Kayungirizi w’ettaka n’amayumba y’ani?
Ono ye muntu agula n’okutunda ettaka, amayumba ng’ono aweebwa olukusa okuva mu minisitule y’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga. Abasuubula n’okutunda ettaka n’amayumba era batera n’okubeera ba kayungirizi wakati w’abapangisa ne ba landiloodi.
Mu Uganda, abagula n’okutunda ettaka beewandiisa n’ebitongole bino wammanga:
Weetegereze: Oluvannyuma lw’okwewandiisa, atunda n’okugula ettaka n’amayumba yeetaaga okwewandiisa n’ebitongole bino wammanga:
Eri abantu ssekinnoomu
Eri kampuni
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku byetaagisa okwewandiisa
Ng’omuwi w’omusolo, olina eddembe lyo ku nsonga z’omusolo. Kyokka era olina obuvunaanyizibwa bw’oteekwa okutuukiriza.
Omusolo ku magoba ku bizinesi yo (Corporation tax)
Guno musolo ku nnyingiza era nga guggyibwa ku magoba kampuni g’eba ekoze, era guwoozebwa ku bitundu 30 ku 100 (30%) ku magoba.
Omusolo oguggyibwa ku musaala gw’abakozi
Oyo yena akola omulimu gw’okugulan’okutunda ettaka n’amayumba ng’alina b’akozesa, b’asasula omusaala nga gusukka ensimbi 235,000 buli mwezi ateekeddwa okwewandiisa ku musolo gw’abakozi, n’agukunngaanya oluvannyuma n’agusasula eri URA.
Nyiga wano okumanya emiwendo egisasulwa abakozi mu musolo
Omusolo gwa Withholding tax
Omusolo guno ku nnyingiza guggyibwa kw’oyo aba atunda ebyamaguzi, nga zino zimuggyibwako mu kiseera ng’asasulwa, ku bitundu 6 ku 100 (6%).
Omusolo gwa Withholding tax ku bitundu 6% gukendeezebwa ku nsimbi ezisasulwa landiloodi singa ziba zisukka akakadde kamu, nga kino kikolebwa ajenti wa URA eyaweebwa olukusa okukunngaanya omusolo ogwo. agent.
Wetetegereze: Omusolo ogukunngaanyizibwa gukendeezebwa ku musolo oguba ogw’okusasulwa bizinesi eyo.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku musolo gwa Withholding tax.