Ekitundu Eky’okusuubulira Mu Bungi Ne Mu Bitono

Okusuubulira mu bungi kye ki?

Okusuubulira mu bungi kwekugula ebyamaguzi mu bungi okuva mu babikola oba ababitambuza ne bitundibwa eri abasuubuzi abatunda ebitonotono mu miwendo emitono.

Abasuubulira mu bungi ebiseera ebimu ebyamaguzi babiguza ababikozesa butereevu mu miwendo emitono

Add to Bookmarks
Print Friendly, PDF & Email
(Visited 64 times, 1 visits today)

Okusuubulira mu bitono kwe kugula ebyamaguzi okuva mu basuubuzi abebingi oba ababitambuza ne biguzibwa ababikozesa mu miwendo emitono.

Mu kitundu kya basuubuzi b’ebingi n’ebitono mulimu ebika bibiri ebya basasuzi b’emisolo

  • Abasasuzi b’emisolo aba bizinensi entono mu mugatte nga ebitundibwa omwaka tebisuka Ugx 150,000,000
  • Abasasuzi b’emisolo aba VAT mu mugatte nga ebitundibwa omwaka bisukka Ugx 150,000,000

Bizinensi zonna mu Uganda zetaagibwa okuwandiisibwa ne

  • Uganda Registration Services Bureau (URSB) ku lw’erinnya lya bizinensi
  • Uganda Revenue Authority (URA) ku lw’emisolo gamba nga okufuna TIN
  • Local Council Authority okugeza KCCA, Municipal council, ku lwa layisinsi ey’okusuubula

Wetegereze:

Tojja kuweebwa layisinsi ya busuubuzi okuggyako nga olina TIN (enamba esasulibwako emisolo)

Nyiga wano ku lw’ebyetaagisibwa okuwandiika bizinensi yo ey’okusuubulira mu bungi /mu bitono

Weetaagisibwa okugenda ku mutimbagano gwa yintanet ku kibanja kya URA ku www.ura.go.ug

Nyiga wano okwewandiisa nga ssekinoomu

Nyiga wano okwewandiisa nga atali ssekinoomu

Nga omuwi w’omusolo oweebwa ddembe. Wazira olina obuvunanyizibwa bwolina okutuukiriza.

Nyiga wano okulaba eddembe lyo n’obuvunanyizibwa nga omuwi w’omusolo

Wetaagibwa okutereka biwandiiko ebikwata ku nsasanya zonna eza bizinensi yo. Kyamugaso nnyo bulijjo okubeera n’ebiwandiiko ebirina ennaku z’omwezi okusobola okutegeera alipoota budde ki mwezigwa. Zino mulimu;

  • Ebiwandiiko ku nnyigiza
  • Ebiwandiiko ku alisiiti ne yinvoyisi
  • Kw’osasulira
  • Enambika eyingibwako ebyamaguzi singa oba oyingiza ebyamaguzi okuva ebweru we ggwanga
  • Kontulakiti ezikoleddwako
  • Sitatimenti za banka
  • Amabaluwa agawa abakozi bo emirimu n’obukakafu obulaga ensasula y’emisaala ggyabwe
  • Ensasanya y’ebikozesebwa/utility bills (amazzi, amasanyalaze n’ebirala)
  • Ebiwandiiko ku bitereke/sitooka
  • Ebiwandiiko ku bintu by’okozesa (entebe, kompyuta, emmotoka, firigi, pikipiki n’ebirala)
  • Bobanja ne abakubanja

Wetegereze bakasitoma/bakirayanti bo abawandiise ku VAT balina okuwa e-Invoice okuyita ku mutimbagano awali EFRIS

Nyiga wano okumanya ebisingawo ebikwata ku EFRIS

Add to Bookmarks (0)
Skip to content