Omutegesi w’ebivvulu y’ani?
Omutegesi w’ebivvvulu, y’oyo avunaanyizibwa ku kuteekateeka ebyo byonna ebyetaagisa ekivvulu okubeerawo. Muno mulimu okubeera kintunzi w’ekivvulu ekyo, okukunngaanya banna bitone okusanyusa ababa bazze ku kivvulu ekyo, n’ebintu ebirala bingi.
Abategesi b’ebivvulu beetaaga okwewandiisa n’ebitongole bino wammanga:
Eri kkampuni, weetaaga okwewandiisa n’ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau (URSB) okufuna erinnya lya bizinesi
Eri abantu ssekinnoomu
Eri kampuni
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku byetaagisa okwewandiisa
Ng’omuwi w’omusolo, olina eddembe lyo ku nsonga z’omusolo. Kyokka era olina obuvunaanyizibwa bw’oteekwa okutuukiriza.
Omusolo gwa Withholding tax – guno gusasulwa omuteesiteesi w’ekivvulu bw’aba alina obuweereza bw’awa omuntu oba ekitongole kyonna. Mu mbeera eno aweebwa omusolo guno ateekeddwa okuba nga ajenti wa URA ku kukunngaanya omusolo guno (withholding agent) era ensimbi ezisasulwa ziteekeddwa okuba nga ziwera ensimbi 1,000,000 n’okusukkawo.
Omusolo gwa VAT – eri abo abafuna ennyingiza nga bagiggya mu kuteekateeka ebivvulu ng’esukka obukadde 150 buli mwaka, basuubirwa okukunngaanya omusolo ku buli lisiiti y’okuyingira ekivvulu eba etundiddwa ku bitundu 18 ku 100 (18%).
Omuteesiteesi w’ekivvulu yenna bw’afuna kkampuni essa ensimbi mu kivvulu, ateekeddwa okugikolera e-invoice ng’eno eriko omusolo gwa VAT ogusasulwa oyo aba atadde ensimbi mu kivvulu ekyo.
Ennyanjula oba litaani eno essibwamu nga litaani endala ez’omusolo ku nnyingiza.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku ngeri y’okussaamu ennyanjula oba litaani.
Oluvannyuma lw’okussaamu ennyanjula oba litaani, osasula omusolo oguba gulagiddwa mu litaani eyo ng’okozesa enkola ez’enjawulo okugeza bbanka, mobile money, VISA, EFT, RTGS, Mastercard, USSD code (*285#) n’enkola endala zonna.
Weetegereze: Nsalesale w’okussaamu ennyanjula oba litaani y’omu n’ow’okusasula omusolo.
Okumanya ebisingawo, kyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi oba kuba ku ssimu etasasulirwa: 0800117000/0800217000 oba ku WhatsApp: 077214000