Okukuuma ebiwandiiko by’obusuubuzi

Ebiwandiiko by’obusuubuzi kye ki?

Ekiwandiiko ky’obusuubuzi bwe buwandiike bw’ebibeera bikoleddwa mu bizinesi okumala ekiseera ekigere. Obuwandiike buno butera kussibwa mu bwino ku lupapula mu ngeri ya bulijjo entongole; bukyayinza n’okubeera mu ngeri y’ekikugu endala, gamba ku kkompyuta oba mu ngeri zombie.

Mu biwandiiko mulimu okukuuma ebitabo n’ebiwandiiko ebirala ebikwata ku nsimbi nga bisengekeddwa mu ngeri ennambulukufu obulungi.

Olagirwa okukuuma obulungi ebiwandiiko ebyetaagisa byonna singa obeera olina omulimu gw’okola oba ng’olina ky’osuubula.

Ebiwandiiko bino biteekeddwa okulaga obulungi ebyetaagisa byonna okusobola okutegeera obuvunaanyinyizibwa n’eddembe by’olina ebikwata ku musolo.

Ebiwandiiko bino birina okugenderako ebiwandiiko ebirala ebibijulira okusobola okukakasa obubaka obubirimu.

Add to Bookmarks
Print Friendly, PDF & Email
(Visited 9 times, 1 visits today)

Bizinesi erina okukuuma ebiwandiiko ebikwata ku bintu byonna by’ekola. Kikulu nnyo bulijjo okukuumanga ebiwandiiko nga biriko ennaku z’omwezi, osobole okutegeera ebiwandiiko ebikwata ku biseera ebitali bimu. Ebika by’ebiwandiiko omuntu by’alina okukuuma bye bino:

  • Ekiwandiiko ekiraga ennyingiza (olukalala lw’ensimbi ezifuniddwa n’ezibanjibwa)
  • Ekiwandiiko kya minzaani
  • Olukalala okusasulirwa abakozi
  • Ensengeka y’ebintu ebigulibwa n’ebitundibwa ebweru w’eggwanga
  • Endagaano z’emirimu
  • Ebiwandiiko ebiva mu bbanka
  • Empapula ezibanja (okugeza amazzi, amasannyalaze n’ebirala)
  • Ebiwandiiko ebikwata ku bintu ebibeera bimaze okubalibwa
  • Olukalala lw’ebintu bya bizinesi ebikalu okugeza emmotoka, kkompyuta n’ebirala
  • Ebiwandiiko ebirala bingi ebikwata ku bizinesi yo gamba n’gobutabo bwa lisiiti, obutabo bw’ababanja n’ababanjibwa birina okukuumibwa.

  1. Rekod me lim adonyo icao: Gwok iyore kede yore wel lim du came biacara ni kelo iyi cao. Wel lim du came biacara kelo obedo lim du came oribu ame pwod pe ruu ikwanyo iye wel garama me cato wil kede cente me cwako biacara. Rekod me lim mamegi myero nyut nino dwe, wel kede kwen ame lim man oyaa iye. Coo oko piny lima me inwongo akadi obedo ni inwongo I leb me cente, jami onyo tic.

Cwak tee rekod me lim mamegi kede orijinol me papara du came nyutu cul (ricit), cente ame iculu pi kontrak, etc.

    2. Rekod me lima ame itiyo kede me gwoko biacara: mar gamo ricit onyo papara ame nyutu ni iwilo jami pi biacara mamegi. Ricit man myero nyut nino dwe me wilo wil, nying kede kabedo angat ame ocato onyo igamo jami ibote kede meg awil, kit kodi jami ame iwilo. Myero inen ni mano ngat acati jami man oco aber gin ame itye iwilo iyi ricit man. Ka coc atut (aber) pe iyi ricit man, yin dong coyi ikomi ngo ame jami man obedo iyi iricit onyo iyi buk ame icoyo iye jami ame itiyo kede me gwoko biacara.

NB: Ikare okene, joo ame cato jami pe maro miyo ricit. Ka otimere kit man, coo ngec man ping acalo rekod. Nyut nying kade kabedo angat ame ocati jami man, nino dwe ame iculu iye, wel cfente ame iculu kede dong ngec okene atut akwako wil man.

Obuwandiike obutuufu obw’ettunzi lyo buteekeddwa okukolebwa buli mulundi ettunzi lwe libaawo. Kya magezi okuba nti obuwandiike obukwata ku ttunzi obw’engeri eno bukolebwa mangu ddala ng’okugulana kwakabaawo. Kino kigonza emirimu era kiyamba ebintu okubeera ebirambulukufu obulungi wamu n’okuyamba okuba nti tewali kintu kyonna kyerabirwa nga wayiseewo akabanga.

