Landiloodi y’ani?
Ono ye muntu oba kampuni epangisa ekizimbe oba ekibangirizi eri omuntu oa kampuni endala. Apangisa ekizimbe oba ekibangirizi ekyo amanyiddwa nga omupangisa.
Mu Uganda, landiloodi yeetaaga okwewandiisa n’ebitongole bino wammanga:
Uganda Registration Services Bureau (URSB) okufuna erinnya lya bizinesi
Eri abantu ssekinnoomu
Eri kampuni
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku byetaagisa okwewandiisa
Ng’omuwi w’omusolo, olina eddembe lyo ku nsonga z’omusolo. Kyokka era olina obuvunaanyizibwa bw’oteekwa okutuukiriza.
Omusolo ku nnyingiza eva mu bipangisibwa
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku musolo gw’ennyingiza eva mu bipangisibwa
Omusolo gwa VAT
Omusolo guno guggyibwa ku byamaguzi ku bitundu 18 ku 100 (18%) ku byamaguzi oba obuweereza obukolebwa oyo yenna eyeewandiisa ku musolo. Okwewandiisa ku musolo gwa VAT, omuntu yenna ateekeddwa okuba ng’akola ettunzi eriwera obukadde 150 buli mwaka, oba obukadde 37.5 mu myezi 3 egy’omuddirinnganwa. Nyiga wano okuwandiisa bizinesi yok u musolo gwa VAT
The annual VAT registration threshold is UGX 150m. Therefore, landlords who own and earn rental income of UGX 150m or more in a given year from commercial property are required to register for VAT. After registration, the landlords are required to charge their tenants VAT at a rate of 18% (of rental income) and remit it to URA.
Weetegereze:
Abo bonna abeewandiisa ku musolo gwa VAT bakakatibwako okwewandiisa ku EFRIS, olwo bagabire abapangisa baabwe e-invoices
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku ngeri y’okwewandiisa ku EFRIS.
Omusolo gwa Withholding tax
Omusolo guno ku nnyingiza guggyibwa kw’oyo aba atunda ebyamaguzi, nga zino zimuggyibwako mu kiseera ng’asasulwa, ku bitundu 6 ku 100 (6%).
Omusolo gwa Withholding tax ku bitundu 6% gukendeezebwa ku nsimbi ezisasulwa landiloodi singa ziba zisukka akakadde kamu, nga kino kikolebwa ajenti wa URA eyaweebwa olukusa okukunngaanya omusolo ogwo. agent.
Wetetegereze
Omusolo ogukunngaanyizibwa gukendeezebwa ku musolo oguba ogw’okusasulwa bizinesi eyo.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku musolo gwa Withholding tax.
Yee. Omusolo guno gumanyiddwa nga Capital gains tax ng’era guggyibwa ku magoba agaba gafuniddwa oyo yenna atunze ettaka oba ekizimbe ekiba kipangisibwa okukoleramu bizinesi. Kino kibaawo singa landiloodi asalawo okutunda ekntu ekyo, era omusolo ogwo guba ebitundu 30 ku 100 (30%) ku magoba.
Ennyanjula oba litaani eno essibwamu nga litaani endala ez’omusolo ku nnyingiza.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku ngeri y’okussaamu ennyanjula oba litaani.
Oluvannyuma lw’okussaamu ennyanjula oba litaani, osasula omusolo oguba gulagiddwa mu litaani eyo ng’okozesa enkola ez’enjawulo okugeza bbanka, mobile money, VISA, EFT, RTGS, Mastercard, USSD code (*285#) n’enkola endala zonna.
Weetegereze: Nsalesale w’okussaamu ennyanjula oba litaani y’omu n’ow’okusasula omusolo.
Yee. Waliwo engeri ba landiloodi gye baganyulwa mu kukedeezebwa ku musolo eri abo banna Uganda n’abava ebweru w’eggwanga. Emiganyulo gino mulimu:
MU TTEEKA LYA VAT |
||
Abaganyulwa |
Okuganyulwa |
Ebbanga ly’okuganyulwa |
Abo bonna abeewandiisa ku musolo gwa VAT |
Okuddizibwa VAT yenna aba yasasulwa ku biguliddwa |
Ebbanga lyonna |
Okumanya ebisingawo, kyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi oba kuba ku ssimu etasasulirwa: 0800117000/0800217000 oba ku WhatsApp: 077214000