX 1,000,000 mu kutunda kumu.
  • Omusolo ogugyibwa ku nsasula ekolebwa eri abazanyirizi abatali ba nansi ba Uganda – omusolo guno gusalibwako ku mutemwa gwa 15% okuva ku nsasulwa eyawamu etanatoolwako efuniddwa omuzanyirizi atali munansi wa Uganda. Omusolo gusalibwako ne gusasulwa ng’omuzanyirizi oyo tanafuluma ggwanga.
  • Omusolo ogugyibwa ku nsasulwa eri abazanyirizi abawano mu ggwanga – omusolo guno gugyibwako ku mutemwa gwa 6% okuva ku nsasulwa eyawamu etanatoolwako ne gusasulibwa eri URA.

Nyiga wano ebisingawo ku musolo ogugyibwa ku ssente ezisasulwa abakozi oba abantu abakuwa ebintu oba empeereza.

Omusolo ogugyibwa/ogusalibwa ku ssente omukozi zafuna okuva mu kukozesebwa

Omusolo guno gukola ku muntu oyo alina abakozi (abamanyirivu oba abaalejaleja) abafuna mu mugatte mu bungi bwa mitwalo abiri mwesatu n’ekitundu ensimbi za Uganda (Ugx. 235,000) buli mwezi. Enkola y’omusolo guno gugyibwako/gusigazibwa buli mwezi.

Nyiga wano ku mitemwa gy’omusolo ogugyibwa ku sente omukozi zafuna kuva mu kukozesebwa.

Ennyanjula eno ekolebwa nga ennyanjula endala ku musolo ku nnyingiza.

Nyiga wano ku ngeri y’okuwaayo ennyanjula.

Bw’omaliriza okuwaayo ennyanjula, wetaagibwa okusasula emisolo egibaliddwa oba egiragiddwa ng’okozesa engeri eziriwo gamba nga banka, mobile money oba essimu, VISA, Mastercard, EFT, RTGS, USSD code (*285#) ku ssimu n’enkola endala.

Weetegereze: Olunaku lw’olina okusasulirako omusolo lwe lumu n’oluweebwako ennyanjula.

Nyiga wano okuwandiisa ensasula

Bwoba tosobola kwewandiisiza ku mutimbagano, kyalira ofiisi ya URA ekuli okumpi okuyambibwa oba kuba ku ssimu etali ya kusasulira 0800117000/0800217000 oba WhatsApp: 0772140000

 

 

Print Friendly, PDF & Email
Add to Bookmarks (0)
Skip to content