Buuza Kamisona 56

Bantemako ssente za local service tax buli mwaka, naye zinnyamba ki nga nze gwe bazitemako?

Omusolo gwa Local Service Tax guggyibwa ku buli mukozi ne guweerezebwa gy’azaalwa n’ekigendererwa ky’okutuusa obuweereza mu kitundu ekyo. N’olwekyo, ensimbi ezo zikola emirimu egy’enjawulo okusinziira ku bwetaavu bw’ekitundu gye ziba zisindikiddwa okuli okulima enguudo, okutumbula obuyonjo n’emirimu emirala egigasiza awamu abantu.

Gavumenti awamu ne URA basinziira kuki okuleeta omusolo omupya?

URA ng’ekitongole tekireeta musolo mupya, wabula kissisa mu nkola ogwo oguba guleeteddwa n’okuwabula gavumenti ku nnongoosereza ez’enjawulo ku musolo ezireetebwa buli mwaka. Ezimu ku nsonga eziviirako okuleeta omusolo omupya ze zino wammanga:

  • Obwetaavu bw’okwongera ensimbi mu kittavvu ky’eggwanga. Olw’okuba nga gavumenti yeetaaga ensimbi okutuusa obuweereza ku bantu, waliwo omusolo oguleetebwa okwongera ku nsimbi ezikungaanyizibwa okutambuza emirimu.
  • Okuziyiza n’okutaasa abantu ku bintu eby’obulabe ku bulamu bwabwe okugeza omwenge, segereeti n’ebirala. Omusolo omupya guleetebwa okukendeeza ku bakozesa ebintu ebyo.
  • Okutumbuka mu mirimu egikolebwa. Gavumenti bw’ezuula nga waliwo okutumbuka mu byenfuna okuva mu mirimu egy’enjawulo, omusolo guleetebwa ku beenyigira mu mirimu egyo, olwo nabo ne babaako ettafaali lye bassa ku ggwanga lyabwe.
  • Okutaasa amakolero ga wano. Gavumenti essaawo emisolo emipya naddala ku byamaguzi ebiyingizibwa mu Uganda n’ekigendererwa ky’okutaasa amakolero ga wano agakola ebintu bye bimu n’ebyo ebiyingizibwa eggwanga.

Kituufu bwe ng’enda okwewola ssente ba money lendera okusigaza national ID yange ate nga waliwo embeera endala wenetaagisiza okugikozesa?

Okusinziira ku kiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga, teri muntu yenna akkirizibwa kusigaza ndagamuntu ya muntu yenna ng’omusongo oluvannyuma lw’okumuwola ensimbi.

Nina emmotoka ekika kya Starlet UAB muzeeyi wange gye yaleka nga tanafa. Nabadde njagala kugikozesa, kyokka ne bagaana okumpa Third party mbu emmotoka yayitako. Bannange nyambiddwa ntya?

Weetaaga okuwaayo ebiwandiiko ebikwata ku mmotoka eyo ng’oyita ku kibanja kya URA www.ura.go.ug , oluvannyuma emmotoka eyo ejja kwekebejjebwa aba minisitule y’ebyentambula abasangibwa ku kitebe kya URA ekikulu e Nakawa. Emmotoka eyo bw’eneekebejjebwa n’ezuulibwa ng’ebigikwatako bikwatagana n’ebiri mu system, yaakuweebwa kkaadi enjeru mu mannya g’omugenzi oluvannyuma ogikyuse edde mu mannya go, olwo eweebwe yinsuwa ya Third Party.

Bwe mba njagala okukola business nsooka kugiwandiisa, oba erina kusooka kukola ne ndyoka nkola ku by’okugiwandiisa?

Bw’oba oyagala kukola bizinesi, oteekeddwa kusooka kugiwandiisa mu mateeka n’ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau (URSB) n’eweebwa erinnya, n’ozzaako okugiwandiisa ku musolo n’eweebwa TIN oluvannyuma n’ogifunira Trading License okuva ku town Council, Disitulikiti, munisipaali oba ekibuga mw’esangibwa. N’olwekyo, sooka owandiise bizinesi yo oluvannyuma okole emirimu.

Kituufu nti waliwo omusolo ogusobola okuwoozebwa ku ttaka eritaliiko kikolebwako mu Uganda?

Nedda. Newankubadde waliwo abantu ab’enjawulo abaaleeta ekirowoozo ky’okuggya omusolo ku bibangirizi by’ettaka eritakozesebwa, ne gyebuli eno, teri musolo gavumenti gw’eggya ku bantu balina ttaka litakolerwako mirimu.

Lwaki aba URA mutukwata ne mubalirira omusolo mulala, kyokka ate bwe baddamu ne bakukwata era ne mutubala mulala. Lwaki temulina nkola efaanagana.

Okugereka omusolo ku bintu naddala ebiva mu mawanga amalala, tulina enkola za mirundi etaano ezikozesebwa. Enkola ez’enjawulo bwe ziba zikozeseddwa, kye kiyinza okuba nga kiviirako enkyukakyuka mu musolo ogubaliddwa. Mu mbeera endala, waliwo bannaffe abakozesa obukujjukujju okukendeeza ebyamaguzi bye batwanjulira nti bye bayingiza eggwanga, era bwe tufuna amawulire gaffe ag’ekikessi nti kiri bwe kityo, tuddamu ne tubalirira ebyamaguzi ebyo, olwo omusolo ogutasasuddwa ne gugerekebwa.

Singa omuntu awangula ssente okuva mu nsi y’ebweru, abeera alina okuzisasulira omusolo?

Ensimbi omuntu z’awangula okuva ebweru w’eggwanga zibalibwa nga ennyingiza endala yonna eyandivudde mu bizinesi. N’olwekyo, ziggyibwako omusolo, okuggyako ezo eziwangulwa oyo akiikiridde eggwanga mu byemizannyo.

 

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content