Kkampuni enzimbi y’eriwa?
Kkampui enzimbi ye bizinesi essibwawo okwenyigira mu kuzimba ebizimbe, enguudo amakolero, ebisaawe n’ebizimba ebintu ebirala byonna.
Oluvannyuma lw’okwewandiisa, kkampuni enzimbi eteekeddwa okufuna olukusa oba layisinsi okuva mu bitongole eby’enjawulo nga bino wammanga:
Ne gavumenti ez’ebitundu
Eri omuntu ssekinnoomu
Eri kkampuni
Kkampuni okwewandiisa ku musolo, yeetaaga ebiwandiiko bino wammanga:
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku byetaagisa okwewandiisa ku musolo
Omuwi w’omusolo alina eddembe lye mu nsonga z’omusolo. Mu ngeri y’emu, alina n’obuvunaanyizibwa ku nsonga z’omusolo.
Nyiga wano okumanya eddembe lyo ng’omuwi w’omusolo.
Nyiga wano okumanya obuvunaanyizibwa bwo ng’omuwi w’omusolo.
Omusolo ku magoba ga kkampuni
Omusolo guno ku nnyingiza guggyibwa ku magoba ga kkampuni ku nsimbi ezo okuwoozebwa omusolo (chargeable income). omusolo guno guwoozebwa ku bitundu 30 ku 100 (30%)
Omusolo ku musaala gw’abakozi ogwa Pay As You Earn (PAYE)
Omukozi yenna mu kkampuni enzimbi ateekeddwa okufuna ennamba y’omusolo oba TIN, n’omukozesa oba kkampuni erina obuvunaanyizibwa okwewandiisa ku musolo gw’abakozi oba Pay As You Earn (PAYE), olwo n’asolooza omusolo ku bakozi ogwa buli mwezi nga bano balina okuba nga bafuna omusolo ogusukka ensimbi 235,000/= olwo ne guweerezebwa eri URA.
Nyiga wano okumanya emiteeko gy’omusolo oguwoozebwa ku bakozi
Omusolo gwa Withholding tax
Omusolo gwa Withholding tax (WHT) gwegwo oguggyibwa ku nnyingiza kyokka nga gusasulwa oyo atuusa obuweereza eri kkampuni, amakulu nti kkampuni y’egukunngaanya n’eguweereza eri URA.
Omusolo guno guwoozebwa omuntu bw’aba ng’atuusizza obuweereza oba ebyamaguzi ebiwerera ddala ensimbi 1,000,000, olwo ne guwoozebwa ku bitundu 6 ku 100 (6%).
Ng’oggyeeko ensimbi ezisasulwa abakugu, omsolo gwa Withholding tax guwoozebwa awatali kufa ku bungi bwa nsimbi ziba zisasuddwa.
Weetegereze: Omusolo ogukunngaanyiziddwa/ ogukendeezeddwa gutwalibwa mu litaani essibwamu ng’omwaka guggwaako olwo, oyo gwegwaggyibwako n’agukendeeza ku musolo gw’aba alina okusasula
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku musolo gwa Withholding tax.
Omusolo gwa VAT
Omusolo gwa VAT oba oga nnamulanda gweguwoozebwa okuva ku byamaguzi oba obuweereza ebyassibwako omusolo ogwo. Omusolo guno guggibwa ku buli mutendera omuwendo lwegwongerwa ku kitundibwa.
Mu Uganda, omusolo guno guwoozebwa okuva ku byamaguzi oba obuweereza kwegwassibwa (taxable supply), ebikolebwa wano ssaako n’ebyo ebiyingizibwa eggwaga nga bino birina okuba nga bitundibwa oyo yenna eyawandiisibwa ku musolo gwa VAT.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku musolo gwa VAT
Weetegereze: Kya buwaze eri abo bonna abeewandiisa ku musolo gwa VAT okweyunga ku nkola ya EFRIS olwo ne bagaba e-invoice ne e-receipt, era ensimbi mu musolo gwa VAT eziba zaasuubulirwa ku byamaguzi tezikuddizibwa okuggyako nga lisiiti ne invoice eziba zaagabwa ziba za ku mutimbagano.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku ngeri y’okwewandiisa ku nkola ya EFRIS
Nzisaamu ntya ennyanjula y’omusolo?
