Guno gwe muwendo gw’ensimbi ogufunibwa omuntu oba kkampuni mu mwaka gw’ebyennyingiza okuva mu kupangisa eky’obugagga kye (ettaka oba ekizimbe) mu Uganda, oluvannyuma lw’okutoolako ensaasaanya eteekebwa ku kuyimirizaawo ekipangisibwa ekyo.
Ono ye muntu oba kkampuni apangisa omuntu omulala (omupangisa) eky’obugagga kye olw’okukifunamu ensimbi. Nannyini kizimbe ayinza okubeera:
Ono ye muntu akozesa eky’obugagga ky’omuntu omulala mu ngeri y’obusuubuzi era nga akisasulira ensimbi
Ku Bantu Ssekinnoomu
Omutendera I: Gatta omuwndo gw’ensimbi oguva mu kupangisa ebizimbe oba ettaka mu mwaka.
Omutendera II: Toolako ensimbi ez’essalira 2,820,000
Weetegereze: Teri nsimbi ndala zitoolwako
Ensimbii ezzijjibwako omusolo: R-2,820,000
Omutendera III: Funa omusolo ogusasulwa ng’ofuna ebitundu 12 ku buli 100 okuva ku nsimbi ezijjibwako omusolo kwe kugamba:
Omusolo ogusasulibwa = 12% X okuva ku nsimbi ezijjibwako omusolo
Ku bakola emirimu gy’obwegassi (Partnerships).
Zino zijjibwa ku buli muntu ali mu bwegassi obwo okusinziira ku mugabo gwe ku magoba ga bizinesi eyo.
Omutendera I: Gatta omuwendo gw’ensimbi ogwa buli muntu ali mu bwegassi (partner) oguva mu bipangisibwa mu mwaka. Zino katuziyite R
Omutendera II: Toolako ensimbi ez’essalira 2,820,000
Weetegereze: Teri nsimbi ndala zitoolwako
Ensimbii ezzijjibwako omusolo: R – 2,820,000
Omutendera III: Omusolo ogusasulwa guli ebitundu 12% okuva ku nsimbi ezijjibwako omusolo. Guno gujjibwa ku buli muntu okusinziira ku mugabo gw’alina ku magoba.
Ekyokulabirako ku bantu ssekinnoomu
Ensimbi zonna eziva mu bupangisa tugeze 6,000,000 buli mwaka
Omutendera I: Funa ensimbi zonna eziva mu bupangisa= 6,000,000
Omutendera II: Toolako ensimbi ez’essalira
=6,000,000-2,820,000=3,180,000
Omutendera III: Ensimbi ezijjibwako omusolo= 3,180,000
Omutendera IV: Balirira omusolo ku bitundu 12 ku buli 100 (12%)
=12/100 x 3,180,000
Omusolo oguva mu bipangisibwa guli 381,600
Ekyokulabirako ku bakola emirimu gy’obwegassi
Nga tukozesezza okubalirira okwo waggulu, singa Mwanje ne Kagolo bakola omulimu gw’obwegassi, nga bagabana mu bitundu 2:3,
Okubalirira omusolo Mwanje gw’asasula
= 2/5 x 381,600
= 152,540
Okubalirira omusolo Kagolo gw’asasula
= 3/5x 381,600
= 228,960
N’olwekyo, Mwanje asasula 152,640 ate Kagolo n’asasula 228,960
Omutendera I: Gatta omuwendo gw’ensimbi oguva mu bipangisibwa; ka tuguyite R
Omutendera II: Toolako ebitundu okutuuka ku bitundu 50 ku buli 100 okuva ku muwendo ogwo nga zino zibalibwa nga ensimbi ezisaasaanyiziddwa okulabirira ekipangisibwa
Weetegereze: Ensaasaanya eyo ekkirizibwa oluvannyuma lw’okulaga obukakafu eri ekitongole kya URA nga kino kikolebwa okuyita mu biwandiiko
Omutendera III: Balirira omusolo ku bitundu 30 ku buli 100
Ekyokulabirako ku Kkampuni
Singa kkampuni eyingiza ensimbi 30,000,000 nga ku nsimbi ezo, 15,000,000 zaava mu bupangisa. Ensaasaanya: Abalongoosa (3,000,000), Obukuumi (4,000,000) okuddaabiriza (4,000,000) Omusolo oguva ku nsimbi z’obupangisa gubalibwa guti:
Omutendera I: Funa omuwendo gw’ensimbi ogwava mu bipangisibwa= 15,000,000
Omutendera II: Toolako ebitundu 50 ku buli 100 okuva ku nsimbi eziyingiziddwa mu mwaka
Ensaasaanya = 3,000,000+4,000,000+4,000,000
= 11,000,000
Naye jjukirwa ensimbi ezikkirizibwa okutoolwako ziri ebitundu 50 ku 100
Kwe kugamba nti 50%X15,000,000 = 7,500,000
Omutendera III: Balirira omusolo ku bitundu 30 ku buli 100 (30%)
= 30/100 x 7,500,000
Omusolo oguva mu bupangisa guli 2,250,000
Omuwi w’omusolo yenna alina ebbeetu okuba ng’abanja URA omusolo ogusasulwa ng’omwaka gw’ebyenfuna tegunnaggwaako
Okulabula:
Obubaka buno bugendereddwamu kulambika bawi ba musolo na kubamanyisa buvunaanyizibwa bwabwe kyokka. N’olwekyo, tebulina kukozesebwa mu kifo kya tteeka lyonna; era busobola okukyusibwa singa wabaawo enkukakyuka yonna mu tteeka erirambika ensasula y’omusolo