Ebyenjigiriza kwe kugabana amagezi, obukugu n’enneeyisa, okuyita mu kusomesebwa okuyita mu masomero n’amatendekero (formal education) wamu n’okuyita mu mbeera y’okusomesebwa awaka (informal education). Mu Uganda, okusomesebwa mu masomero n’amatendekero kukolebwa amasomero n’amatendekero okuyita mu pulayimale, sekendule, amatendekero g’ebyemikono ne zi ssettendekero oba University.

Abatuusa obuweereza bw’okusomesa n’okutendeka abayizi mulimu:
Amasomero n’amatendekero ga gavumenti
Gano gasuubirwa okusasula ebika by’omusolo bino wammanga:
Amasomero n’amatendekero g’obwannannyini
Oluvannyuma lw’okwewandiisa, amasomero n’amatendekero galina okugoberera obukwakkulizi bw’okwewandiisa okuyita mu bitongole eby’enjawulo okugeza:
Nyiga wano fokumanya ebisingawo ku byetaagisa okwewandiisa ku musolo
Ng’omuwi w’omusolo, olina eddembe lyo ku nsonga z’omusolo. Kyokka era olina obuvunaanyizibwa bw’oteekwa okutuukiriza.
Eri amasomero n’amatendekero ga gavumenti.
Amasomero n’amatendekero g’obwannannyini
Omusolo ku nnyingiza
Omuntu yenna atuusa obuweereza bw’okusomesa eri abantu ateekeddwa okwewandiisa ku musolo ku nnyingiza. Omusolo ku nnyingiza gukola kw’abo bonna abalina ennyingiza omuli abantu ssekinnoomu n’amakampuni.
Omusolo ku magoba. Omusolo guno gusasulwa kkampuni ku bitundu 30 ku 100 (30%) ku magoba agaba gakoleddwa.
Emiwendo gy’omusolo ogusasulwa abantu ssekinnoomu banna Uganda ku nnyingiza
Nyiga wano okumanya omusolo ogusasulwa abantu ssekinnoomu ku nnyingiza
Omusolo ku nnyingiza y’abakozi oba Pay As You Earn (PAYE)
Any person dealing in education services business and offers employment is required to be registered for Pay As You Earn (PAYE). This tax can be withheld from both teaching and non-teaching staff who earn above UGX 235,000.
Weetegereze: Buli mukoze ateekeddwa okwewandiisa ku musolo n’afuna ennamba y’omusolo (TIN)
Nyiga wano okumanya emiwendo gy’omusolo ogusasulwa abatuuze n’abatali batuuze ba Uganda.
Omusolo gwa Withholding tax guggyibwa ku baguza amasomero n’amatendekero ebyamaguzi oba obuweereza
Omusolo guno gwe gumu ku bika by’omusolo ku nnyingiza era kuwoozebwa kw’abo abatuuza obuweereza oba ebyamaguzi eri amatendekero oba amasomero. Kino kiba bwe kityo eri oyo yenna asasulwa ensimbi 1,000,000 era ng’ebintu 6 ku 100 (6%) olwo ne gusasulwa eri URA.
Weetegereze: Buli atuusa obuweereza oba ebyamaguzi ateekedda okuba nga yeewandiisa ku musolo n’afuna TIN.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku musolo gwa Withholding tax.
Omusolo gwa VAT
Weetegereze: Obuweereza bw’ebyenjigiriza tekuggyibwa musolo gwa VAT. Kino kitegeeza nti obuweereza buno teri musolo gubuggyibwako, ekitegeeza nti nnannyini ssomero oba ttendekero teriteekeddwa kwewandiisa ku musolo guno.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku musolo gwa VAT
Ennyanjula oba litaani eno essibwamu nga litaani endala ez’omusolo ku nnyingiza.
Nyiga wano okumanya ebisingawo ku ngeri y’okussaamu ennyanjula oba litaani.
Oluvannyuma lw’okussaamu ennyanjula oba litaani, osasula omusolo oguba gulagiddwa mu litaani eyo ng’okozesa enkola ez’enjawulo okugeza bbanka, mobile money, VISA, EFT, RTGS, Mastercard, USSD code (*285#) n’enkola endala zonna.
Weetegereze: Nsalesale w’okussaamu ennyanjula oba litaani y’omu n’ow’okusasula omusolo.
