OKUKUKUSA EBYAMAGUZI KYE KI?

Okukukusa ebyamaguzi kitegeeza okuyingiza ebyamaguzi mu ggwanga eriri mu mukago gwa East Africa n’ekigendererwa ky’okumenya amateeka agakwatagana n’okuyingiza ebyamaguzi nga biyisiddwa ku Kasitomu, n’okwewala okusasula omusolo gwa Kasitomu. Oba kwe kwewala amateeka agakwatagana n’okuziyiza ssaako okuwera ebyamaguzi ebiyingizibwa n’okufulumizibwa mu limu ku mawanga g’omukago gwa East Africa, n’ekigendererwa ky’okwewala okusasula omusolo ku byo.

Mu bufunze, okukukusa ebyamaguzi kwe kuyingiza n’okufulumya ebyamaguzi n’ekigendererwa ky’okwewala okusasula omusolo.

Okukukusa ebyamaguzi y’engeri y’okukolamu emirimu mu bumenyi bw’amateeka. Ensonga ezisinga okuba enkulu lwaki abantu beenyigira mu kukukusa ebyamaguzimulimu okunoonya obugagga obwamangu, obutamanya n’obutabeera na mwoyo gwa ggwanga.   

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close

OKWEWALA OFIISI ZA KASITOMU KU NSALO Z’AMAWANGA    

Ekyokulabirako okuyita ku nnyanja Nalubaale (Lake Victoria), okuyita ku ttaka mu bitundu ebitali birambike bulungi, ku makubo, okukozesa enguudo z’eggaali y’omukka n’okuyitira mu nsiko. Enkola y’okukukusa ebyamaguzi eno esinga kubeera nnyo mu byamaguzi eby’ettunzi ng’omusolo gwabyo guli waggulu, ebyamaguzi ebyaziyizibwa ssaako n’ebyo ebyawerebwa okuyingiza oba okufulumya eggwanga.   

 

 

 

Ene y’embeera omuntu ayingiza ebyamaguzi w’ayanjulira ebyamaguzi ebitono kw’ebyo by’aba ayingiza eggwanga. Enkola y’okukukusa ebyamaguzi eno ebeerawo ku woofiisi za Kasitomu ez’enjawulo, nga kino kikolebwa mu bugenderevu ku luuyi lw’oyo aba abiyingiza eggwanga.  

Eno y’embeera ebyamaguzi we biteerebwako omuwendo oguli wansi w’ogwo kwe biba byaguliddwa. Okukendeezaa omuwendo gw’ebyamaguzi kibeerawo lwa bulagajjavu, nga kino kitumbula okukukusa ebyamaguzi, mu mbeera etali ya butereevu.

Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close
Skip to content