Engeri Y’okuwooza Omusolo Eri Abalabirira Amayumba / Ebizimbe

Alabirira ebizimbe y’ani?

Eno ye kkampuni oba omuntu aweebwa omulimu gw’okulabirira ekizimbe ku lwa nnannyini kyo. Oyo yenna alabirira ekizimbe abeera n’obuvunaanyizibwa obw’okukirabirira, oluvannyuma n’anoonya abapangisa abakibeeramu.

Mu mbeera eno, asasula landiloodi, olwo ye n’asolooza abapangisa okumala ebbanga eriba likkiriziganyiddwako.

Ettuluba eddala ly’abalabirira ebizimbe muli abo abasasulwa olw’okulabirira ekizimbe mu byetaago byakyo byonna okugeza okukola ku mazzi, langi, amasannyalaze n’ebirala, oluvannyuma n’asasulwa nannyini kizimbe. ekyokulabirako e’y’amangu wano mu Uganda mulimu kkampuni ya Knight Frank.

Add to Bookmarks
Print Friendly, PDF & Email
(Visited 37 times, 1 visits today)

Abo bonna abalabirira ebizimbe mu Uganda beetaaga okwewandiisa n’ebitongole bino wammanga:

  • Uganda Registration Services Bureau (URSB) okuwandiisa kkampuni yo (okufuna erinnya)
  • Uganda Revenue Authority (URA) okwewandiisa ku musolo
  • Ebitongole bya gavumenti z’ebitundu okugeza KCCA, zi munisipaali ne disitulikiti olwo oweebwe olukusa lw’okukola omulimu ogwo.

Eri omuntu ssekinnoomu

  • National ID
  • Certificate of registration

Eri kkampuni

  • Company Form 20
  • Certificate of incorporation

Nyiga wano okumanya ebisingawo ku bye weetaaga okwewandiisa ku musolo.

  • Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug
  • Nyiga wano okwewandiisa ng’omuntu ssekinnoomu register as an individual
  • Nyiga wano okwewandiisa nga kkampuni

Omusolo ku magoba ku bizinesi yo (Corporation tax)

Guno musolo ku nnyingiza era nga guggyibwa ku magoba kampuni g’eba ekoze, era guwoozebwa ku bitundu 30 ku 100 (30%) ku magoba.

Individual Income tax

Individual property managers are eligible to pay income tax depending on the income bracket that relates to each.

Click here for more information on the computation of individual income tax

Omusolo gwa VAT

Omusolo gwa VAT gwe musolo ogusalibwa ku kukozesa ebintu oba empeereza ku mutemwa gwa bitundu 18 ku 100 (18%) ku bintu byonna ebikoleddwa abantu abaggyibwako omusolo kwegamba abantu abawandiisiddwa oba abetaagibwa okuwandiisibwa ku nsonga z’omusolo ogwanamulanda. Omuwendo okuwandiisibwa omusolo ogwa namulanda gwe mugatte ogw’omwaka okussuka obukadde 150, oba obukadde 37.5 mu myezi esatu (3) eggy’omuddirinngana.

Nyiga wano okwewandiisa ku musolo gwa VAT

Weetegereze:

Abo bonna abeewandiisa ku musolo gwa VAT bateekeddwa okwewandiisa ku nkola ya EFRIS, ne bagaba e-invoices.

Nyiga wano okumanya ebisingawo ku ngeri y’okwewandiisa ku nkola ya

  • Yee. Obuweereza bw’abalabirira amayumba buggyibwako omusolo gwa VAT ku bitundu 18 ku 100 (18%).

    Omusolo gwa Withholding tax

    Omusolo guno ku nnyingiza guggyibwa kw’oyo aba atunda ebyamaguzi, nga zino zimuggyibwako mu kiseera ng’asasulwa, ku bitundu 6 ku 100 (6%). 

Omusolo gwa Withholding tax ku bitundu 6% gukendeezebwa ku nsimbi ezisasulwa landiloodi singa ziba zisukka akakadde kamu, nga kino kikolebwa ajenti wa URA eyaweebwa olukusa okukunngaanya omusolo ogwo. agent.

Wetetegereze: Omusolo ogukunngaanyizibwa gukendeezebwa ku musolo oguba ogw’okusasulwa bizinesi eyo.

Nyiga wano okumanya ebisingawo ku musolo gwa Withholding tax.

  • Munna Uganda yenna asasula alabirira amayumba ateekeddwa okumuggyako omusolo guno ku bitundu 6 ku 100 (6%) ku nsimbi zonna z’aba asasuddwa, nga kino kikolebwa oyo yekka eyaweebwa olukusa lw’okukunngaanya omusolo guno (Withholding agent).

Oyo yena akola omulimu gw’okulabirira amayumba ng’alina b’akozesa, b’asasula omusaala nga gusukka ensimbi 235,000 buli mwezi ateekeddwa okwewandiisa ku musolo gw’abakozi, n’agukunngaanya oluvannyuma n’agusasula eri URA.

Nyiga wano okumanya emiwendo egisasulwa abakozi mu musolo

 

 

 

Yee. Bwe wabaawo amagoba agakoleddwa, omusolo guggyibwako mu bungi obumanyiddwa obw’ebitundu 30 ku 100 (30%)

Weetegereze: omusolo gwa withholding tax gukunngaanyizibwa oyo eyaweebwayo nga ajenti waagwo (withholding agent)

Ennyanjula oba litaani eno essibwamu nga litaani endala ez’omusolo ku nnyingiza.

Nyiga wano okumanya ebisingawo ku ngeri y’okussaamu ennyanjula oba litaani.

Oluvannyuma lw’okussaamu ennyanjula oba litaani, osasula omusolo oguba gulagiddwa mu litaani eyo ng’okozesa enkola ez’enjawulo okugeza bbanka, mobile money, VISA, EFT, RTGS, Mastercard, USSD code (*285#) n’enkola endala zonna.

Weetegereze: Nsalesale w’okussaamu ennyanjula oba litaani y’omu n’ow’okusasula omusolo.

Okumanya ebisingawo, kyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi oba kuba ku ssimu etasasulirwa: 0800117000/0800217000 oba ku WhatsApp: 077214000

Add to Bookmarks (0)
Print Friendly, PDF & Email
Skip to content