Enkola ya Automatic Exchange of Information (AEOI) y’eyo amawanga mwe gayitira okugabana obubaka obukwata ku muwi w’omusolo okuva mu ggwanga omuli ebyobugagga by’omuntu oyo okudda mu ggwanga omuwi w’omusolo oyo mw’abalibwa ng’omutuuze, nga buno bukwata ku bintu eby’enjawulo omuntu oyo mw’afuna ennyingiza. Muno mutwaliramu ensimbi ezisasulwa omuntu oyo okuva mu kkampuni mwe yagula emigabo (dividends), amagoba (interest), ensimbi ezimusasulwa olw’okukozesa erinna oba eby’obugagga bye kw’ossa ebiyiiye (royalties), omusaala n’ensimbi ezisasulwa oluvannyuma lw’omuntu kuwummula emirimu (pensions).
Mu mbeera ennyangu, obubaka obukwata ku akawunti oba ennyingiza ku bantu abatali batuuze ba ggwanga mu mateeka buweerezebwa eri eggwanga omuntu oyo mw’abalibwa ng’omutuuze ku nsonga z’omusolo.
Ebitongole by’omusolo ebisangibwa mu mawanga omuntu mw’aggya ennyingiza bigabana butereevu obubaka bw’omusolo n’ebyo ebisangibwa mu ggwanga omuwi w’omusolo mw’abalibwa ng’omutuuze, nga kino kikolebwa buli mwaka. Kino kiyambako ebitongole by’omusolo okuzuula emiwaatwa awayitibwa abantu okwewala okusasula omusolo olwo ne banogera ensonga eno eddagala nga bayita mu bikwekweto eby’enjawulo.
Uganda yaatandika okugabana obubaka ku musolo n’amawanga 125 mu nteekateeka ya AEOI nga kino kyatandika mu mwezi gwa September 2025. Enkola eno egendererwamu okulwanyisa abantu abeefunyiridde okwebalama okusasula omusolo. Wano ebitongole by’omusolo bikakasa nti bafuna obubaka obukwata ku batuuze b’amawanga abafuna ennyingiza okuva e mitala w’amayanja.
Okusinziira ku tteeka ly’omusolo ku nnyingiza (Income Tax Act, Cap 338), ennyingiza y’omuntu okuva mu bizinesi okwetooloola ensi eteekeddwa okwanjulwa, era singa omuntu alemererwa oba agaana mu bugenderevu okukola ekyo, asasuzibwa engassi nga bwe kirambiiddwa mu mateeka.
Okusinziira ku tteeka erirungamya enkungaanya y’omusolo erya Tax Procedures Code Act, omuntu yenna mu bugenderevu oba mu butali bugenderevu awa ofiisa w’omusolo amawulire amakyamu agakwata ku nnyingiza ye oba agabuzaazuza aba azzizza ousango, era bwe gumukka mu vvi, aweesebwa engassi ewerera ddala ensimbi 110,000,000
Enkola ya AEOI targets egendererwamu kufuna batuuze ba ggwanga mu nsonga z’omusolo okuli abantu ssekinnoomu, kampuni, trust n’ebitongole abakozi mwe batereka ensimbi z’obukadde (retirement funds).
Nga bwe tutandika okugabana obubaka ku nsonga z’omusolo n’amawanga amalala, Uganda ekkiriza abatuuze ku nsonga z’omusolo nga muno mulumu abantu ssekinnoomu ne kampuni okwanjula ebyobugagga n’ennyingiza ebifunibwa wabweru w’eggwanga eri URA olwo baganyulwe mu nkola y’okweroopa kyeyagalire ku nsonga z’omusolo mu nkola emanyiddwa nga Ahead of the commencement of the AEOI, Uganda is allowing resident AEOI Voluntary Disclosure Program.
Enkola ya AEOI Voluntary Disclosure Program
Enkola eno ekola ku batuuze ba Uganda ku nsonga z’omusolo okulibantu ssekinnoomu n’amakampuni nga balina ennyingiza ebweru w’eggwanga etayanjulwanga. Muno mulimu:
Weetegereze: Akawunti z’ensimbi mutwaliramu eza bbanka, akawunti ezikozesebwa mu kusiga ensimbi (investment accounts), akawunti okuterekebwa ensimbi (depository accounts), custodial accounts, n’akawunti za yinsuwa ezirondobeddwayo, n’endala.
Mu nkola y’okweyanjula kyeyagalire, ng’eno emanyiddwa nga AEOI Voluntary disclosure program,
Weetegereze: Emigaso gy’okweyanjula kyeyagalire (Voluntary Disclosure) gifunibwa mu bubaka obuba bwanjuddwa ku VDP form, era wano we wassibwa n’ekisonyiwo ku musolo.
URA yaakufuna obubaka obukwata ku akawunti z’abatuuze ba Uganda bonna ku nsonga z’omusolo, nga kino kya kukolebwa nga buli mwaka okuva mu mwezi gwa September 2025, n’olwekyo, okufuna ebikwata ku byobugagga n’ennyingiza ebiba bitayanjuddwa, omusolo ku byo gwa kugerekebwa era guwoozebwe, era n’abo abanaaba tebeeyanjudde ba kuvunaanibwa.
Kino kisinziira ku ndagaano y’amawanga emanyiddwa nga Multilateral Competent Authority Agreement on Automatic Exchange of Financial Account Information n’olukungaana olwakkiriziganya n’amawanga okuyambagana ku nzirukanya y’omusolo olwa Convention on Mutual Administrative Assistance in Tax Matters (Implementation) Act 2023.
Okussaamu okusaba ku nkola ya AEOI VDP okubalibwa nti kutuufu, ebyanjuddwa biteekeddwa okuba nga:
Weetegereze: Obubaka bwonna obumanyiddwako URA si bwa kukkirizibwa mu nkola ya Voluntary Disclosure mu nteekateeka eno, nga muno mw’otwalidde n’obwo obuli mu kunoonyerezebwako.
Obutuufu bw’obubaka obwanjuddwa
Omuntu assaamu okusaba mu nteekateeka ya AEOI Voluntary Disclosure ateekeddwa okuwaayo obubaka obutuufu. Kyokka bwe wabaawo ensobi zonna ezizuuliddwa, olwo omuntu oyo ateekeddwa okutegeeza URA, n’abutereeza, olwo n’aweereza obutuufu.
Omuntu waakukkirizibwanga okuddizibwa omusolo ogusasuddwa mu bungi obusukkiridde ku byabugagga bye ebisangibwa e mitala w’amayanja (foreign tax credit) okuva mu URA nga bwe kirambikibwa mu tteeka ly’omusolo ku nnyingiza. Omuntu oyo asobola okwebuuza abakugu mu nsonga z’omusolo okugeza ababalirizi b’ebitabo n’abo abeebuuzibwako ku nsonga z’omusolo, ayambibwe okujjuza ffoomu n’okukakasa nti ebiweerezeddwa bituufu.
URA esuubuza abawi b’omusolo nti ya kukuuma ebigiweereddwa nga bya kyama, ng’egoberera amateeka n’okulambikibwa okwassibwawo
Bwe wabeerawo enkola y’okugabana obubaka wakati w’amawanga ku musolo buli luvannyuma lwa kiseera, emigaso gino wammanga gifunibwa;
Okwongera ku musolo ogukungaanyizibwa nga tuyita mu kulambika omusolo ogukungaanyiziddwa n’okwekebejja akawunti z’abatuuze ba Uganda ku nsonga z’omusolo eziri e mitala w’amayanja ezanjuddwa