Omulunzi w’ebisolo y’ani?
Ono ye muntu ssekinoomu/kampuni ekola mu ku kwasaganya n’okuzaazisa ebisolo by’awaka oba faamu n’ekigendererwa eky’okufuna ebintu ebibivaamu ku lw’enfuna.
Omulunzi w’ebisolo afuna ennyingiza okuva mu kutunda ebisolo n’ebyo ebibivaamu gamba nga ennyama, amaliba, amata n’ebirala.
Okulunda ebisolo, okulunda enkoko, okulima okulongoseemu mu kibangirizi ekitono nga ebimuli, ebibala, enva endiirwa n’okwongera omuwendo kw’ebyo ebiva mu kulima/okulunda okusobozesa omulimi okufunamu.
Wetegereze:
Oluvannyuma lw’okuwandiisibwa, omulimi yetaagibwa okugondera eby’etaagibwa ekitundu ky’ebisolo mu minisitule ye by’okulima, okulunda ebisolo n’ebyennyanja (Ministry of Agriculture, animal industry and fisheries)
Ku lwa ssekinoomu
Ku lw’atali ssekinoomu (kampuni/ekitongole)
Nyiga wano ku lw’obubaka ku byetaagibwa okuwandiisa bizinensi yo ey’okulunda ebisolo.
Click here ku lw’eddembe n’obuvunanyizibwa ng’omuwi w’omusolo
Click here for your obligations as a taxpayer.
Omuntu yenna eyennyigira mu bizinensi y’okulunda ebisolo yetaagibwa okuwandiisibwa ku musolo ku nnyigiza (okufunibwa kwa TIN/ennamba eyetaagibwa okusasulirako emisolo)
Omusolo ku nnyigiza okutwalira awamu guteekebwa ku bika by’abantu bonna abafuna ennyigiza, awatali ssekinoomu, atali ssekinoomu oba abeggasi.
Nyiga wano okwefunira TIN
Eno enyanjula ekolebwa nga enyanjula endala zonna ku musolo ku nnyingiza
Nyiga wano ku bubaka ku kuwaayo ennyanjula
Ng’omaliriza okuwaayo ennyanjula yo, wetaagibwa okusasula omusolo oguvuddemu ng’okozesa engeri ezisasulirwamu eziriwo gamba nga banka, mobile money, EFT, RTGS, VISA, Mastercard, USSD code (*285#) n’ endala.
Wetegereze: Olunaku lw’olina okusasulirako omusolo lwe lumu n’olwokuwaayo ennyanjula.