
Bashir Kanaakulya – Omuntu ali mu mulimu gwa bulooka w’amayumba n’ettaka alina kusasula misolo ki, kuba ffe abamu twakayingira bizinensi.)
Mwami Kanaakulya, omuntu ali mu mulimu gw’obwa bulooka w’ettaka n’ennyumba afaanana omuntu omulala yenna eyeenyigira mu bizinesi. Bw’oba okola omulimu ogwo, osuubira okwewandiisa ku musolo, okukuuma ebiwandiiko n’okussaamu litaani ku nnyingiza. Bw’otandika okukola amagoba oba okufuna ennyingiza esukka obukadde 10 mu mwaka, osuubirwa okutandika okusasula omusolo ku nnyingiza (Income Tax).
Juliet Ahabwe e Isingiro – Mbuuza n’ekitongole kya URA nakyo kiwa omusolo oba balina ekisonyiwo?
Ekitongole kya URA tekikola bizinesi kufuna magoba, wabula kyatondebwawo kukungaanya musolo oguweerezebwa mu ggwanika ly’eggwanga. Kyokka ekitongole kino kisobola okutunda ebyamaguzi ku nnyondo n’ekigendererwa ky’okununula omusolo. Mu mbeera endala ekitongole kiggya omusolo ku musaala gw’abakozi baakyo ne gusindikibwa mu ggwanika ly’ensimbi z’eggwanga.
Emabega akakiiko ka Palamenti aka COSASE keemulugunya ku ngaba y’emirimu mu kitongole kya URA etawa mukisa bantu ba bitundu byonna ebya Uganda. Ensonga eno mugituusizzaawa okugitereeza?
URA kitongole ekigaba emirimu okuyita mu mitendera egijjude obwerufu. Emirimu gino girangibwa okuyita mu mikutu gy’amawulire egy’enjawulo, abalina ebisaanyizo ne bassaamu okusaba. Okugezesa okwenjawulo kukolebwa okusunsula ababa bataddemu okusaba. Bano bayisibwba mu kakungunta ne muggyibwamu abo abanywedde akendo mu balala. Emirimu gino gigabwa awatali kusosola mu kikula kya muntu, eddiini, eggwanga oba ensonga endala yonna.
Ismaile Kabagambe – Mu mbeera eri mu ggwanga nga bizinensi zigwa lwa misolo, nga URA mulowooza ku ky’okukendeeza emisolo ku bintu?
Mwami Kabagambe, bizinesi zitandika okusasula omusolo ku nnyingiza nga zisussa ettunzi lya bukadde 10 omwaka oba nga zitandise okukola amagoba, kasita oba ng’otuukirizza obuvunaanyizibwa bw’okutusiigira ekifaananyi kya bizinesi yo ng’oyita mu kussaamu litaani, nga kino kikolebwabuli mwaka. Mu Uganda, bizinesi tezigwa lwa musolo gwokka. Omusolo ku nnyingiza gusasulwa ku magoba, n’olwekyo kapito wa bizinesi takwatibwako. Ng’ekitongole, tulowooza nti singa buli muntu asasula omusolo gw’alina okusasula, ekiseera kijja kutuuka ng’omusolo ogulina okusasulwa kukenddemu.
Waliwo abantu abatera okutulumba nga beeyita bakozi ba URA kyokka nga tebalina kiboogerako. Tukakasiza kuki nti si bafere?
Omukozi wa URA omutongole yekka y’ateekeddwa okujja ku bizinesi yo ku nsonga z’omusolo, ng’era ateekeddwa okuba n’ebimwogerako nga Identity Card y’omulimu erina okuba n’akafaananyi na ki ky’akola mu kitongole. Ebiseera ebimu abakozi bongerezaako okuba ne uniform okuwandiikiddwa amannya gaabwe. Bw’oba weekengedde omuntu yenna, tukubire ku ssimu; 0772142075, ojja kuyambibwa.
URA nsaba kutuyamba kuba tulina akabiina kaffe ku kyalo mwe tuzze tutereka ssente okuva mu January okutuuka mu December/ Bwe twatuuse okugabana ssentebe yatugambye nti mwamutemyeko omusolo gwa kakadde kalamba. Kino kisoboka ng’ekibiina kyaffe si kiwandiise mu mateeka?
Ekibiina oba bizinesi yonna etali mpaandiise ku musolo, terina musolo gw’esasula mu kiseera ky’emala mu mbeera eyo. N’olwekyo, ssentebe yeetaaga okwongera okulambulula ku kika ky’omusolo kye yaggyiddwako. Bwe wabaawo ekitategeerekese bulungi, osobola okututuukirira ku woofiisi ekuli okumpi.
Muwagidde mutya abasogola omwenge omuganda kuba kirabika baddiridde nnyo ate nga kyakunywa kya buwangwa?
Abasogozi b’omwenge omuganda basabibwa okwewandiisa ku musolo, batuukirize n’obuvunaanyizibwa bwabwe. Ng’ekitongole, tutegeka emisomo egy’enjawulo n’ekigendererwa ky’okubasomesa ku nsonga ez’enjawulo nga kwekuli n’engeri gye basobola okuddukanya bizinesi zaabwe, ekintu ekijja okubayamba okuyimirizaawo bizinesi, olwo bakulaakulane.
Kiva ku ki omuntu okufuna obubaka bwa URA nga bakubanja ssente z’amayumba ng’ate togalina?
Ebiseera ebisinga bwe tuba tukuwandiisa ku musolo, tukusaba okututegeeza ekika ky’ennyingiza. Bwe weesanga nga waliwo awaakolebwa ensobi, kyalira woofiisi ya URA ekutwala, ensonga eyo etunulwemu, bw’osangibwa nga tolina nnyingiza eyo, TIN yo ya kukolebamu ennongoosereza (amendment), ennyingiza y’obupangisa eggyibweko, tulekeko entuufu. Wano, teri bubaka bw’ojja kweyongera kufuna ku nsonga eyo. Embeera eno bw’etakyukako, tukubire ku nnamba zaffe ezitasasulira okuli 0800117000 oba 0800217000, ojja kuyambibwa.
No Comments yet!