    • Obukulu bw’okukuuuma ebiwandiiko bweyogerera bwokka, emigaso egirimu ntoko, era egimu ku gyo gye gino wammanga:

      • Okukuuma obulungi ebiwandiiko kikuyamba okujjukira ensimbi ezibeera zisaasaanyiziddwa z’osobola okutoolako ng’ekiseera ky’okuwaayo litaani z’omusolo gw’ennyingiza nga kituuse
      • Bw’obeera oyingiza ensimbi okuva mu makubo agawerako, ebiwandiiko ebikuumiddwa obulungi bikuyamba okutegeera ekkubo eribeera liyingiza ensimbi. Okujjako ng’ebiwandiiko bikuumiddwa bulungi, oyinza obutasobola kutukakasa nti ddala ensimbi ezimu teziva mu bizinensi yo, oba nti tezirina kuwoozebwako musolo
      • Ebiwandiiko ebikuumiddwa obulungi bikuyamba okutegeera obulungi bizinesi yo gy’evudde ne weetuuse kati
      • Ebiwandiiko ebikuumiddwa obulungi bisobola okukuyamba mu kukola embalirira, 5 Okukuuma Ebiwandiiko By’obusuubuzi okutemera bizinesi yo amakubo, n’okwewola mu bbanka n’abawozi abalala
      • Ebiwandiiko ebikuumiddwa obulungi bisobola okuyambako mu kutangira obuzibu bw’oyinza okugwamu singa tubeera tuzze okubala ebitabo by’omusolo gw’ennyingiza yo

      Eky’okulabirako eky’engeri gy’oyinza okuganyulwa mu kukuuma obulungi ebiwandiiko

      Kuuma ebiwandiiko ebikwata ku by’obugagga by’obeera oguze ne by’otunze. Ebiwandiiko bino birina okulaga eyakuguza eky’obugagga, omuwendo gwakyo n’olunaku lw’okiguliddeko. Ebintu bino bijja ku kuyamba okubalirira obulungi obuweerero obulina okukuweebwa nga waakatandika, ensimbi ezaasigibwa ezirina okutoolebwako, n’emitemwa emirala.

      Singa otunda oba owaanyisa eky’obugagga, laga olunaku lw’okitunze oba lw’okiwaanyisizza n’omuwendo gw’ensimbi z’okitunze oba z’okiwaanyisizzaamu.

  1. Wandiika ensimbi z’oyingiza ne z’ofulumyabuli lunaku. Ekitongole ky’emisolo (URA) tekigaba bitabo biwandiikibwamu era tekirina kitabo kyonna kye kisemba nti kye kyokka ekirina okukozesebwa. Waliwo ebika by’ebitabo bingi ebiwandiikibwamu n’enkola nnyingi eziriwo ezigobererwa mu kukuuma ebitabo bya bizinesi.

    Okugeza osobola okukozesa ekitabo ekirimu emisittale n’emiko egy’enjawuloegiwandiikibwamu ennyingiza n’ensaasaanya. Kuuma ebiwandiiko byo wamu ne kkopi z’obupapula kw’otereka ensimbi, sitaatimenti za bbanka ne cceeke ezibeera zisaziddwamu. Ebiwandiiko ebikwata ku buli bizinesi gy’okola byawule bibeere byokka. Bw’obeera oyagala okukuumira ebiwandiiko byo mu kkompyuta, fuba okulaba nga bitegeerekeka bulungi era nga bisomeka.

    Weetegereze: Bw’otakuuma biwandiiko byetaagisa era nga tolina bukakafu bulala bwonna, 6 Okukuuma Ebiwandiiko By’obusuubuzi ekitongole ky’emisolo (URA) kiyinza okubalirira ennyingiza yo nga kyeyambisa enkola ey’okuteebereza. Kisobola n’okukendeeza ensimbi ze wasaasaanya z’obeera otaddeko.

Ekitundu eky’okuna eky’etteeka lya Tax Procedures Code Act kirimu obuwaayiro obukakata kw’oyo alina oba addukanya emirimu gy’obusuubuzi okukuuma ebiwandiiko by’obusuubuzi

Kino kikolebwa okusobozesa omuwi w’omusolo ne URA okukola okubalirira okutuufu okw’omusolo oguba gumubanjibwa

Ebiwandiiko bino omuli n’ebyo ebiterekebwa ku mutimbagano n’enkola endala birina kukuumibwa mu lulimi olungereza Omuwi w’omusolo wabula wa ddembe okusaba URA okumukkiriza atereke ebiwandiiko mu lulimi olutali lungereza.

Alina okulaga ensonga ey’essimba lwaki ayagala okukola bw’atyo. Wabula kkamiisona wa URA asobola okukkiriza oba okugaana okusaba kuno.

Singa wabaawo ensonga eyeetaagisa ebiwandiiko bino okukyusibwa okuzza mu lungereza, kkamiisona asobola okuwandiikira omuwi w’omusolo ng’amusaba okubikyusa era ensimbi ezisasulwa okukola kino zisasulwa muwi wa musolo.

Wabula yadde omuwi w’omusolo aba aweereddwa olukusa okukuuma ebiwandiiko mu lulimi olulala, zo litaani n’empuliziganya wakati we ne URA zirina kukolebwa mu lungereza.

Ebiwandiiko birina kukuumibwa okumala emyaka etaano okuva lwe biba bikoleddwa Singa ebiwandiiko biba byekuusa ku nsonga eziri mu mbuga z’amateeka, birina okukuumibwa okutuusa omusango lweguggwa.

Omuntu alemererwa okukuuma ebiwandiiko obulungi:

  • Abeera azzizza omusango era singa gumusinga, asasula engassi ekubisibwamu emirundi ebiri ku musolo gw’aba alina okusasula mu kiseera ebiwandiiko mwe bibanjibwa
  • Mu mbeera endala yonna, awa engassi etesussa bubonero bwa nsimbi 25.
Add to Bookmarks (0)
Skip to content