Ennyanjula oba litaani zino zissibwamu ng’endala zonna ezissibwamu mu kkampuni endala zonna.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku ngeri y’okussaamu ennyanjula oba litaani.
Oluvannyuma lw’okussaamu ennyanjula oba litaani, oteekeddwa okusasula omusolo oguba gulagiddwa g’oyita ku nkola ez’enjawulo okuli; bbanka, mobile money, EFT, RTGS, VISA, Mastercard, oba okunyiga ku ssimu yo; *285, n’embeera endala nnyingi.
Weetegereze: Nsalesale w’okussaamu ennyanjula oba litaani y’omu n’ow’okusasula omusolo.
Nyiga wano okusasula omusolo
OMUSOLO KU NNYINGIZA |
|||
Abaganyulwa |
Obuweerero ku musolo |
Ebbanga ly’obuweerero |
Obukwakkulizo bw’okufuna obuweerero |
1. Oyo yenna alina kampuni mu bitundu ebyassibwawo okuteekebwamu amakolero (industrial park/ free zone) |
Omusolo gusonyiyibwa ku nnyingiza eva mu kupangisa ekifo awakolerwa emirimu mu bitundu ebyassibwawo okuteekebwamu amakolero (industrial park/ free zone) |
Emyaka 10 |
Ateekeddwa okussa ensimbi eziwerera ddala obukadde bwa ddoola 50 eri abagwira oba obukadde bwa doola 10 eri abatuuze b’omu mawanga g’obuvanjuba bwa Afirika nga kino kiva ku lunaku pulojekiti y’okuzimba lw’eba etandise. Kyokka kino ate kikola nnyo ne ku ba musiga nsimbi abasangiddwawo abongera ensimbi mu bizinesi zaabwe. |
2. Ba kontulakita abakola ku pulojekiti z’abagabirizi b’obuyambi |
Omusolo gwa deemed VAT: Omusolo oguggyibwa ku byamaguzi oba obuweereza ebiggyibwako omusolo gwa VAT (taxable supplies) Nga bino bikoleddwa oyo addukanya pulojekiti essiddwamu ensimbi abagabiirizi b’obuyambi, bwe kiba ng’ensimbi eziteereddwa mu pulojekiti eyo nga ziva mu bagabirizi ba buyambi bokka.
|
Ebbanga pulojekiti ly’emala |
Ba kontulakita abaddukanya pulojekiti ezivujjirirwa abagabirizi b’obuyambi. |
EBIKOLA MU KUZIMBA AMAYUMBA N’ENGUUDO |
||
|
Okunnyonnyola |
Obuweerero ku musolo |
Ebimotoka ebikozesebwa mu kutabula enkokoto • Concrete Mixers – Self propelled • Concrete Pumps |
• Ebyuma bino teri musolo gwe bisasula nga biyingizibwa mu Uganda. • Omusolo gwa VAT gwongezebwayo okusasulwa eri abo abeewandiisa ku musolo ogwo. |
|
Ebimotoka bi ggunduuza okugeza: • Excavators • Bull dozers • Angle Dozers |
• Ebyuma bino teri musolo gwe bisasula nga biyingizibwa mu Uganda. • Omusolo gwa VAT gwongezebwayo okusasulwa eri abo abeewandiisa ku musolo ogwo. |
Ebyuma ebiwanvu ebikozesebwa mu kuzimba |
• Ebyuma bino teri musolo gwe bisasula nga biyingizibwa mu Uganda. • Omusolo gwa VAT gwongezebwayo okusasulwa eri abo abeewandiisa ku musolo ogwo. |
|
Ebyuma ebizimbibwa okuyambako abazimbi ku kizimbe ebimanyiddwa nga Scaffolding |
• Bwe biba biggyiddwa mu limu ku mawanga g’omukago gw’obuvanjuba bwa Afirika, tebisasulirwa musolo kuyingira Uganda. |
|
Ebyuma ebikozesebwa mu ku punta ettaka okugeza: • Global Positioning Systems (GPS) • Theodolites • Line of site equipment • Rangefinders They are largely used by road construction firms, surveyors, oil exploration, mining. |
• Teri musolo gusasulwa nga biyingizibwa mu Uganda . • Omusolo gwa VAT gusasulwa nga biyingizibwa mu Uganda |
|
