Omulunzi w’ebisolo y’ani?
Ono ye muntu ssekinoomu/kampuni ekola mu ku kwasaganya n’okuzaazisa ebisolo by’awaka oba faamu n’ekigendererwa eky’okufuna ebintu ebibivaamu ku lw’enfuna.
Omulunzi w’ebisolo afuna ennyingiza okuva mu kutunda ebisolo n’ebyo ebibivaamu gamba nga ennyama, amaliba, amata n’ebirala.
Okulunda ebisolo, okulunda enkoko, okulima okulongoseemu mu kibangirizi ekitono nga ebimuli, ebibala, enva endiirwa n’okwongera omuwendo kw’ebyo ebiva mu kulima/okulunda okusobozesa omulimi okufunamu.
Wetegereze:
Oluvannyuma lw’okuwandiisibwa, omulimi yetaagibwa okugondera eby’etaagibwa ekitundu ky’ebisolo mu minisitule ye by’okulima, okulunda ebisolo n’ebyennyanja (Ministry of Agriculture, animal industry and fisheries)
Ku lwa ssekinoomu
Ku lw’atali ssekinoomu (kampuni/ekitongole)
Nyiga wano ku lw’obubaka ku byetaagibwa okuwandiisa bizinensi yo ey’okulunda ebisolo.
Nyiga wano ku lw’eddembe n’obuvunanyizibwa ng’omuwi w’omusolo
Omuntu yenna eyennyigira mu bizinensi y’okulunda ebisolo yetaagibwa okuwandiisibwa ku musolo ku nnyigiza (okufunibwa kwa TIN/ennamba eyetaagibwa okusasulirako emisolo)
Omusolo ku nnyigiza okutwalira awamu guteekebwa ku bika by’abantu bonna abafuna ennyigiza, awatali ssekinoomu, atali ssekinoomu oba abeggasi.
Nyiga wano okwefunira TIN
Eno enyanjula ekolebwa nga enyanjula endala zonna ku musolo ku nnyingiza
Nyiga wano ku bubaka ku kuwaayo ennyanjula
Ng’omaliriza okuwaayo ennyanjula yo, wetaagibwa okusasula omusolo oguvuddemu ng’okozesa engeri ezisasulirwamu eziriwo gamba nga banka, mobile money, EFT, RTGS, VISA, Mastercard, USSD code (*285#) n’ endala.
Wetegereze: Olunaku lw’olina okusasulirako omusolo lwe lumu n’olwokuwaayo ennyanjula.
Okunyonyola |
Okuganyulwa musolo |
Eddagala erifuuyira ebisolo (Veterinary Chemicals/Acaricides) |
· Terigyibwako VAT bwe liba nga liyingiziddwa mu ggwanga ba diira wansi wa kawayi ka VAT. Lisonyiyibwa emisolo gyonna bweriba nga liyingiziddwa mu ggwanga abantu abennyigira mu ku lima n’okulunda wansi w’ekitundu eky’okutaano (5th) ekya East African Community Customs Management Act, 2004.
|
Ebigoma by’ebyuuma wa aluminim eby’ekolero ly’ebyamata |
Bisonyiyibwa emisolo gyonna wansi w’ekitundu eky’okutaano (5th) ekya East African Community Customs Management Act, 2004. |
Bitanka by’amata ebiwumbiddwamu ebbugumu eby’ekolero ly’ebyamata |
· Bisonyiyibwa emisolo gyonna wansi w’ekitundu eky’okutaano (5th) ekya East African Community Customs Management Act, 2004. |
Bitanka ebikoleddwako ekiziyiza |
· Bisonyiyibwa emisolo gyonna wansi w’ekitundu eky’okutaano (5th) ekya East African Community Customs Management Act, 2004. |
Ebisolo ebizaazisibwa. Sitooka we bizaazisibwa gwe mugatte gw’ebisolo ebikozesebwa n’ekigendererwa ky’okuzaasisa okuteekeku lw’enteekateeka |
· Tebigyibwako VAT bwe biba nga biyingiziddwa mu ggwanga ba diira wansi wa kawayi ka VAT. Bisonyiyibwa emisolo gyonna bwebiba nga biyingiziddwa mu ggwanga abantu abennyigira mu ku lima n’okulunda wansi w’ekitundu eky’okutaano (5th) ekya East African Community Customs Management Act, 2004.
|
Entekateeka z’okulongoosa ebikozesebwa mu by’amata. Pfanzite kirungo kya chlorine eky’amanyi ennyo mu ngeri y’obuwunga ekikolebwa okusingira ddala okulongoosa bitanka ebinene, ebirobo ebikama amata n’ebikozesebwa |
Bisonyiyibwa emisolo gyonna bwebiba nga biyingiziddwa mu ggwanga abantu abennyigira mu ku lima n’okulunda wansi w’ekitundu eky’okutaano (5th) ekya East African Community Customs Management Act, 2004. |
Emmere y’ebisolo |
· Tegyibwako VAT bweba nga eyingiziddwa mu ggwanga ba diira wansi wa kawayi ka VAT. Esonyiyibwa emisolo gyonna bweba nga eyingiziddwa mu ggwanga abantu abennyigira mu ku lima n’okulunda wansi w’ekitundu eky’okutaano (5th) ekya East African Community Customs Management Act, 2004.
|
Masiini/machinery ezikola ebiva mu mata |
· Tezigyibwako VAT bweziba nga ziyingiziddwa mu ggwanga ba diira wansi wa kawayi ka VAT. Omusolo ku biyingizibwa eggwanga guli 0% wansi wa East African Community Common External Tariff VAT Exempted. |
Ku lw’obubaka obusingawo, kyalira yafeesi ya URA ekuli okumpi okuyambibwa oba kuba essimu etali yakusasulira 0800117000/0800217000 oba WhatsApp: 077214000