Omusolo gwa VAT kye ki?
Omusolo gwa VAT oba oga nnamulanda gweguwoozebwa okuva ku byamaguzi oba obuweereza ebyassibwako omusolo ogwo. Omusolo guno guggibwa ku buli mutendera omuwendo lwegwongerwa ku kitundibwa.
Mu Uganda, omusolo guno guwoozebwa okuva ku byamaguzi oba obuweereza kwegwassibwa (taxable supply), ebikolebwa wano ssaako n’ebyo ebiyingizibwa eggwaga nga bino birina okuba nga bitundibwa oyo yenna eyawandiisibwa ku musolo gwa VAT.
Waliwo ebyamaguzi oba obuweereza okutassibwa musolo guno nga bino bimanyiddwa nga exempt supplies.
Bino bye byamaguzi ebikolebwa mu Uganda, nga kw’ossa n’ebyo ebiyingizibwa eggwanga nga bitundibwa oyo yenna eyeewandiisa ku musolo gwa VAT. Ebyamaguzi ebyo biggyibwako omusolo ku bitundu 18 ku buli 100 (18%) era bimanyiddwa nga standard rated supplies oba 0 ku buli 100 (0%) nga bino bimanyiddwa nga zero-rated supplies.
Bino bye byamaguzi oba obuweereza obwassibwako omusolo gwa VAT ku bitundu 18 ku buli 100 (18%). Bino bitwaliramu ebyamaguzi n’obuweereza bwonna okujjako ebyo ebirambikiddwa mu tteeka erirambika engeri omusolo gwa VAT gyeguwoozebwamu (Second Schedule of the VAT Act)
Ebyokulabirako ku bintu ebyassibwako omusolo gwa VAT
Bino bye byamaguzi oba obuweereza okutassibwa musolo gwa VAT. Bino bisangibwa mu tteeka ly’omusolo gwa VAT (Second schedule). Ebyokulabirako ku byamaguzi ebyo kuliko:
Weetegereze: Oyo yenna atunda ebyamaguzi oba obuweereza okutali musolo gwa VAT tebalina kwewandiisa ku musolo gwa VAT, kyokka ate abo abatunda ebyamaguzi/obuweereza ku bitundu 0 ku 100 (0%) balina okwewandiisa ku musolo guno.
Buli bwewabaawo ekitundiddwa, kisuubirwa nti waliwo omuwendo gwakyo. Mu mbeera y’omusolo gwa VAT, ekyamaguzi oba obuweereza biggyibwako omusolo nebwekiba nga tewali nsimbi zisasuliddwa.
Ku nsonga z’omusolo, omuntu atwalibwa okubeera mu biti eby’enjawulo okugeza omuntu yennyini assa, kkampuni, abantu oba kkampuni mu ngeri y’obwegassi, gavumenti n’ebirala.
Oyo ye muntu oba kkampuni ekiba kyewandiisa ku musolo gwa VAT. Kyokka era omuntu oba kkampuni eba yatuusa okwewandiisa naye nga teyeewandiisanga naye atwalibwa mu ttuluba lino.
Guno gwe musolo oguteekebwa ku biba biguliddwa oba ebisuubuddwa. Ekyokulabirako, singa wabeerawo kkampuni ekola amazzi g’omuccupa, omusolo gwa VAT ogussibwa ku bucupa omuteekebwa amazzi gwegumanyiddwa nga input tax. Omusolo guno gussibwa ne kw’oyo aba asuubudde ebyamaguzi okuva ebweru w’eggwanga.
Guno gwe musolo gwa VAT ogussibwa ku byamaguzi nga bitundibwa, nga kino kikolebwa oyo eyeewandiisa ku musolo guno.
Okumanya omusolo ogusasulwa, tufuna VAT eyassibwa ku byamaguzi nga bisuubulwa (Input VAT) netumegeraageranya n’ogwo ogussibwa ku byamaguzi ebyo nga bitundibwa (output tax). Singa omusolo ogussibwa ku bitundibwa gusinga ogwo ogwabissibwako nga bisuubulwa, awo wabaawo omusolo gw’okusasula.