Emmotoka enneetissi – Ttipa • Nga zeetikka obuzito obusukka ttani 5 naye nga tebusukka ttani 20. • Nga zeetikka obuzito obusukka ttani 20. |
· Emmotoka enneetissi z’obuzito obusukka ttani 5 naye nga tezisukka ttani 20, omusolo nga biyingira Uganda gwa bitundu 10 ku 100 (10%) okumala omwaka gumu. · Emmotoka nga zeetikka obuzito obusukka ttani 20, teri musolo guziggyibwako nga ziyingizibwa Uganda. |
|
Okuyingiza mu Uganda emmotoka n’ebuma ebirala ebikozesebwa mu kuzimba naye nga bino bigenda kubeera mu Uganda ekiseera ekigere. Amateeka n’obukwakkulizo biragiddwa mu tteeka lya East African Community- Customs Management Act, 2004 apply. |
• Omusolo guyimiriziddwa okuwoozebwa okutuusa ng’ebintu bino biddizibwayo mu ggwanga gye byava. |
|
Payipu ezizimbibwa okutambuza amafuta agaavumbulwa mu Uganda okutuuka e Dar- es -salaam |
• Ebikozesbwa okuzimba payipu zino byasonyiyibwa omusolo ebika by’omusolo byonna okusinziira mu Fifth schedule eya East African Community Customs Management Act, 2004. |
|
Ebyo byonna ebikozesebwa okuzimba amabibiro g’amasannyalaze. |
• Ebikozesebwa bino tebiggyibwako musolo gwa VAT. |
Emikago gy’ebyenfuna okugeza nga ogwo ogugatta amawanga g’obuvanjuba bwa Afirika oba East African Community (EAC), Common Market for East and Central Africa (COMESA). Emitayimbwa egikoleddwa mu limu ku mawanga gano giweebwa obuweerero nga giyingizibwa |
• Ebintu ebiyingizibwa okuva mu ggwanga linnamukago okudda mu ddala liweebwa obuweerero ku musolo. |
|
Eggwanga eririna amakolero agakozesa ebintu by’omu Uganda. Ebintu bino bwe biba bikolebwa wano e Uganda, bisobola okuwoozebwako omusolo gwa wano gwokka. |
• Amakolero agakola kebo, seminti, ebyuma, payipu, emisumaali, amabaati, n’ebirala ebigwa mu ttuluba lino. |
|
Pulojekiti okugeza nga ey’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka (Standard Gauge Railway (SGR) nga pulojekiti nga zino zisuubirwa okuwa abali mu by’okuzimba emirimu. |
• Pulojekiti eno bw’ebaessibwamu ensimbi okuva mu bagabirizi b’obuyambi, omusolo gwa VAT teguwoozebwa kw’ebyo ebikozesebwa okuzimba okusinziira ku tteeka lya (East African Community Customs Management Act, 2004). |
|
Ebizimbe ebizimbibwa nga bakozesa ebyuma ebigumu, kyokka nga bino biyingiziddwa mu ggwanga abo ba nnannyini makolero oba abo abazimba weyahawusi ezitereka ebyamaguzi. |
• Omusolo gwa VAT ku byayimirizaawo ebizimbe n’ekkolero gwongezebwayo okusasulibwa. |
|
Okutunda ebimotoka bi ggunduuza mu kuzimba mu bitundu ebyaweebwayo gavumenti eri ba musiga nsimbi kyokka nga bino biweza ekitono ennyo obukadde bwa ddoola 50. |
Omusolo gwa VAT guwoozebwa ku bitundu 0 ku 100 (0%) okusinziira ku tteeka lya VAT. |
|
Okugula ebikozesebwa mu kuzimba mu bitundu ebyaweebwayo gavumenti eri ba musiga nsimbi kyokka nga bino biweza ekitono ennyo obukadde bwa ddoola 50. |
• Teri musolo gwa VAT gusasulibwa • Teri musolo gwa Excise duty gusasulibwa |
Okumanya ebisingawo, kyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi oba kuba ku ssimu etasasulirwa: 0800117000/0800217000 oba ku WhatsApp: 077214000