
Ensako z’abakulembeze ba Gavumenti z’ebitundu lwaki muziggyako omusolo ng’omusaala gw’ababaka ba Palamenti abafuna ennyingi temubaggyako?
Omuntu yenna abeera n’ennyingiza etaaweebwa buweerero bwa musolo, ennyingiza eyo eggyibwako omusolo, muno nga mw’otwalidde n’abakulembeze b’ebitundu. Jjukira nti omusaala gw’ababaka ba Palamenti nagwo guggyibwako omusolo. N’olwekyo, etteeka kye lirambika kye kissibwa mu nkola, okuggyako nga waliwo enkyukakyuka ekoleddwa.
Nga URA ekyokugoba abatundira ku nguudo, tekibakosa ku nnyingiza y’ekitongole kuba container nnyingi ezaagobeddwa zibadde zisasula omusolo
Nga URA tukubiriza nnyo buli muntu atandika bizinesi okugiwandiisa mu mateeka oluvannyuma ewandiisibwe ku musolo eweebwe TIN. Enteekateeka ya Trade Order egendererwamu okulambika abantu bakolere mu bifo ebikkirizibwa mu mateeka. Okuyita mu nkola eno, abasuubuzi abo ba kwewandiisa ku musolo ekintu ekisuubirwa okwongera ku musolo ogukungaanyizibwa mu ggwanga.
Mu kiseera kino ng’amafuta galinnye ebbeeyi nga URA mulowooza nga kikyetaagisa okwongerako omusolo gwe mwateeka mu budget obutandika mu July w’omwaka guno?
URA essisa mu nkola amateeka g’omusolo agaba gayisiddwa mu lukiilo lw’eggwanga olukulu. N’olwekyo, bwe kinaaba kiteereddwa mu nnongoosereza ezikoleddwa ku mateeka g’omusolo mu mwaka omuggya, kya kussibwa mu nkola.
Singa nkizuula nga bakama bange bantemako ssente za NSSF buli mwezi kyokka nga tebaziweereza, muyinza kunyamba mutya okutuuka?
Kya tteeka buli mukozi asasulwa omusaala (okuggyako abakozi ba gavumenti), okutoolebwako ebitundu 5 ku 100 (5%) olwo omukozesa n’ayongerako ebitundu 10 ku 100 (10%). Atatuukirizza kino avunaanibwa. Nga URA, obuvunaanyizibwa bwaffe bwa kukungaanya musolo. Kyokka bw’oba n’okwenmulugunya okufaanana bwe kuti, nkusaba weekubire enduulu mu kirongole kya NSSF ku nnamba 0800286773, ojja kuyambibwa.
Lwaki Gavmenti bweba ereeta emisolo emipya tetwebuzaako nga ffe abawi b’omusolo kuba olubeerera tuwulira bamaze kugireeta?
Gavumenti etera okukola enteekateeka y’okwebuuza ku banna Uganda bwe wabaawo ennongoosereza ku omusolo. Nkusaba ojjumbirenga enteekateeka zino buli kirango bwe kiyisibwa.
Ekitongole kya URA kyatandika ddi era kirina buvunanyizibwa bwa ki obulala ng’oggyeko okukung’anya emisolo?
Ekitongole kya URA kyatandika nga 5 September 1991 okuyita mu tteek aeryayisibwa mu Palamenti. Obuvunaanyizibwa bw’ekitongole kino kwekugereka, kukungaanya n’okukola embalirirakw’ogwo oguba gukungaanyiziddwa. Ng’oggyeeko obuvunaanyizibwa obwo, ekitongole kiwabula ne minisitule y’ebyensimbi ku nsonga z’omusolo ez’enjawulo, okusomesa banna Uganda ku buli kikwatagana ku musolo, n’okuyambako zi ssettendekero okukungaanya ebisale by’essomero.
Ng’oggyeko abasirikale ba UPDF ne Poliisi, waliwo ekika ky’abantu abalala abatakatibwako kusasula musolo gwa nnyingiza owa Income tax?
Yee. Waliwo abantu abalala abataggyibwako musolo ku musaala ogubasulwa, nga be bano wammanga:
- Abakozi abasaulwa omusaala ogutasukka nsimbi 235,000 omwezi.
- Abakozi mu bitongole okuli ekikettera munda n’ebweru w’eggwanga, ab’amakomera, abakola mu woofiisi wa ssaabawaabi wa gavumenti (DPP).
- Omuntu alina bizinesi entonotono nga tesussa ttunzi lya bukadde 10 omwaka.
Kyokka, singa omuntu yenna agwa mu ttuluba eryo waggulu akola bizinesi wabweru w’omulimu gwe, ateekeddwa okussaamu ennyanjula oba litaani y’omwaka, oluvannyuma n’asasula omusolo.
Lubowa Christopher – Njawulo ki eri wakati wa VAT ne EFRIS kuba byonna birabika ng’ebifaanagana.
Mwami Lubowa, VAT musolo oguwoozebwa okuva ku byamaguzi oba obuweereza ebyassibwako omusolo ogwo. Omusolo guno guggyibwa ku buli mutendera omuwendo lwegwongerwa ku kitundibwa. Omuntu yenna awandiisibwa ku musolo gwa VAT bw’aba ng’akola ettunzi erisukka ensimbi obukadde 150 buli mwaka, ng’atunda ebyamaguzi omusolo guno kwe gwassibwa.
Kyokka enkola ya EFRIS mu bujjuvu ye Electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution ng’eno nkola mpya eyitibwamu okugaba lisiiti ne invoice ez’okumutimbagano (e-receipt ne e-invoice). N’olwekyo, VAT musolo oguwoozebwa nga bwe kirambikiddwa waggulu, ate EFRIS nkola erondoola engeri omusolo ogwo gye guwoozebwamu
No Comments yet!