Okusuubulira mu bungi kye ki?
Okusuubulira mu bungi kwekugula ebyamaguzi mu bungi okuva mu babikola oba ababitambuza ne bitundibwa eri abasuubuzi abatunda ebitonotono mu miwendo emitono.
Abasuubulira mu bungi ebiseera ebimu ebyamaguzi babiguza ababikozesa butereevu mu miwendo emitono
Okusuubulira mu bitono kwe kugula ebyamaguzi okuva mu basuubuzi abebingi oba ababitambuza ne biguzibwa ababikozesa mu miwendo emitono.
Mu kitundu kya basuubuzi b’ebingi n’ebitono mulimu ebika bibiri ebya basasuzi b’emisolo
Bizinensi zonna mu Uganda zetaagibwa okuwandiisibwa ne
Wetegereze:
Tojja kuweebwa layisinsi ya busuubuzi okuggyako nga olina TIN (enamba esasulibwako emisolo)
Nyiga wano ku lw’ebyetaagisibwa okuwandiika bizinensi yo ey’okusuubulira mu bungi /mu bitono
Weetaagisibwa okugenda ku mutimbagano gwa yintanet ku kibanja kya URA ku www.ura.go.ug
Nyiga wano okwewandiisa nga ssekinoomu
Nyiga wano okwewandiisa nga atali ssekinoomu
Nga omuwi w’omusolo oweebwa ddembe. Wazira olina obuvunanyizibwa bwolina okutuukiriza.
Nyiga wano okulaba eddembe lyo n’obuvunanyizibwa nga omuwi w’omusolo
Wetaagibwa okutereka biwandiiko ebikwata ku nsasanya zonna eza bizinensi yo. Kyamugaso nnyo bulijjo okubeera n’ebiwandiiko ebirina ennaku z’omwezi okusobola okutegeera alipoota budde ki mwezigwa. Zino mulimu;
Wetegereze bakasitoma/bakirayanti bo abawandiise ku VAT balina okuwa e-Invoice okuyita ku mutimbagano awali EFRIS
Nyiga wano okumanya ebisingawo ebikwata ku EFRIS