Omusolo gwa Withholding

Omusolo gwa withholding tax gwe gumu kw’ogwo oguli mu ttuluba ly’omusolo oguggyibwa ku nnyingiza y’omuntu nga guno guwoozebwa oyo eyaweebwa olukusa okuva mu URA (withholding agent), oluvannyuma neguweebwayo eri URA.

Etteeka ly’omusolo ku nnyingiza lirambika omuntu ateekeddwa okuwooza omusolo ogwo ssaako n’oyo gwe guba gulina okuggyibwako. Kino kisinziira ku buguzi oba ettunzi eriba likokeddwa.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close

Ono y’akkirizibwa okukuŋŋaanya omusolo guno ku lw’ekitongole kya URA.

Payee. Ono ye muntu aggyibwako omusolo gwa withholding tax

Omuntu (A person). Ono asobola okubeera omuntu ssekinnoomu, Kampuni, gavumenti, abakola emirimu mu bwegassi (partnership) n’ebirala. 

Ajenti w’omusolo ogwo y’oyo akkirizibwa mu mateeka okuggya omusolo ku nsimbi ezisasulwa eri oyo atuusizza obuweereza oba ebyamaguzi gyali. Okubeera ajenti, omuntu yenna ateekeddwa okutuukirza obukwakkulizo buno wammanga:

  • Okubeera ku lukalala lw’abo abalondeddwa okubeera ba ajenti b’omusolo gwa withholding taxnga luno lufulumizibwa minisita w’ebyensimbi mu gazette oba
  • Okusasula omuntu yenna ensimbi nga zassibwako omusolo gwa Withholding taxmu mateeka.

Weetegereze: Omusolo gwa withholding tax gusobola okuba ogw’enkomeredde (final tax) oba okukozesebwa oyo agusasula okukendeeze ku musolo gw’aba alina okusasula ng’omwaka guweddeko (tax credit).

Mu nkola y’omusolo guno, omusolo oguggyibwa ku muntu gubalibwa ng’ogwenkomeredde, era oyo agusasula;

  1. Talina kuwoozebwa musolo ku nnyingiza eyo
  2. Tateekeddwa kussaamu nnyanjula oba litaani ekwatagana na nnyingizza eggyiddwako omusolo guno
  3. Ennyingiza eyo tegattibwa na nnyingiza ndala yonna n’ekigendererwa ky’okugiggyako omusolo.
  4. Teri nsaasaanya ekkirizibwa kuggyibwa ku nnyingiza eno
  5. Teri nsimbi ziddizibwa eri oyo yenna aba aggyiddwako omusolo guno (tax refunds)

Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close
Skip to content