Eby’ettaka n’ebizimbe mu Uganda mulimu bino;
- Badiira b’ettaka
Diira w’ettaka ye muntu afuna ettaka ku lw’okulitunda era n’alitunda nga bweriri.
- Omukulaakulanyi w’ettaka
Ono ye muntu afuna ettaka ku lw’okulitunda era n’alyongerako omuwendo nga alitematemamu okugeza 50X100, alisembereza ebikozesebwa, ateekako ebizimbe n’enkulaakulana endala eziyinza okulyongerako omuwendo, ayinza okulitematemamu oba okwongerako ebikozesebwa (amazzi, amasanyalaze), ebizimbe, n’ebyenkulaakulana okusobola okulyongerako omuwendo.
- Omukulaakulanyi w’ebizimbe
Ono ye muntu agula, n’azimba oba n’addabiriza ebizimbe/ebintu ebiriwo era n’abitunda.
- Bakayungirizi/Babulooka b’ettaka/ebizimbe
Ono ye muntu akiikirira abaguzi oba abatunzi mu kugula n’okutunda kw’ebizimbe, ettaka era balina layisinsi/bakkirizibwa minisitule y’eby’ettaka, amayumba n’okukulaakulana kw’ebibuga (Ministry of Lands, Housing and Urban Development).
Bakayungirizi b’ettaka/ebizimbe bagatta/bayunga banannyini ttaka ku basuubirwa okuba abapangisa sinakindi ba landiloodi/banannyini.
- Landiloodi/Nannyini ttaka/bizimbe
Ono ye muntu yenna apangisa ebyo ebitassimbuka mu kifo (ettaka oba ebizimbe) eri omuntu omulala (omupangisa) ku lw’okusasulwa. Landiloodi ayinza okuba ngeri ya ssekinoomu, kampuni, abeggasi/abaawamu, gavumenti oba ekitongole.
Ku lw’obubaka obusingawo, kyalira yafeesi ya URA ekuli okumpi okuyambibwa oba kuba essimu etali yakusasulira 0800117000/0800217000 oba WhatsApp: 077214000