Buuza Kamisona 23

Lwaki kizibu nnyo URA okukomyaawo ssente zetubeera tugisasulidde munsobi nga tusasula emisolo gyaayo? Nnina lwe nagisasula ssente ezisuka ku ze yali emmanja ,kyokka buli lwenzibasaba beekwaasa nti bazisindika mu ggwanika lw’eggwanga nga balinga abagamba nti eyo tezisobola kugyibwaawo ne bazikomyaawo ku akawunti yange. Nze Joshua.

Mukulu Joshua, okuddizibwa ensimbi z’oba osasudde mu bungi obusukkiridde ku musolo ddembe lyo ey’obwebange ng’omuwi w’omusolo. Kisoomooza nti wassaamu okusaba okuddizibwa ensimbi ezo nekitwala obudde obusukkiriddeko. Bw’oba okyalina okusoomoozebwa okwo, nkusaba otuukirire woofiisi ekuli okumpi, yaakukuyamba okussaamu okusaba era ojja kuddizibwa ensimbi zo. Kyokka nga tetunnakuddiza nsimbi ezo, twekenneenya ebitabo byo okumanya ensibuko yaazo. Bwe tuzuula nga tewali muziziko gwonna, oddizibwa ensimbi zo.

Lwaki URA olumu etusoloozaako omusolo ogusinga n’ebbeeyi y’ekintu kye tubeera tugguze ebweru w’eggwanga. Ekyookulabiko gwe musolo ogugyibwa ku mmotoka ezimu ogusinga n’ebbeeyi yaagwo.

Bw’oba olina ekirowoozo ky’okuyingiza emmotoka oba ekintu kyonna okuva emitala w’amayanja nga kw’otadde n’emmotoka, osabibwa okukyalira woofiisi ya URA oba ku mutimbagano kw’osobola okufuna engeri ez’enjawulo gye tuwoozaamu omusolo ku bintu ebiva ebweru w’eggwanga. Jjukira nti engeri omusolo gye gubalibwa erambikibwa mu tteeka lya Kasitomu (East African Community Cusoms Management Act – EACCMA), ng’era lino ligobererwa amawanga g’omukago amalala. N’olwekyo, bw’osalawo okuleeta emmotoka esukka emyaka 8 naye nga tesukka mayaka 15 okuva lwe yakolebwa, oggyibwako omusolo gwa Environmantal Levy, ogusobola okwongeza ku muwendo gw’omusolo gw’osasula. Kyokka bw’osalawo okuyingiza eri wansi w’emyaka 8, tosasula musolo guno, ekiyinza okuguviirako okukendeeramu.

Nnina “TIN number” gye nakozesa ng’ansasula omusol gw’emmotoka yange,kyokka okuva olwo bazze bansindikira obubaka nti bagibanjaako omusolo ogukunukiriza mu bukadde 300. Kino kigya kitya ng’ate sirina bizinensi ndala yonna gye ngikolerako okugyako lwe nagisasulirako omusolo gw’emmotoka ng’agigye mu bondi yaabwe?

Weebale kwewandiisa ku musolo n’oweebwa TIN. Nkujjukiza nti mu kwewandiisa ku musolo, oteekeddwa okuba ng’olina ennyingiza. Buli bw’ofuna TIN, osuubirwa okussaamu litaani ku nnyingiza yo nga kino bw’otakikola, system eteebereza omusolo gw’oba olina okusasula n’ekujjukiza mu kimanyiddwa nga default assessment. Nkusaba okyalire woofiisi yaffe ekuli okumpi onnyonnyolwe ensimbi zino bwe zajja.

Njagala kumamya lwaki URA temutuwa mpeereza eyenkanankana n’omusolo gwe mutusoloozaamu mu ggwanga lyaffe. Kino mulowooza kyabwenkannya eri Bannayuganda?

Ekitongole ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority (URA) kivunaanyizibwa ku kukungaanya musolo, ne guweerezebwa mu ggwanika ly’eggwanga, okukusomesa obuvunaanyizibwa bwo ku musolo, n’okuwabula gavumenti ku mateeka g’okugukungaanya. Obuvunaanyizibwa bw’okuzitemaatema buli mu minisitule y’ebyensimbi n’olukiiko lw’eggwanga olukulu, nga ziweebwa ebitongole bya gavumenti eby’enjawulo n’ekigendererwa ky’okutuusa obuweereza ku bantu mu bitundu mwe basangibwa.

Nawulirako nti Mugenda kuggyawo TIN mugisikize NIN Number. Kino kituufu?

Yee. Mu nnongoosereza mu mateeka g’omusolo ez’omwaka 2025/26, gavumenti yalangirira nti ennamba y’omusolo (TIN) yaakuggyibwawo esikizibwe ennamba y’endagamuntu emanyiddwa nga NIN, nga kino kya kukola ku bantu ssekinnoomu. Ku luuyi lwa bizinesi, ennamba eziweebwa ekitongole ekiziwandiisa (Uganda Registration Services Bureau – URSB), y’eyookuddira TIN mu bigere. Enteekateeka zigenda mu maaso okussa kino mu nkola. Eggwanga lya kutegeezebwa ng’ensonga eno eggyiddwako engalo.

Lwaki abantu abasinga okugondera URA munsonga z’okuwa omusolo, ate be musinga okunnyigiriza?

Mu nkola ya URA, mulimu obwenkanya eri omuwi w’omusolo. Kikakata ku buli mukozi wa URA okukwata obulungi omuntu yenna omujjumbize ku nsonga z’omusolo. Nkubiriza abajjumbize mu kusasula omusolo okutuyambako kw’abo be balowooza nti baatuuka dda okusasula, nga kino kya kuyamba okugaziya olukalala lw’ababasasula omusolo. Mu mbeera eno, buli omu bw’asasulayo akatonotono, tekijja kutwetaagisa kunyigiriza muntu yenna.

Abakozi omusolo gwa Pay As You Earn balina kugusasula ku tin number ya bakama babwe oba yabwe yennyini?

Omukozesa ateekeddwa okuggya omusolo kw’oyo gw’akozesa n’aguwaayo eri URA buli mwezi. Mu kukola kino, omukozi alina okuwa amukozesa ennamba ye ey’omusolo (TIN), ng’eno y’ekozesebwa okusasula omusolo okuyita mu litaani. N’olwekyo, ennamba y’omukozi y’ekozesebwa okusasula omusolo so si ya mukozesa we.

Ssente ezikka wansi wa kakadde nazo muziggyako withholding tax mu ggwanga?

Bw’oba ng’otuuusizza obuweereza oba ebyamaguzi eri omuntu omulala omulundi gumu mu mwaka nga tebiweza kakadde, tateekeddwa kukuggyako musolo gwa Withholding tax. Kyokka mu mwaka bw’otuusa obuweereza oba ebyamaguzi emirundi egiwera, oggyibwako omusolo gwa Withholding tax.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content