Kkampuni ezikwasaganya emikolo

Kkampuni ezikwasaganya emikolo ze ziriwa?

Kkampuni ekwasaganya emikolo ye mpeereza eyekikugu ekola okuteesa, okutegeka, n’okukola emikolo ku lwa ba kasitoma baayo. Kkampuni ekwasaganya emikolo ekola ogwakalabalaba eri enteekateeka z’omukolo omuli okuteesa, okubalirira, okukunga, okuweereza n’okulondoola.

Ebimu ku bitundu eby’omugaso ebyenyigirwamu kkampuni ezikwasaganya emikolo bye bino:

  • Emikolo gy’ebisanyusa, amaloboozi n’ebivuga
  • Embaga n’emikolo emirala egy’obwanannyini
  • Emyoleso n’okulaga ebintu ebintundiwa
  • Enkungaana n’okwolesa engeri ez’enjawulo ebintu gye bikolebwamu
Add to Bookmarks
Print Friendly, PDF & Email
(Visited 7 times, 1 visits today)

Kkampuni ezikwasaganya emikolo zikola emirimo mingi egy’enjawulo egikwata ku mukolo. Kkampuni ezikwasaganya emikolo zipangisibwa bizineesi ezabulijjo okuzikolerako omukolo. Ezimu ku mpeereza ezikwasaganyizibwa kkampuni z’emikolo mulimu;

  • Okukwasaganya ensengeka y’ebyuma ebiwulira n’ebiraba
  • Eby’okufumba (Eby’okulya n’okunnywa)
  • Okukwasaganya abasanyusi n’aboogezi
  • Eby’okwerinda
  • Okugaba tikiti
  • Okutimba n’okutonaatona
  • Okukola n’okusengeka awaweerezebwa
  • Okukwasaganya engeri z’okwewala emitawaana
  • Okutunda n’okuwagira ebikwata ku mukolo
  • N’ebirala

Bonna abetaba mu bizineesi ya kkampuni ey’emikolo betaagibwa okuwandiisibwa ne

  • Uganda Revenue Authority (URA) ku lw’emisolo
  • Eri atali ssekinoomu oyinza okuwandiisa erinnya lya kkampuni ne URSB

Ku lwa ssekinoomu

  • Endaga muntu oba kaadi endala zonna bbiri ezikwogerako; paasipooti, pamiti y’emmotoka, kaadi okulonderwa, kaadi ey’okukyalo eva ewa kyayimaani, kaadi y’okumulimu, kaadi y’obubuddami, sitatimenti ya banka eraga ennyinga n’ensasanya, pamiti ekkukkiriza okukolera mu Uganda, kaadi ya ssente, Visa, kaadi y’ekittavvu ky’abakozi (NSSF) n’ebirala.
  • Satifiketi ey’obuwandiike (bw’oba oli mu bizineesi)
  • Sitatimenti y’ebikukwatako n’endagaano z’abeggasi (eri abeggasi)

Eri atali ssekinoomu

  • Foomu nnamba abiri (20) eya kkampuni
  • Satifiketi eraga okutondebwawo kwa kkampuni

Nyiga wano eri ebyetaagisibwa okuwandiikibwa

  • Weetaagibwa okukyalira omutimbagano ku kibanja kya URA ura.go.ug
  • Nyiga wano okuwandiisibwa nga ssekinoomu
  • Nyiga wano okuwandiisibwa nga atali ssekinoomu

  • Nyiga wano ku ddembe lyo ng’omuwi w’omusolo.
  • Nyiga wano ku buvunanyizibwa bwo ng’omuwi w’omusolo.

Kyamugaso nnyo gyoli okukuuma ebiwandiiko byo byonna ebituufu ebikwatagana ku nkola ya bizineesi yo waakiri emyaka etaano oluvannyuma lw’enkomerero y’ekiseera eky’omusolo kwe byekuusa okusobola okubikozesa gye buggya oba mumaaso eyo.

