Bizinesi entonotono y’eriwa

Eno ye bizinesi ng’ettunzi lyayo tesukka nsimbi bukadde 150 mu mwaka.

Naye, ku nsonga z’omusolo, URA ebala bizinesi entonotono okuba ng’ekola ettunzi erisukka ensimbi obukadde 10, kyokka nga tesukka nsimbi bukadde 150. Mu bufunze, bizinesi kika kino zisuubirwa okuba nga zikola ettunzi lya nsimbi 34,700 mu lunaku.

Add to Bookmarks
Print Friendly, PDF & Email
(Visited 35 times, 1 visits today)

URA yaleeta engeri y’okuwoozaamu omusolo ku bizinesi entonotono ng’era gumanyiddwa nga Presumptive tax

Omusolo guno gisasulwa ba nnannyini bizinesi entonotono.

Nedda. Abakugu mu mirimu egy’enjawulo okugeza abasawo b’amannyo, abasawo aba bulijjo ba yinginiya, ababazi b’ebitabo n’abakugu abala bangi tebasasula musolo kika kino.

Emiteeko gy’engeri omusolo ku bizinesi entonotono gye guwoozebwamu giragiddwa wammanga:

ENNYINGIZA MU MWAKA

OMUSOLO OGULINA OKUSASULWA BULI MWAKA

 

Abakuuma ebiwandiiko

Abatakuuma biwandiiko

Ettunzi eritasukka bukadde 10

Tasasula

Tasasula

Ettunzi erisukka obukadde 10 kyokka nga tesukka bukadde  30

Obutundutundu buna ku kikumi (0.4%) obw’ettunzily’omwaka erisukka obukadde  10

Ugx 80,000 (Emitwalo munaana)

Ettunzi erisukka obukadde 30 kyokka nga tesukka bukadde  50

Ensimbi 80,000 ogatteko obutundutundu butaano ku kikumi (0.5%) obw’ettunzi erisukka obukadde 30

Ugx 200,000 (Emitwalo abiri)

Ettunzi erisukka obukadde 50 kyokka nga tesukka bukadde  80

Ensimbi 180,000 ogatteko obutundutundu  mukaaga ku kikumi (0.6%) obw’ettunzi erisukka obukadde 50

Ugx 400,000 (Emitwalo ana)

Ettunzi erisukka obukadde 80 kyokka nga tesukka bukadde  150

Ensimbi 360,000 ogatteko obutundutundu musanvu ku kikumi (0.7%) obw’ettunzi erisukka obukadde 80

Ugx 900,000 (Emitwalo kyenda)

 

  • Ettunzi erikoleddwa mu mwaka
  • Okubaawo/okusinziira ku biwandiiko bya bizinesi

Weetegereze

  1. Omusolo ogusasulwa ba nnannyini bizinesi entonotono gubalibwa ng’ogusembayo eri bizinesi bwe kituuka ku kuwooza omusolo ku nnyingiza.
  2. Teri nsimbi zikendeezebwa mu ngeri y’ensaasaanya eri bizinesi kika kino, newankubadde ng’ebadde weeri.
  3. Teri musolo gukendeezebwa newankubadde nga nannyini yo aba yasasula omusolo gwa Withholding tax ng’omwaka tegunnaggwaako. Abawi b’omusolo abatakuuma biwandiiko bya bizinesi basasula omusolo ogwekutte awamu kyokka abo ababikuuma basasula kusinziira ku ttunzi eriba likoleddwa mu mwaka.

Osobola okusasula omusolo ng’ogoberera emitendera gino wammanga:

  1. Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug;
  2. Wansi wa e-services, Londako Payment registration.
  • Londako ekika ky’omusolo (tax type) nga guno gumanyiddwa nga Income tax – Small businesses.
  1. Yingizaamu ennamba y’omusolo-TIN
  2. Yingizaamue omuwendo gw’okusasula okusinziira ku miteeko egiwoozebwamu omusolo ku bizinesi entonotono
  3. Londako engeri y’okusasula (bank, mobile money, EFT n’engeri endala) olwo weewandiise ku kusasula omusolo.

Nyiga wano okusasula omusolo gwo

Kakasa nti osasudde omusolo ogukugerekeddwa. Osobola okututuukirira ku woofiisi zaffe okwetooloola eggwanga okufuna okuyambibwa oba tukubire ku ssimu zaffe ezitasasulirwa; 0800117000/0800217000 oba ku WhatsApp: 0772 140000

 

 

Print Friendly, PDF & Email
Add to Bookmarks (0)
Skip to content