Kyokka ate singa omusolo ogwassibwa ku bigulibwa gusinga ogwo ogugattiddwako mu kutunda, awo URA eba eteekeddwa okukuddiza ensimbi ezo oba okuzikozesa okukendeeza omusolo oguba gunaasasulwa omwezi oguddako.
Omusolo guno guwoozebwa ku buli mutendera ebyamaguzi mwebiyita okutuuka kw’oyo asembayo okugula ebyamaguzi ebyo olwo n’abikozesa. Omuntu yenna ayingiza ebyamaguzi mu ggwanga, aggyibwako omusolo gwa VAT, ekyo kyekimu n’oyo abikolera wano. Oyo abisuubudde oba abiyingizza mu ggwanga bw’abisuubuza omulala yenna okugeza atunda mu bungi oba mu butonotono, ateekako VAT. Omusolo ogwo oguteereddwa ku byamaguzi nga bitundibwa eri abatunda mu bungi tugwawula kw’ogwo ogwabiteekebwako nga bisuubulwa olwo ennjawulo gwe musolo ogusasulwa eri URA. Kino kiba bwekityo okutuukira ddala kw’oyo asembayo okugugula ebyamaguzi bino ng’oyo y’asasula omusolo guno.
Omuntu oba kkampuni ekola emirimu oba esuubira okukola emirimu mu byamaguzi oba obuweereza bwonna obassibwako omusolo gwa VAT ng’eyingiza ensimbi 37,500,000 mu ttunzi buli luvannyuma lwa myezi esatu oba ensimbi 150,000,000 omwaka aba ateekeddwa okwewandiisa ku musolo guno.
Weetegereze: Ensimbi ezoogeddwako waggulu, tetubala magoba wabula ettunzi lyonna awamu. Ensimbi zino zikola kw’ebyo ebikoleddwa mu Uganda.
Okwewandiisa ku musolo gwa VAT kibaawo mu ngeri bbiri; okwewandiisa okw’obuwaze n’okwa kyeyagalire.
Bwekiba nga mu myezi esatu egiyise, ettunzi erikoleddwa nga n’omusolo gwa VAT gussiddwamu nga lisukka ensimbi 37,500,000, omuntu oba kkampuni eteekeddwa okuwandiisibwa ku musolo gwa VAT bunnambiro. Ne bwekiba nga kisuubirwa nti oluvannyuma lw’emyezi esatu, ettunzi linaasukka ensimbi 37,500,000, bizinesi eba etuuse okwandiisibwa ku musolo. Jjukira nti ebitundibwa birina okuba nga byassibwako omusolo gwa VAT.
Omuntu yenna nga mu myezi esatu taweza bukadde 37.5 mu ttunzi oba obukadde 150 omwaka asobola okuteekayo okusaba okwewandiisa ku musolo gwa VAT mu nkola eya kyeyagalire. Omuntu oyo aba alina okumatiza URA nti alina ekifo eky’enkalakkalira w’akolera emirimu gye ng’era akuuma ebitabo bya bizinesi ebituufu.
Omusolo gwa VAT ku byamaguzi oba obuweereza kyokka ng’ebbeeyi yaabyo temanyikiddwa bulungi gubalibwa okusinziira ku bbeeyi y’ebyamaguzi oba obuweereza obwo ku katale ekiseera obuweereza oba ebyamaguzi ebyo lwebitundiddwa. Ebyokulabirako; ebirabo, ebintu ebiggyibwa mu bizinesi nga nnyini byo y’abikozesa, n’okuwaanyisiganya, ekimanyiddwa nga  barter trade.
Nga waakewandiisa, osuubirwa okukola ebintu bino wammanga:
Enkola ya EFRIS, nkolaya kalimagezi ekozesebwa okufulumya e-receipt ne e-invoice, n’okuyamba oyo yenna akola bizinesi okusobola okulondoola ebitundibwa mbagirawo. Abo bonna abeewandiisa ku musolo gwa VAT bateekeddwa okukozesa EFRIS okugaba e-receipt ne e-invoice eri ba kasitoma baabwe. Era basuubirwa okugula okuva eri abo abeewandiisa erabateekeddwa okubawa e-invoice singa ebyamaguzi bibaamu omusolo gwa VAT. Kyokka abo abateewandiisanga ku musolo gwa VAT basobola okwewandiisa kyeyagalire olwo bbo ne bagaba e-receipt.
Â