Situudiyo kye ki?
Kkampuni omukolebwa, ennyumba omukolebwa, situudiyo omukolebwa ye kkampuni oba situudiyo ekola emirimu mu kitundu eky’eby’emizannyo, ebifulumizibwa mu tekinologiya owawaggulu, firimu, telefayina, ladiyo, obuzannyo obusesa, okuzanyirira okwetabwamu abalabi, obuzannyo bwa vidiyo, emigatta byalo, muzik (ebivuga oba amaloboozi) ne vidiyo/obutambi
Byetaba mu bizineesi efulumya ebiyiiye oba ebintu mu ngeri ezenjawulo omuli telefayina n’obulango ku laadiyo, amaloboozi/ebivuga ebiwulibwa n’ebirabwako/vidiyo, firimu, pulogulaamu za telefayina, pulogulaamu za laadiyo n’ebirala.
Bizineesi ya situudiyo yetaagibwa okuwandiisibwa ne;
Weetegereze:
Oluwandiisibwa, bizineesi yandyetaagibwa okugondera ebyetaago by’ebibiina ebiteekeddwawo mu mateeka nga;
Minisitule ya gender labour ne social development ey’abakozi
Ku lwa ssekinoomu
Eri atali ssekinoomu
Nnyiga wano eri ebyetaagisibwa okuwandiikibwa
Emisolo egiteekebwa ku kkampuni/bizineesi ezikola ebya situudiyo mulimu gino;
Omusolo ku Nnyingiza – gukola ku bonna, oba ssekinoomu oba atali ssekinoomu eyetabye mu nkola eno.
Weetegereze: Omutemwa gw’omusolo ku nyingiza eyatali ssekinoomu guli ebitundu 30% ku nnyingiza eyawamu eya bizineesi esalibwako (ennyingiza mu mugatte eyawamu yawuzaako okutoolebwako okukkirizibwa).
Wazira omutemwa gw’omusolo ku nnyingiza eya ssekinoomu gwesigamizibwa ku kika ky’ennyingiza omuntu mwagwa.
Nyiga wano ku mitemwa gy’omusolo ku nnyigiza
Omusolo ku bitongole oba kampuni
Gwe musolo oguteekebwa ku batali ssekinoomu nga ebitongole oba kkampuni abali mu nkola eno ku mutemwa ogwemanyi gwa bitundu assatu ku kikkumi (30%)
Omusolo ogwa Namulanda (VAT)
Omusolo gwa namulanda (VAT) musolo ogw’obuliwo ogugibwako ku mutemwa gwa 18% ku byonna ebikolebwa/ebifulumizibwa abantu abasasuzi b’emisolo kwegamba abantu abawandiisibwa oba abetaagisibwa okuwandiisibwa ku lw’ensoga za VAT. Omuwaatwa ogutandikibwako okuwandiisibwa ku VAT gwe mugatte/omuwendo ogw’omwaka ogussukka obukadde 150 oba obukadde 37.5 mu myezi essatu (3) egisooka egy’omudiringana.
Nyiga wano kubisingawo ku VAT
Weetegereze:
Bonna abawi b’omusolo abawandiisiddwa ku musolo ogwa namulanda (VAT) kibakakatako okuwandiisibwa ku EFRIS n’okuwa e-yinvoyisi (yinvoyisi eya EFRIS)
Nyiga wano ku ngeri y’okuwandiisibwa ku EFRIS
Omusolo ogugyibwa ku ssente ezisasulwa abakozi oba abantu abakuwa ebyamaguzi
Nyiga wano ebisingawo ku musolo ogugyibwa ku ssente ezisasulwa abakozi oba abantu abakuwa ebintu oba empeereza.
Omusolo ogugyibwa/ogusalibwa ku ssente omukozi zafuna okuva mu kukozesebwa
Omusolo guno gukola ku muntu oyo alina abakozi (abamanyirivu oba abaalejaleja) abafuna mu mugatte mu bungi bwa mitwalo abiri mwesatu n’ekitundu ensimbi za Uganda (Ugx. 235,000) buli mwezi. Enkola y’omusolo guno gugyibwako/gusigazibwa buli mwezi.
Nyiga wano ku mitemwa gy’omusolo ogugyibwa ku sente omukozi zafuna kuva mu kukozesebwa.
Ennyanjula eno ekolebwa nga ennyanjula endala ku musolo ku nnyingiza.
Nyiga wano ku ngeri y’okuwaayo ennyanjula.
Bw’omaliriza okuwaayo ennyanjula, wetaagibwa okusasula emisolo egibaliddwa oba egiragiddwa ng’okozesa engeri eziriwo gamba nga banka, mobile money oba essimu, VISA, Mastercard, EFT, RTGS, USSD code (*285#) ku ssimu n’enkola endala.
Weetegereze: Olunaku lw’olina okusasulirako omusolo lwe lumu n’oluweebwako ennyanjula.
Nyiga wano okuwandiisa ensasula
Bwoba tosobola kwewandiisiza ku mutimbagano, kyalira ofiisi ya URA ekuli okumpi okuyambibwa oba kuba ku ssimu etali ya kusasulira 0800117000/0800217000 oba WhatsApp: 0772140000