OMUSOLO KU NNYINGIZA |
|||
Aganyulwa |
Oweerero ku musolo |
Ebbanga ly’obuweerero |
Obukwakkulizo bw’okufuna obuweerero |
Bannannyini masomero g’obwannannyini abakozesa abo abalina obulemu ku mibiri gyabwe |
Okukenddezebwa ku musolo oguva ku nnyingiza ebitundu 2% eri abo abakozesa abalina obulemu ku mubiri |
Ebbanga lyonna |
Abakozi 5% nga balina obulemu ku mubiri |
Abawi b’omusolo abasasula mu budde |
Omusolo gwa Withholding tax ku bitundu 6% |
Emyezi 12 naye nga gisobola okuzzibwa obuggya |
Kkamisona bw’aba alina obukakafu ng’amatidde nti omuwi w’omusolo atuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe ku musolo. |
Abawi b’omusolo bonna |
Okukendeeza ebitundu 100% kw’abo abakola okunoonyereza ku science |
Ebbanga lyonna |
Eri oyo asaasaanya ensimbi mu kunoonyereza okw’ekikugu |
Abawi b’omusolo bonna abatandikawo amatendekero g’eby’emikono. |
Ensaasaanya mu kutendekebwa ekendeezebwa ebitundu 100% |
Ebbanga lyonna |
Abakozesa abatendeka banna Uganda ku ngeri y’okusomesa mu matendekero ga waggulu obutasukka myaka etaano |
Teri musolo gwa VAT ku kusoma ngeri bizinesi gy’ekolebwamu n’okutunda ebyamaguzi ebikoleddwa mu Uganda. |
Ebbanga lyonna
|
Oyo yenna okuganyulwa, ateekeddwa okussa ensimbi obukadde bwa ddoola 10 eri abagwira oba emitwalo 30 eri abo abasangibwa mu mawanga g’obuvanjuba bwa Afirika, okwo ssaako n’emitwalo 15 egya ddoola eri abo abasiga ensimbi ewala okuva e Kampala. Obuweerero obwo butandika okukola ng’emirimu gino gitandise |
|
Okutunda ebyamaguzi ebikozesebwa mu kusoma |
Teri musolo gusasulwa ku bikozesebwa mu kusoma. |
Ebbanga lyonna |
Muno mutwaliramu ebikozesebwa mu kusoma kyokka nga bikoleddwa mu Uganda n’amawanga amalala agali mu mukago gw’obuvanjuba bwa Afirika. |
ABALI MU BYENJIGIRIZA N’EMIZANNYO |
||
|
Ebikozesebwa mu kusoma |
• Omusilo gwa VAT gusasulwa ku bitundu 0 ku 100 (0%) |
Emikebe egikozesebwa abayizi nga basoma. |
• Teri musolo gwa VAT gusasulwa okusinziira ku tteeka lya VAT. • Omusolo gusasulwa ku bitundu 0% ng’ebitabo bino biyingizibwa mu Uganda okusinziira ku tteeka lya East African Community Common External Tariff |
|
Ebyuma ebikola embaawo |
• Teri musolo gwa VAT gusasulwa okusinziira ku tteeka lya VAT. Omusolo gusasulwa ku bitundu 0% ng’ebitabo bino biyingizibwa mu Uganda okusinziira ku tteeka lya East African Community Common External Tariff |
|
Ebyuma ebikola woloding (welding) |
• Teri musolo gwa VAT gusasulwa okusinziira ku tteeka lya VAT. Omusolo gusasulwa ku bitundu 0% ng’ebitabo bino biyingizibwa mu Uganda okusinziira ku tteeka lya East African Community Common External Tariff |
|
Ebyalaani |
• Teri musolo gwa VAT gusasulwa okusinziira ku tteeka lya VAT. • Omusolo gusasulwa ku bitundu 0% ng’ebitabo bino biyingizibwa mu Uganda okusinziira ku tteeka lya East African Community Common External Tariff |
|
Ekkalaamu eza kkala, , rulers, obusiimuula, stencils, technical drawing sets, tab za kkompyuta ezikozesebwa mu kusoma ebirungo ebikozesebwa mu laboratory okusomesa amasomo ga science. |
• Teri musolo gwa VAT gusasulwa okusinziira ku tteeka lya VAT. |
|
Ebitabo ebisomebwa
|
• Teri musolo gwa VAT gusasulwa okusinziira ku tteeka lya VAT. Omusolo gusasulwa ku bitundu 0% ng’ebitabo bino biyingizibwa mu Uganda okusinziira ku tteeka lya East African Community Common External Tariff |
|
Bayibuli (Bible) |
• Teri musolo gwa VAT gusasulwa okusinziira ku tteeka lya VAT. • Omusolo gusasulwa ku bitundu 0% ng’ebitabo bino biyingizibwa mu Uganda okusinziira ku tteeka lya East African Community Common External Tariff |
|
Kulaani (Qur’an) |
• Omusolo gwa VAT gusonyiyibwa bweziba ziyingizibwa Uganda okusinziira ku tteeka lya VAT • Omusolo gusasulwa ku bitundu 0% ng’ebitabo bino biyingizibwa mu Uganda okusinziira ku tteeka lya East African Community Common External Tariff |
Okumanya ebisingawo, kyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi oba kuba ku ssimu etasasulirwa: 0800117000/0800217000 oba ku WhatsApp: 077214000