EKITUNDU EKY’OKUSUUBULIRA MU BUNGI NE MU BITONO

Okusuubulira mu bungi kwekugula ebyamaguzi mu bungi okuva mu babikola oba ababitambuza ne bitundibwa eri abasuubuzi abatunda ebitonotono mu miwendo emitono.

Abasuubulira mu bungi ebiseera ebimu ebyamaguzi babiguza ababikozesa butereevu mu miwendo emitono

Add to Bookmarks
Print Friendly, PDF & Email
(Visited 683 times, 1 visits today)

Okusuubulira mu bitono kwe kugula ebyamaguzi okuva mu basuubuzi abebingi oba ababitambuza ne biguzibwa ababikozesa mu miwendo emitono.

Mu kitundu kya basuubuzi b’ebingi n’ebitono mulimu ebika bibiri ebya basasuzi b’emisolo

  • Abasasuzi b’emisolo aba bizinensi entono mu mugatte nga ebitundibwa omwaka tebisuka Ugx 150,000,000
  • Abasasuzi b’emisolo aba VAT mu mugatte nga ebitundibwa omwaka bisukka Ugx 150,000,000

Bizinensi zonna mu Uganda zetaagibwa okuwandiisibwa ne

  • Uganda Registration Services Bureau (URSB) ku lw’erinnya lya bizinensi
  • Uganda Revenue Authority (URA) ku lw’emisolo gamba nga okufuna TIN
  • Local Council Authority okugeza KCCA, Municipal council, ku lwa layisinsi ey’okusuubula

Wetegereze:

Tojja kuweebwa layisinsi ya busuubuzi okuggyako nga olina TIN (enamba esasulibwako emisolo)

Nyiga wano ku lw’ebyetaagisibwa okuwandiika bizinensi yo ey’okusuubulira mu bungi /mu bitono

  • Weetaagisibwa okugenda ku mutimbagano gwa yintanet ku kibanja kya URA ku www.ura.go.ug

    Nyiga wano okwewandiisa nga ssekinoomu

    Nyiga wano okwewandiisa nga atali ssekinoomu

    Bwoba tosobodde kwewandiisiza ku mutimbagano, kyalira yafeesi ya URA ekuli okumpi okufuna obuyambi oba kuba essiimu etali yakusasulibwa/ey’obwerere 0800117000/0800217000 oba WhatsApp: 0772140000

Nga omuwi w’omusolo oweebwa ddembe. Wazira olina obuvunanyizibwa bwolina okutuukiriza.

Nyiga wano okulaba eddembe lyo n’obuvunanyizibwa nga omuwi w’omusolo

 

Wetaagibwa okutereka biwandiiko ebikwata ku nsasanya zonna eza bizinensi yo. Kyamugaso nnyo bulijjo okubeera n’ebiwandiiko ebirina ennaku z’omwezi okusobola okutegeera alipoota budde ki mwezigwa. Zino mulimu;

  • Ebiwandiiko ku nnyigiza
  • Ebiwandiiko ku alisiiti ne yinvoyisi
  • Kw’osasulira
  • Enambika eyingibwako ebyamaguzi singa oba oyingiza ebyamaguzi okuva ebweru we ggwanga
  • Kontulakiti ezikoleddwako
  • Sitatimenti za banka
  • Amabaluwa agawa abakozi bo emirimu n’obukakafu obulaga ensasula y’emisaala ggyabwe
  • Ensasanya y’ebikozesebwa/utility bills (amazzi, amasanyalaze n’ebirala)
  • Ebiwandiiko ku bitereke/sitooka
  • Ebiwandiiko ku bintu by’okozesa (entebe, kompyuta, emmotoka, firigi, pikipiki n’ebirala)
  • Bobanja ne abakubanja

Wetegereze bakasitoma/bakirayanti bo abawandiise ku VAT balina okuwa e-Invoice okuyita ku mutimbagano awali EFRIS

Nyiga wano okumanya ebisingawo ebikwata ku EFRIS

  • Tereka bulungi ebiwandiiko byonna eby’ensasanya n’enyigiza ya bizinensi mu lulimi olungereza.
  • Bwoba wetaaga okutereka ebiwandiiko mu lulimi olwawufu, kiteeke mu buwandiike ne nsonga enambulukufu eri Kamisona okukkirizibwa.
  • Wa kiwandiiko wekitali mu lungereza oggya kwetaagisibwa okwesasulira ebisale eby’okuvuunula okudda mu lungereza eri omuvvunyuzi akakasiddwa Kamisona.
  • Tereka ebiwandiiko kisobole okuba ekyangu okumanya ebanja ly’omusolo;
  • Tereka ebiwandiiko okumala emyaka etaano (5) oluvanyuma lw’ekiseera ky’omusolo kwe byekuusa ku lw’okubikozesa mu maaso eyo.
  • Weetagisibwa okutereka/okukuuma ebiwandiiko waakiri okumala emyaka etaano (5) mu kiseera ekimu.
  • Ebiwandiiko ebiterekeddwa birina okubaamu obubaka obumala ku nsasanya n’enyigiza ate era bulina okukuumibwa mu ngeri ebusobozesebwa okufunibwa n’okukyusibwa mu ngeri/sitandadi etegeerekeka.
  •  
Add to Bookmarks (0)
Skip to content