Buuza Kamisona 62

Nze Kasozi e Mukono – Singa nsangibwa nga sikozesezza sitampu za DTS, buzibu ki bwe nnyinza okufuna?

Mwami Kasozi, kikakata ku buli muntu akola oba ayingiza mu ggwanga ebyamaguzi ebyalondobwayo okussibwako sitampu za digito (DTS) okuzissaako nga tannabitwala mu katale. Singa omuntu asangibwa ng’atunda oba ng’alina ebyamaguzi okutali sitampu, aweesebwa engassi ya nsimbi ezenkana omusolo oguli mu bintu ebitasangiddwako sitampu nga gukubisiddwamu emirundi ebiri oba okusasuzibwa ensimbi obukadde bubiri, ekisinga obunene kw’ebyo.

Mr Rujoki, nsaba muteekewo enkola esobozesa abantu abawadde omusolo okumala ebbanga okubakendeerezaako ng’emu ku nkola y’okubasiima.

Ekirowoozo kyo kirungi naye nga URA, obuvunaanyizibwa bwaffe kwe kukunngaanya omusolo nga tuyita mu mateeka agatuweebwa minisitule y’ebyensimbi, oluvannyuma lw’okuyisibwa mu Palamenti. Okukendeeza oba okusonyiwa omusolo ku muntu yenna kuba kusalawo kwa Minisita w’ebyensimbi.

Kigendererwa ki ekyokukyusa NIN okugizza ku TIN nga tusasula omusolo?

Ensonga enkulu eyaleetera gavumenti okukyusa okuva ku TIN okudda ku NIN ku nsonga z’omusolo kwe kuggyawo enkola ya buli ktongole kya gavumenti okuba ne bwe kikuuma abantu be kyawandiisa mu mateeka ag’enjawulo. Obwetaavu bw’okutereeza ebikwata ku bawi b’omusolo okwetooloola ebitongole bya gavumenti byonna kyaviirako gavumenti okukozesa ennamba n’endagamuntu (NIN) nga yokka ekozesebwa eri abawi b’omusolo ssekinnoomu okuggyawo obumulumulu buno.

Ensonga endala ezaaviiriddeko gavumenti okukola kino ze zino wammanga:

  • Empeereza ya kutumbulwa nga waggyibwawo emitendera egy’enjawulo egiyitibwamu okukola ku bawi b’omusolo ekitera okuviirako okulwisibwa kw’abawi b’omusolo.
  • Okunyweza engeri abawi b’omusolo gye batuukirizaamu pbuvunaanyizibwa bwabwe okuyita ku bibakwatako ebitataataaganyiziddwa.
  • Okwongera obwerufu mu miwendo gy’abeewandiisa ku musolo, ekiyambako okubeera ne alijesita y’abawi b’omusolo ennambulukufu.
  • Ebikwata ku muwi w’omusolo si bya kukyusibwakyusibwa, ekitegeeza nti bya kusigala nga bye bimu okumala ekiseera — okugeza amannya, ebifo we basangibwa n’ebirala ebibakwatako bingi. Kino kya kukendeeza ku kutaataaganya ebikwata ku bawi b’omusolo okuli abantu abatera okuba n’amannya agafaanagana, amakampuni ageegatta okukolera awamu oba okukozesa amannya ga bizinesi agafaanagana.
  • Okutumbula empuliziganya wakati wa URA n’abawi b’omusolo okuyita mu mikutu gy’amawulire okuli gi nansangwa nga ladiyo, TV n’ebirala nga kw’ogasse n’emikutu gi mugattabantu nga tukozesa ennamba emu. Kino kya kukendeeza okukuubagana okutera okubaawo.
  • Ennamba emu ng’ekozesebwa mu bitongole bya gavumenti byonna ya kutumbula obuweereza n’empuliziganya ennambulukufu n’abawi b’omusolo.
  • Okunyweza okwewandiisa kw’abantu mu ggwanga ekisobozesa gavumenti okumanya ebyenfuna nga bwe biyimiridde n’okukendeeza ku beenyigira mu kwewala okusasula omusolo.

