Bakayungirizi N'abakulaakulanyi B'ettaka

Kayungirizi we ttaka ye ani?

Ono ye muntu afuna ettaka ku lw’okulitunda era n’alitunda nga bweliri.

Add to Bookmarks
Print Friendly, PDF & Email
(Visited 293 times, 1 visits today)

Ono ye muntu afuna ettaka ku lw’okulitunda era naligattako omuwendo nga ali gabanyamu/alitematemamu okugeza 50X100, alisembereza ebikozesebwa, azimbako n’enkulaakulana endala eziyinza okulyongerako omuwendo, ayinza okulitematemamu oba okwongerako ebikozesebwa (amazzi, amasanyalaze), ebizimbe, n’ebyenkulaakulana okusobola okulyongerako omuwendo.

Omuntu ayinza okubeera mu kikula ekya ssekinoomu, kampuni oba abegassi

Bonna bakayungirizi/abakulaakulanyi be ttaka mu Uganda beetaagibwa okuwandiisibwa ne;

  • Uganda Registration Services Bureau (URSB) okuwandiisa kkampuni
  • Uganda Revenue Authority okusasula emisolo
  • Local council authority okugeza KCCA, municipal council, okufuna layisinsi ey’okutunda n’okugula

Ku lwa ssekinoomu

  • Ennanga muntu
  • Satifiketi y’obuwandiise

Ku lwa tali ssekinoomu (amakampuni/ebitongole)

  • Kampuni Form 20
  • Satifiketi ya incorporation

Nyiga wano ku lw’obubaka ku byetaagisibwa okuwandiisibwa

 

  • Wetaagibwa okukyalira omutimbagano/yintaneti ku ekibanja kya URA ku ura.go.ug
  • Nyiga wano okuwandiisibwa nga sekinoomu
  • Nyiga wano okuwandiisibwa nga atali sekinoomu

Nyiga wano ku lw’eddembe lyo n’obuvunanyizibwa nga omuwi w’omusolo

OMUSOLO KU MAKAMPUNI/EBITONGOLE

Omusolo ku makampuni/ebitongole gusalibwa ku magoba agafuniddwa kayungirizi we ttaka oba omukulaakulanyi we ttaka ku mutemwa gwa 30%.

Nyiga wano ku lw’obubaka obusingawo ku mbalirira y’omusolo gwa Corporation

OMUSOLO KU NYIGIZA EYA SSEKINOOMU

Abantu sekinoomu mu nsegeka eno balina okusasula omusolo ku nyigiza okusinziira ku kika kye nyigiza eteekeddwa ku buli omu.

Nyiga wano ku lw’obubaka obusingawo ku mbalirira y’omusolo ku nyigiza eya sekinoomu

OMUSOLO OGWA NAMULANDA

VAT musolo ogw’obuliwo ogugibwako ku mutemwa gwa 18% ku byonna ebikolebwa/ebifulumizibwa abantu abasasuzi b’emisolo okugamba abantu abawandiisibwa oba abetaagisibwa okuwandiisibwa ku lw’ensoga za VAT. Omutemwa ogutandikibwako okuwandiisibwa ku VAT gwe mugatte/omuwendo gw’omwaka ogusuka obukadde 150 oba obukadde 37.5 mu myezi essatu (3) egisooka egy’omudiringana.

VAT akola ku mukulaakulanyi afuna/ayingiza waggula wa UGX 150,000,000 mu mwaka oguliwo.

Nyiga wano okwewandiisa ku VAT

Wetegereze:

Bonna abawi b’omusolo obawandiisibwa ku VAT kibakakata ko okuwandiisibwa ku EFRIS n’okuwa e-yinvoyisi( yinvoyisi eya EFRIS)

Nyiga wano ku bubaka ku ngeri y’okwewandiisa ku EFRIS

Ettaka eritakulaakulanyiziddwa terigibwako VAT wazira, ettaka erikulaakulanyiziddwa (wa ebikozesebwa, ebizimbe n’enkulaakulana endala eziteereddwa ku ttaka) lisalibwako VAT ku mutemwa omumanye gwa 18%.

OMUSOLO OGUGYIBWA KU SENTE EZISASULWA ABAKOZI OBA ABANTU ABAKUWA EBYAMAGUZI

Kino kye kika ky’omusolo ku nyigiza ekisigazibwa omuntu awantu awamu (kayungirizi/agenti ateekeddwawo okusigaza omusolo) oluvannyuma lw’ensasula eri omulala (asasulibwa).

Wazira, kino kikola ku tunzi eririna omuwendo okugusukka UGX 1,000,000.

Wetegereze:

Omusolo ogugyiddwako gukendezebwa/gusalibwako ku musolo ogusasulibwa ku nyingiza y’omusolo ey’enkomeredde ku nyanjula

Nyiga wano ku lw’obubaka ku musolo ogusigazibwa

SASULA NGA BW’OFUNA

Kayungirizi/omukulaakulanyi wettaka yenna alina abakozi abafuna omusaala gw’omwezi ogusukka 235,000 buli mwezi yetaagibwa okuwandiisibwa ku Sasula nga Bw’ofuna (PAYE), ogusigazibwa n’asasula omusolo eri URA.

 

Bwomaliriza okuwaayo enyanjula, wetaagibwa okusasula emisolo egiragiddwa nga okozesa ensasula eziriwo gamba nga banka, mobile money, VISA, EFT, RTGS, Mastercard, USSD code (*285#) n’ endala.

Wetegereze: Olunaku lw’olina okusasulirako omusolo lwe lumu n’olwokuwaayo enyanjula

Ku lw’obubaka obusingawo, kyalira yafeesi ya URA ekuli okumpi okuyambibwa oba kuba essimu etali yakusasulira 0800117000/0800217000 oba WhatsApp: 077214000

 

After filing a return, you’re required to pay taxes due using available payment platforms e.g. banks, mobile money, VISA, EFT, RTGS, Mastercard, USSD code (*285#) etc.

Please note: the due date for payment of tax is the same as that of return filing.

For more information, visit the nearest URA office for assistance or call the toll-free line 0800117000/0800217000 or WhatsApp: 077214000

 

Add to Bookmarks (0)
Print Friendly, PDF & Email
Skip to content