
Bizinensi ki ezitasasula musolo tuzimanye tuleme kukoonagana ne banaffe abazikola mu katale?
Bizinesi yonna etasukka ttunzi lya bukadde 10 mu mwaka tesasula musolo. Wabula, kino kitegeerekeka oluvannyuma lw’okukuuma ebiwandiiko, ng’omuntu bw’aba tabikuumye, teri bukakafu bwe tusobola kusinziirako kumanya nti bizinesi eno tesasula. Ku luuyi olulala, abeewandiisa ku musolo gwa VAT, ebintu ebimu tebiggyibwako musolo ogwo obugeza obuweereza bw’amasomero (Education Services), amalwaliro (Health Services) n’ebirala ebyalondebwayo.
Kisoboka okugereka omusolo gwa VAT okusinziira ku kunaabuka kw’ensimbi okubeerawo mukiseera ekyo mu by’enfuna by’eggwanga? Tulowooza enkola eno egenda kuyamba okugerekera abantu abatuufu VAT okusinga eno eriwo esasuza n’abantu abatateekeddwa kusasula musolo guno olw’okunaabuuka kw’ensimbi.
Ensimbi ez’essalira ku bizinesi okwewandiisa ku musolo gwa VAT ziri eri oyo yenna akola ettunzi erisukka obukadde 150 mu mwaka. Okusalawo ensimbi zino kusinziira ku mbeera y’ebyenfuna n’obuzito bw’ensimmbi mu ggwanga. Waliwo okusaba okwassibwayo mu minisitule y’ebyenfuna okwongera ku nsimbi ez’essalira (threshold), nga singa kino kinaayita, okunaabuuka kw’ensimbi kye kimu ku binaaba bitunuuliddwa.
Lwaki bawi b’omusolo bakyaata URA ng’ate efubye okukwaatagana n’abasuubuzi n’okubasomesa ku byeekola?
Kituufu wayinza okubaayo abantu abatonotono abakyatya ekitongole kya URA, wabula tuli ku kaweefube w’okubategeeza nti ekitongole kino kiriwo ku lwabwe. Mu mbeera eno, nkubiriza abantu baffe omulanga okugoberera bye tukola ku mikutu gy’ebyempuliziganya ez’enjawulo, okuli leediyo, terefayina n’emikutu gi mugattabantu. Mu buwufu bwe bumu, nkubiriza abantu okwettanira emisomo egy’enjawulo egitegekebwa ekitongole kya URA nga muno mwebasobola okutuddiza obubka ku ngeri gye bafunamu empeereza yaffe. Tuli mu lugendo lw’okukyusa ekitongole okuva mu mbeera y’ebiragiro (authority) okudda mu kutuusa obuweereza obulungi eri abantu (service), kubanga be bakama baffe.
Lwaki nsasula omusolo gw’emayumba gange kyokka URA neesigala ng’ensindikira obubaka obumanja ssente zaagwo kumpi buli kiseera?
Bwe tuba tuweereza obubaka obujjukiza abawi baffe ab’omusolo ku buvunaanyizibwa bw’okugusasula, bugenda eri abo abasuubirwa okuba nga babanjibwa omusolo. Kyokka, wansi w’obubaka obwo, tussaayo akawaayiro akalaga nti bw’oba wasasula dda, osobola obubaka okubuleka.
Lwaki bwetuwa URA ssente ennyingi okusinga ku zebeera etubanja tezituddiza mu bwangu ng’ate bwebeera etubanja ezaayo,ebeera nkamwe nnyo?
Bwe weesanga ng’osasudde ensimbi ezisukka mw’ezo z’olina okusasula, waliwo emitendera egigobererwa okukakasa nti waliwo ensimbi z’okukuddiza. Mu kukola kino, waliwo ebiwandiiko bye tukusaba okukakasa ensimbi ezo, nga wano obudde bweyerulamuko okutuuka ku kukkiriziganya okukuddiza ensimbi ezo. Ttiimu yaffe etunula mu nsonga ezifaanagana ng’eyiyo ekola ekisoboka kyonna okulaba ng’obudde buno bukendeeramu.
Mmaze ebbanga nga zisasula ssente z’emirimu gy’enkolera kkampuni ezenjawulo olw’ensonga za VAT gwe nayagala okutandika okusasula kyokka URA nerwawo okukola kunsonga yange. Kati nnnyinza kuyambibwa ntya okuzza obuggya entekateeka y’okusasula VAT gwe nali navaako olwa kkontulakiti eyali empa emirimu okuggwaako. Kati nazzeemu okukola, kyokka okunziza obugya kintwaalidde ebbanga?
Weebale kumanya buvunaanyizibwa bwo ku musolo okuli okwewandiisa ku musolo nga ogwa VAT. Tutuusa okwetonda kwaffe nti obuweereza bwe wali osaanidde okufuna tebwatuukirira bulungi. Nkusaba otuukirire woofiisi ya URA ekuli okumpi ensonga eyo ekolebweko bunnambiro.
URA egenda kutuyamba etya ku bantu abatugguza ebintu n’okutuwa empeereza mu bizinensi zaffe eno mukyaalo nga tulina okubaggyako omusolo gwa withholding tax ku bintu bye babeera batuwadde? Tukoze tutya okusigala nga tutuukiriza kye mwaagala, kyokka nga tetufunye buzibu n’abantu bano abayinza okutabuka naffe olw’okusigaza ssente zaabwe zino?
Nga tonnafuna muntu akuwa bintu oba obuweereza, nkusaba oyogerezeganyeemu naye ku nsonga y’omusolo gwa withholding tax, akimanye nti bw’aba akuwadde ebintu oba obuweereza obusukka akakadde k’ensimbi, omuggyako omusolo oguwerera ddala ebitundu 6 ku 100 (6%). Jjukira nti okuggya omusolo ogwo ku muntu akutuusizzaako ebintu oba obuweereza, oteekeddwa okuba nga waweebwa olukusa okutukwatirako ku nsonga eyo.
Lwaki emitendera Bamusigansimbi bawano gye bayitamu okusonyiyibwa omsolo mikalubo nnyo okusinga egya bagwiira?
Emitendera gy’okuganyulwa mu kisonyiwo ku musolo eri ba musigansimbi tegyawukana wakati w’oyo avudde ebweru w’eggwanga n’omutuuze wa wano. Kimanye nti n’ensimbi ez’essalira mu kufuna ekisonyiwo kino munnansi ziri wansi ddala bw’ogeraageranya n’avudde ebweru w’eggwanga.
No Comments yet!