Mu bino mulimu:

  • Ebiwandiiko by’ennyigiza efuniddwa n’ensasanya (olukalala lwa lisiiti n’ensasula)
  • Olukalala lw’omusaala gw’abakozi
  • Endagaano
  • Ekiwandiiko kya banka ekiraga ensimbi zo eziterekeddwa n’ezigyibwayo
  • Amabaluwa agakakasa emirimu egigabiddwa
  • Ebikozesebwa okugeza amasanyalaze, amazzi n’ebirala
  • Ebitabo ebiraga ebintu ebikuyambako mu bizineesi nga emotoka, entebe, n’ebiwandiiko ebirala bingi eby’omugaso eri bizineesi yo nga obutabo bwa lisiiti, yinvoyisi, b’obanja ne b’olina okusasula.

Nyiga wano ku ntereka y’ebiwandiiko bya bizineesi

Emisolo egiteekebwa to kkampuni ezikwasaganya emikolo oba bizineesi ya situudiyo mulimu gino;

Omusolo ku nnyingiza – gukola ku bonna abetaba mu bizineesi oyo ssekinoomu oba atali ssekinoomu.

Weetegereze: omutemwa ogukozesebwa eri musolo ku nnyigiza eri bizineesi eya atali ssekinoomu guli 30% ku nnyigiza eyawamu (ennyigiza etanatoolwako yawuzaako ensasanya ekkirizibwa). Wazira omusolo ku nnyigiza gusinzira ku tuluba omuntu mwagwa.

Nyiga wano ku mitemwa gy’omusolo ku nnyigiza

Omusolo ku nyingiza y’ebitongole/Kkampuni

Guno gwe musolo oguteekebwa kw’abo abatali ssekinoomu mu tuluba lino ku mutemwa ogw’etongodde gwa 30%.

Omusolo ogugyibwa ku ssente ezisasulwa abakozi oba abantu abakuwa ebyamaguzi:

Guno gusasulwa kkampuni ezikwasaganya emikolo singa empeereza ekoleddwa oyo kayungirizi w’omusolo guno amanyikiddwa ng’omuwendo gwa yinvoyisi gussuka UGX 1,000,000

Nyiga wano ku musolo ogugyibwa ku ssente ezisasulwa abakozi oba abantu abakuwa ebyamaguzi

Omusolo ogwanamulanda (VAT) – eri abali mu bizineesi ekwasaganya emikolo abayingiza ennyingiza essuka 150,000,000 mu mwaka balina okusasula VAT ku buli yinvoyisi ya EFRIS egabiddwa.

Singa kkampuni ekwasaganya emikolo efuna okuwagirwa okuva eri kkampuni endala yonna, erina okuwandiika yinvoyisi eriko VAT okuyita ku EFRIS eri kkampuni egiwagidde.

Nyiga wano ku VAT

Omusolo ogugyibwa/ogusalibwa ku ssente omukozi zafuna okuva mu kukozesebwa

Omusolo guno gukola ku muntu oyo alina abakozi (abamanyirivu oba abaalejaleja) abafuna mu mugatte mu bungi bwa mitwalo abiri mwesatu n’ekitundu ensimbi za Uganda (Ugx. 235,000) buli mwezi. Enkola y’omusolo guno gugyibwako/gusigazibwa buli mwezi.

Nyiga wano ku mitemwa gy’omusolo ogugyibwa/ogusalibwa ku ssente omukozi zafuna okuva mu kukozesebwa

 

Enyanjula eno ekolebwa nga enyanjula endala yonna ku musolo ku nnyingiza.

Nyiga wano ku ngeri y’okuwaayo enyanjula yo.

Oluvannyuma lw’okuwaayo enyanjula, weetaagibwa okusasula emisolo egivuddemu oba egibaliddwa ng’okozesa engeri eziteekeddwawo okugeza banka, okusasulira ku ssimu, EFT, RTGS, VISA, kaadi ya masta, USSD Code (*285#), n’engeri endala.

Weetegereze: olunaku olw’esalira olw’okusasulirako omusolo lwe lumu n’olw’okuwaayo enyanjula.

Nyiga wano okuwandiisa ensasula

Bwoba tosobola kwewandiisiza ku mutimbagano, kyalira ofiisi ya URA ekuli okumpi okuyambibwa oba kuba ku ssimu etali ya kusasulira 0800117000/0800217000 oba WhatsApp: 0772140000

Print Friendly, PDF & Email
Add to Bookmarks (0)
Skip to content