Kkampuni ezikwasaganya emikolo ze ziriwa?
Kkampuni ekwasaganya emikolo ye mpeereza eyekikugu ekola okuteesa, okutegeka, n’okukola emikolo ku lwa ba kasitoma baayo. Kkampuni ekwasaganya emikolo ekola ogwakalabalaba eri enteekateeka z’omukolo omuli okuteesa, okubalirira, okukunga, okuweereza n’okulondoola.
Ebimu ku bitundu eby’omugaso ebyenyigirwamu kkampuni ezikwasaganya emikolo bye bino:
Kkampuni ezikwasaganya emikolo zikola emirimo mingi egy’enjawulo egikwata ku mukolo. Kkampuni ezikwasaganya emikolo zipangisibwa bizineesi ezabulijjo okuzikolerako omukolo. Ezimu ku mpeereza ezikwasaganyizibwa kkampuni z’emikolo mulimu;
Bonna abetaba mu bizineesi ya kkampuni ey’emikolo betaagibwa okuwandiisibwa ne
Ku lwa ssekinoomu
Eri atali ssekinoomu
Nyiga wano eri ebyetaagisibwa okuwandiikibwa
Kyamugaso nnyo gyoli okukuuma ebiwandiiko byo byonna ebituufu ebikwatagana ku nkola ya bizineesi yo waakiri emyaka etaano oluvannyuma lw’enkomerero y’ekiseera eky’omusolo kwe byekuusa okusobola okubikozesa gye buggya oba mumaaso eyo.
Mu bino mulimu:
Nyiga wano ku ntereka y’ebiwandiiko bya bizineesi
Emisolo egiteekebwa to kkampuni ezikwasaganya emikolo oba bizineesi ya situudiyo mulimu gino;
Omusolo ku nnyingiza – gukola ku bonna abetaba mu bizineesi oyo ssekinoomu oba atali ssekinoomu.
Weetegereze: omutemwa ogukozesebwa eri musolo ku nnyigiza eri bizineesi eya atali ssekinoomu guli 30% ku nnyigiza eyawamu (ennyigiza etanatoolwako yawuzaako ensasanya ekkirizibwa). Wazira omusolo ku nnyigiza gusinzira ku tuluba omuntu mwagwa.
Nyiga wano ku mitemwa gy’omusolo ku nnyigiza
Omusolo ku nyingiza y’ebitongole/Kkampuni
Guno gwe musolo oguteekebwa kw’abo abatali ssekinoomu mu tuluba lino ku mutemwa ogw’etongodde gwa 30%.
Omusolo ogugyibwa ku ssente ezisasulwa abakozi oba abantu abakuwa ebyamaguzi:
Guno gusasulwa kkampuni ezikwasaganya emikolo singa empeereza ekoleddwa oyo kayungirizi w’omusolo guno amanyikiddwa ng’omuwendo gwa yinvoyisi gussuka UGX 1,000,000
Nyiga wano ku musolo ogugyibwa ku ssente ezisasulwa abakozi oba abantu abakuwa ebyamaguzi
Omusolo ogwanamulanda (VAT) – eri abali mu bizineesi ekwasaganya emikolo abayingiza ennyingiza essuka 150,000,000 mu mwaka balina okusasula VAT ku buli yinvoyisi ya EFRIS egabiddwa.
Singa kkampuni ekwasaganya emikolo efuna okuwagirwa okuva eri kkampuni endala yonna, erina okuwandiika yinvoyisi eriko VAT okuyita ku EFRIS eri kkampuni egiwagidde.
Nyiga wano ku VAT
Omusolo ogugyibwa/ogusalibwa ku ssente omukozi zafuna okuva mu kukozesebwa
Omusolo guno gukola ku muntu oyo alina abakozi (abamanyirivu oba abaalejaleja) abafuna mu mugatte mu bungi bwa mitwalo abiri mwesatu n’ekitundu ensimbi za Uganda (Ugx. 235,000) buli mwezi. Enkola y’omusolo guno gugyibwako/gusigazibwa buli mwezi.
Nyiga wano ku mitemwa gy’omusolo ogugyibwa/ogusalibwa ku ssente omukozi zafuna okuva mu kukozesebwa
Enyanjula eno ekolebwa nga enyanjula endala yonna ku musolo ku nnyingiza.
Nyiga wano ku ngeri y’okuwaayo enyanjula yo.
Oluvannyuma lw’okuwaayo enyanjula, weetaagibwa okusasula emisolo egivuddemu oba egibaliddwa ng’okozesa engeri eziteekeddwawo okugeza banka, okusasulira ku ssimu, EFT, RTGS, VISA, kaadi ya masta, USSD Code (*285#), n’engeri endala.
Weetegereze: olunaku olw’esalira olw’okusasulirako omusolo lwe lumu n’olw’okuwaayo enyanjula.
Nyiga wano okuwandiisa ensasula
Bwoba tosobola kwewandiisiza ku mutimbagano, kyalira ofiisi ya URA ekuli okumpi okuyambibwa oba kuba ku ssimu etali ya kusasulira 0800117000/0800217000 oba WhatsApp: 0772140000