Buuza Kamisona 25

URA eneetandika ddi okusasula ba Influencer omusolo gwa digito kubanga nabo kati bakola emirimu gy’okukuba obulango okufaananako ne kkampuni ezigisasula omusolo okukola ekintu kye kimu ku mikutu gya digito?

Omuntu yenna alina ennyingiza nga muno mwe mutwalira n’abo abakola omulimu gw’obwa influencer, ateekeddwa okwewandiisa ku musolo, n’aweebwa TIN. Bwe wabaawo obuweereza bw’atuusa eri omuntu oba ekitongole, aggyibwako omusolo gwa Withholding tax ku bitundu 6 ku 100 (6%), ng’era oluvannyuma lw’omwaka aggyibwako omusolo ku nnyingiza (income tax) ng’ayitira mu kussaamu ennyanjula oba litaani.

Lwaki Bamusigansimbi naddala Abagwiira mu basonyiwa omusolo, kyokka Bannansi ne bubabinika emisolo emiyittirivu mu bizinensi zaabwe?

Ba musigansimbi tebabalibwa nga bagwira bokka, wabula ne banna Uganda basobola okugwa mu ttuluba lino. Ekisobozesa omuntu yenna okubeera musigansimbi kwe kusobola okuweeza kapito w’okussa mu bizinesi eziba zikkiriziganyiddwako, ekitundu bizinesi mw’eteereddwa n’ekika kyayo. N’olwekyo, omuntu yanna k’abe munna Uganda asobola okuganyulwa mu kusonyiyibwa omusolo bw’aba atuukirizza ebisaanyizo.

Nze ow’e Mitooma nyinza ntya okuyambibwa okufuta TIN Number kubanga gyempangaalira wala nnyo era tetulina mpeereza ya URA eyo?

URA erina enteekateeka w’eetuukira ku bantu bonna okwetooloola eggwanga. Mu nkola eno, tutuusa obuweereza okuli okuwandiisa abawi b’omusolo era ne baweebwa TIN, nga kuno kw’otadde n’okubayamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obulala ku musolo. Kino tukikola nga tusembeza empeereza yaffe okuli woofiisi yaffe etambula (mobile bus). N’olwekyo, nkusaba ojjumbire obuweereza bwaffe obuleetebwa mu kitundu kyo, osobole okuganyulwa.

Agenti eyabweebwa olukusa okutukolera kunsoga z’emisolo mutegeera ntya? Twaagala kweewala bafere.

Nga URA ba ajenti be twakkiriziganya okukolagana nabo ku nsonga z’omusolo bali mu biti bino wammanga:

  • Ajenti w’omusolo oguwoozebwa munda mu ggwanga (Domestic Tax Agent)
  • Ajenti w’omusolo gwa Kasitomu ng’ono akuyambako okukola ku byamaguzi by’oyingiza n’okufulumya eggwanga (Customs Clearing agent).
  •  

Okutegeera nti ajenti gw’okolagana naye mutuufu, yitira mu mitendera gino wammanga:

  • Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug
  • Kebera ku mukono gw’ekibanja ogwa kkono wansi, onyige ku Choose An Agent
  • Ojja kulaba enkalala za ba ajenti ab’enjawulo abaaweeba olukusa. (Licensed Customs Agents ne Licensed DT Agents)
  • Nyiga ku kamu kw’obwo, ojjakulagibwa olukalala lwa ba ajenti
  • Yingizaamu TIN ya ajenti, oluvannyuma olabe obubaka obukakasa nti ajenti oyo yaweebwa olukusa.

Bw’oba weetaaga okumanya ebisingawo, tutuukirire ku nnamba zaffe ezitasasulirwa; 0800117000 oba 0800217000 oba okuyita ku mukutu gwa WhatsApp ku 0772140000, ojja kuyambibwa.

Sheilah; Ndi mu kukola nteekateeka za kutugatta n’omwami waffe, naye ekkanisa yatusabye 200,000/- mbu za musolo. Kituufu omusolo guno gye guli oba batufera.

Mukyala Sheilah, ensimbi ezikusabibwa essinzizo okubagatta n’omwami wo si musolo. Ensimbi zino ziyamba amasinzizo okubakolera enteekateeka y’okutambuza emirimu egy’enjawulo nga kwe kuli n’okugatta abagole.

Andrew Luyinda mu Kikuubo; natikka ebintu okuva e China nga mulimu amagirita n’obutebe ne babimpeereza. Kyokka bigenda okutuuka nga carton ziri 207 nga bwe nalaga kyokka nga pieces zisukkamu ez’ebintu ssekinoomu.  Bambala nga nina okusasula engassi ya bukadde 17, kye nakola ne twogera ne clearing agent wange ne tussaayo okwemulugunya. Twasalawo tusasule ebintu ebyali bituuse eyali asuubira okusasula obukadde 16 ne bansasuza obukadde 50. Okufuna obukadde 50 namala kutunda byange n’okwewola okuva mu bantu. Kyokka era ne bwe nazisasula baagaana okumpa ebintu nga baagala nsasula obukadde 17 ez’engassi. Tukole tutya kuba amazzi gaatwala emmaali yange, lenti batubanja n’abaana batudde.

Mwami Luyinda, nkusaasidde nnyo emitawaana egyatuuka ku bizinesi yo. Nkusaba otuukirire akulira Document Processing Center (DPC), atunule mu nsonga y’emiwendo gino, okukakasa oba gyali mituufu nga ajenti wo bwe yakulambika, ojja kuyambibwa.

Bwe sikkiriziganya na musolo gungerekeddwa akulira woofiisi ya URA, nneekubira wa enduulu?

Bw’otakkaanya na musolo gukugerekeddwa, olina eddembe ly’okwemulugunya, obutasukka nnaku 45 nga waakaweebwa assessment eyo. Gino wammanga gye mitendera mw’oyita okwemulugunya.

  • Kyalira ekibanja kyaffe ura.go.ug
  • Yingira mu akawunti yo eya TIN. Wano oteekeddwa okuba ng’olina TIN yo ne paasiwaadi
  • Nyiga ku objections with liability nga wano w’osobola okussizaamu okwemulugunya ku musolo ogukugerekeddwa.
  • Yingizaamu ebyetaagisa mu ffoomu ekuweereddwa oluvannyuma obubaka obwo obuweereze.

Osuubira okuddibwamu obutasukka nnaku 90 ku nsalawo yaffe ku kwemulugunya kwo.

Njagala okumanya omusolo gwa import duty ogw’ebintu ebyenjawulo kinnyambe okutegeera omusolo omutuufu gw’enteekeddwa okusasula nga zinatandika kusuubula bweru w’eggwanga?

Bw’oba oyagala okumanya embala y’omusolo ku bintu eby’enjawulo by’oyingiza eggwanga, kyalira ekibanja kyaffe ku www.ura.go.ug, onyige ku Imports and Exports. Oluvannyuma onoonye awali Customs Valuation nga wano w’olambikibwa ku ngeri gye tuggya omusolo ku byamaguzi eby’enjawulo.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content