Singa mbeera njagala okufuuka agent wa Azam Uganda ne tukkaanya ne kampuni awo nsasula musolo ki nga maze okusasula trading license, kubanga fenna tuli mu East African Community?

Bw’oba ajenti wa Kampuni yonna mu Uganda, ovunaanyizibwa okusasula omusolo ng’omuntu omulala yenna akola bizinesi. Muno mulimu:

  • Omusolo ku nnyingiza (Income Tax), nga guno gubalibwa ku ttunzi oba ennyingiza (sales) bwe lyawulwako ensaasaanya (expenses) olwo amagoba ne gaggyibwako omusolo gwa bitundu 30 ku 100 (30%)
  • Omusolo gwa VAT. Ebyamaguzi oba obuweereza ajenti bw’atuusa ku bantu bwe bubaako omusolo gwa VAT nagwo guggyibwako ne gusasulwaeri URA buli mwezi
  • Omusolo gw’omusaala gw’abakozi Pay As You Earn). Ajenti bw’aba alina abakozi mu bizinesi ye, akakatibwako okuggya omusolo ku musaala gwabwe n’agusasula eri URA buli mwezi.

Abdullah Magala e Mbarara; TIN ebadde y’abo abasasula omusolo mu Gavumenti, olwo bwe bagiggyawo ne bagisikiza NIN kiba kitegeeza nti buli Munnayuganda akola oba takola nti waakusasula omusolo?

Nedda. Okukyusa NIN ekole nga TIN tekitegeeza nti buli munna Uganda awatali kwawula oba akola oba takola nti alina okusasula omusolo. Etteeka erirunngamya enkunngaanya y’omusolo ku nnyingiza lirambika nti omuntu takeeteddwa kusasula musolo bw’aba talina nnyingiza.

Kituufu nti waliwo enamba z’emmotoka za Gavumenti emyufu eziwa omusolo? Ate kituufu nti waliwo ‘abantu ba bulijjo abalina enamba emyufu era kijja kitya?

Emmotoka za gavumenti ez’ennamba emmyufu tezisasula musolo nga ziyingizibwa mu ggwanga. Era kituufu waliwo abantu ba bulijja abalina ennamba emmyufu nga tezisasula musolo okugeza abawangaalira mu mawanga amalala bwe basalawo okuddira ddala okwaboobwe, n’abantu abali mu ttuluba gavumenti be yasonyiwa okusasula omusolo ku mmotoka zaabwe okugeza abayingiza emmotoka ezikola nga firiiji okutambuza ebyamaguzi ebyonooneka amangu okugeza amata, ebyennyanja n’’ebira, nga kuno kw’ossa n’ebitongole bi nnakyewa okuli eby’abalema, ebigabiriziby’obuyambi n’ebirala (NGOs).

Nze Francis Ssali nafuna obubaka ku ssimu nga bandagira okusasula URA omusolo gwa sh 1,824,000 nga bwe sizisasula bajja kumpeesa engassi. Njagala kumanya ssente zaaki kuba sirina bizinensi gye nzirukanya.

Mwami Ssali, omuntu yenna okubanjibwa omusolo ateekeddwa okuba ng’alina ennyingiza okuva mu bizinesi, ebipangizibwa, omusaala n’ebirala. Bwe weesanga ng’oweerezeddwa obubaka obukubanja omusolo, kyalira ofiisi ya URA ekuli okumpi, TIN yo yeekebejjebwe okuzuula oba waliwo omusolo gw’okusasula, ensonga zo zitereezebwe.

Ssebulime Dan e Mityana, muntu wa nfuna yenkana ki alina okusasula omusolo gwa income tax?

Mwami Ssebulime, omuntu alina ennyingiza esukka mu nsimbi obukadde 10 mu mwaka omulamba, asasula omusolo ku nsimbi ezisukka mu bukadde e kkumi ku nnyingiza ye.  Ennyingiza bw’eba eva mu bipangibwa ku muntu ssekinnoomu, tutunuulira ensimbi ezisukka mu 2,820,000 omwaka. Eziyitamu kwe tubalira omusolo. Kyokka asasulwa omusaala atandika okusasula omusaala gwe bwe gusukka ensimbi 335,000 buli mwezi.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content