Buuza Kamisona 63

Ekiwandiiko ky’obweyamo bwaffe eri abawi b’omusolo (Client Service Charter) eky’omwaka gw’ebyensimbi kikwata ku ki?

Ekiwandiiko ky’obweyamo bwaffe eri abawi b’omusolo (Client Service Charter) kye kisuubizo URA ky’ewa abawi b’omusolo okubatuusaako obuweereza obw’ekyenkanyi, mu bwerufu, mu budde, obumatiza ate nga bwa kikugu.

Kirambika omutindo gw’empeereza abawi b’omusolo gwe balina okusuubira okuva gye tuli, eddembe n’obuvunaanyizibwa bwabwe nga kuno kw’ossa n’enkola y’okutuddiza obubaka n’okwemulugunya. Ekigendererwa kyakyo kwe kutumbula obumativu bw’abawi b’omusolo, okwekebera mu mpeereza yaffe n’okwanguyiza abawi b’omusolo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Ekiwandiiko ky’obweyamo kino kiyamba kitya URA?

  • Ekiwandiiko ky’obweyamo kino tekiyamba muwi wa musolo yekka, wabula kiyamba ne URA okwekebera mu mpeereza yaayo, okuweereza mu bwerufu, okussaawo omutindo omulungi mu buweereza, n’okuwuliriza n’okugonjoola ensonga z’abawi b’omusolo mu lugendo lw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa gavumenti bwe yawa URA.
  • Ekiwandiiko kino kirambika abakozi ba URA ku mutindo ogugobererwa mu kutuusa obuweereza eri abawi b’omusolo n’abantu abalala.

Buvunaanyizibwa ki eri omuwi w’omusolo?

Abawi b’omusolo okuba n’obuvunaanyizibwa buno wammanga:

  • Okwewandiisa ku musolo kyeyagalire we kiba kyetaagisizza
  • Okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi ebituufu
  • Okussaamu litaani mu budde
  • Okusasula omusoloomutuufu okusinziira mu mateeka
  • Okweawala ebikolwa by’okwebalalama okusasula omusolo n’eby’obufere byonna
  • Okuzza obujja ebibakwatako
  • Okulambika TIN zaabwe we kyetaagisizza
  • Okwanukula ebirango URA by’eba eyisizza
  • N’okukolagana mu ngeri y’okwewa ekitiibwa n’abakozi ba URA.

Ekiwandiiko ky’obweyamo bwaffe eri abawi b’omusolo onuntu asobola kukisanga wa?

Ekiwandiiko ky’obweyamo bwaffe eri URA (Client Service Charter) kisangibwa ku kibanja kya URA, wansi wa About Us oba osobola okukifuna ng’oyita ku link: https://ura.go.ug/en/download/client-service-charter/

Kiki ekibaawo singa omuwi w’omusolo akizuula nti URA ekoze okusalawo okukyamu ku nsonga ze ez’omusolo? Ddembe ki ly’alina mu kiwandiiko ky’obweyamo kino?

  • Omuwi w’omusolo alina eddembe okwemulugunya oba okugaana ekiba kisaliddwawo ku nsonga ze ez’omusolo, ne wekyetaagisizza n’assaamu okujulira okuyita mu mikutu emituufu egyassibwawo.
  • Ekiwandiiko kino kirambika n’okubeerawo kw’enkola y’okuteeseza wabweeru w’embuga z’amateeka g’omusolo emanyiddwa nga Alternative Dispute Resolution (ADR), akakiiko akajulirwamu ku musolo ka Tax Appeals Tribunal (TAT) ne kkooti, okusinziira ku bunene bw’ensonga.

Ddembe ki omuwi w’omusolo ly’alina ng’akolagana ne URA?

Omuwi w’omusolo alina eddembe ery’engeri ez’enjawulo, nga muno mulimu:

  • Eddembe ly’okukiikirirwa ku nsonga z’omusolo, ng’ayitira mu kulonda ajenti w’omusolo gw’aba yeesiimidde (ajenti w’omusolo oguwoozebwa munda mu ggwanga n’owa Kasitomu).
  • Alina eddembe ly’okutegeezebwa ku nsonga ze ez’omusolo
  • Okuyisibwa ekyenkanyi
  • Okwekubira enduulu ku nsonga z’aba tamatidde
  • Okuweebwa ennamba y’omusolo emwawula ku balala.
  • Okuwakanya ekiba kisaliddwawo ku nsonga ze ez’omusolo n’ensonga endala nnyingi.

Singa omanyaako olukwesikwesi lw’okwewala okusasula omusolo oba ebikolwa ebimenya amateeka g’omusolo, osobola otya okuloopa ebikolwa ebyo eri URA, era mitendera ki egiyitibwamu okukola ku nsonga ezo?

URA yassaawo enkola mw’eyitira okukola ku bagitemyako ku nsonga yonna (whistleblowing mechanism) okuyita ku Touchpoint: https://www.touchpoint.ura.go.ug ku nnamba etasasulirwa; 0800257700, ku Email: cim@ura.go.ug ne ku kibanja kya URA: https://ura.go.ug/en/report-non-compliance/

Oyo yenna atutemyako asobola okuweereza obubaka obukwata ku muntu eyeewala okusasula omusolo oba obufere bwonna, n’atuwa ebikwata ku nsonga ezo oluvannyuma n’assa ebiwandiiko ebikakasa nti atutemezzaako ku gumu ku mikutu egyo waggulu. Tikiti ekakasa nti obubaka butuuse emuweerezebwa era gy’akozesa okulondoola ensonga eno. 

Mikutu ki omuwi w’omusolo mw’ayitira okutuusa obubaka bwonna oba okwemulugunya eri URA

Abawi b’omusolo bonna basobola okututuusaako obubaka n’okwemulugunya nga bayita ku mikutu egy’enjawulo okuli ennamba za URA ezitasasulirwa; 0800117000 ne 0800217000, ku email services@ura.go.ug ku nnamba ya WhatsApp 0772 140000, ku Web chat https://www.ura.go.ug ku Touchpoint: https://www. touchpoint.ura.go.ug n’obubaka obubaka obuwandiike okuyita mu ma baluwa eri Assistant Commissioner Public & Corporate Affairs.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content