Buuza Kamisona 60

Nasomye ekirango nga mwogera ku bawi b’omusolo abaayongeddwa ku lukalala lw’abalina okwewandiisa ku nkola ya EFRIS. Kino kyavudde mu tteeka ppya eryayisiddwa mu Palamenti oba kiragiro kya minisita?

Nga 01 July 2020, enkola ya EFRIS yatandika okukozesebwa mu Uganda, nga mu kiseera ekyo, abo bokka abeewandiisa ku musolo gwa VAT be baali bakakatibwako okukozesa enkola eno. Etteeka erirunngamya enkunngaanya y’omusolo (Tax Procedures Code Act) liwa ebbeetu akulira ekitongole kya URA (Commissioner General) okulondobayo ebika bya bizinesi ebirala ebiteekeddwa okukozesa enkola ya EFRIS. Okuva nga 01 July 2025, Commissioner General yayongera ebika bya bizinesi ebipya 12 ku bateekeddwa okwewandiisa n’okukozesa enkola eno (awatali kwawula oba zeewandiisa ku musolo gwa VAT oba nedda).

Obuuma obubala EFRIS butundibwa ssente meka era tuyinza kubuggyawa era tukakasa katya akatuufu?

Obuuma obukozesebwa mu kugaba lisiiti za EFRIS, obumanyiddwa nga Electronic Fiscal Devices (EFDs) butundibwa kkampuni ya Rank Consult esangibwa ku SMS House, Omwaliiro ogwokusatu Suite 315, 7th Street Industrial Area. Buli kuuma kano katundibwa ensimbi 1,100,000. Bw’ogula akuuma kano, kakasa anti oweereddwa e-invoice ng’eno y’enaakakasa ensaasaanya eyo. Jjukira ensimbi zino zikkirizibwa okukendeezebwa ku ttunzi (allowable deduction) mu kubalirira omusolo ogusasulwa ku nnyingiza ya bizinesi. Buli kuuma kuuma akaguliddwa okuva mu Rank Consult katuufu kubanga URA yawa kkampuni eyo olukusa lw’okutunda n’okuddaabiriza obuuma buno.

Omuntu obutasasula musolo mu budde kiriko ekibonerezo ekigenderako era kyenkana ki?

Yee. Omuntu atasasudde musolo mu budde aweesebwa amagoba (interest) ku musolo gw’atasasudde. Amagoba gano genkana n’ebitundu 2 ku 100 (2%) ku musolo gw’aba tasasudde oba ensimbi 200,000 ekisinga obunene ku bibiri, nga bwe kirambikiddwa mu tteeka erirunngamya enkunngaanya y’omusolo (Tax Procedures Code Act)

Abasuubuzi tuleeta emmaali oluusi ne tulema okugisasulira omusolo naye ng’emaze okuyingira eggwanga. Emmaali eyo oluusi etundibwa naye ku ssente ntono. Kisoboka URA bw’etunda ebintu ebyo ku nnyondo okutwawulizaako ku ssente ezivudde ku kutunda naffe ne tuddamu okusuubula?

Omuntu yenna bw’aleeta emmaali mu Uganda n’alemererwa okusasula omusolo mu budde gavumenti n’esalawo okugitunda ku nnyondo, ekigendererwa kiba kya kuggyamu musolo gwandisasuddwa. Singa ensimbi eziggyidwa mu kutunda ku nnyondo zisinga omusolo ogubalirirwamu, ezo ezisusseemu gavumenti eziddiza nannyini w’ebyamaguzi ebyo. Abasuubuzi bakubirizibwa okukozesa omukisa gw’okusasula omusolo ku byamaguzi byabwe mu bitundutundu okwewala okukwatirwa ebyamaguzi byabwe, ekikolebwa okuyita mu kussaamu okusaba eri Kamisona wa Customs, beewale okutunda ebyamaguzi byabwe ku nnyondo.

Please consider this response and share an opportunity with thetraders to know that they have options to use to help them get their goods before the auction process.

Omuntu yenna bw’aleeta emmaali mu Uganda n’alemererwa okusasula omusolo mu budde gavumenti n’esalawo okugitunda ku nnyondo, ekigendererwa kiba kya kuggyamu musolo gwandisasuddwa. Singa ensimbi eziggyidwa mu kutunda ku nnyondo zisinga omusolo ogubalirirwamu, ezo ezisusseemu gavumenti eziddiza nannyini w’ebyamaguzi ebyo.

Ebitongole bya Gavumenti nga National Water ne UDCL ku ssente ze bayingiza muziggyako omusolo?

Yee. Ensimbi ebitongole bya gavumenti okugeza eky’amasannyalaze (Uganda Electricity Distribution Company Limited – UEDCL), eky’amazzi ne kazambi (National Water and Sewerage Corporation – NWSC) n’ebirala ze biyingiza ziggyibwako omusolo ku nnyingiza (income tax). Kyokka era n’ensimbi ezisasulirwa obuweereza obwo, ziriko omusolo gwa VAT era kkampuni zino zikakatibwako okugukunngaanya ne ziguweereza eri URA buli mwezi.

Ssente ze twewola nga loan, lwaki muziteekako omusolo ng’ate omuntu azeewola lwa bwetaavu nga talina? (Fred Katalemwa e Gayaza)

Mwami Katalemwa, ensimbi ezeewolebwa okuva mu bbanka teziggyibwako musolo eri oyo azeewola (okuggyako omusoso oguggyibwa ku bbanka ekuwola ogumanyiddwa nga Stamp Duty). Wabula bbanka buli lw’esasulwa amagoba ku nsimbi ze yawola omuntu, kwe kuggyibwa omusolo.

Omuntu bw’akozesa TIN yange mu lukujjukujju nga talina lukusa Lwange, ne nkitegeera nga URA emanja. Kiki kye Nina okukola, nsobola okumuwawaabira mu mbuga za mateeka?

Ennamba y’omusolo emanyiddwa nga TIN ng’eno ekuwebwa URA eba yiyo bwoya, ekitegeeza nti terina kugabanibwa na muntu yenna. Bw’okizuula nti waliwo abadde akozesa ennamba eyo mu lukujjukujju, tegeeza mangu URA esobole okukola okunoonyereza okumanya abadde agizkozesa mu bumenyi bw’amateeka. Abadde agikozesa bw’azuulibwa, avunaanibwa ne by’abadde akolerako byonna ne biddizibwa ku TIN ye. Abawi b’omusolo bakubirizibwa okuloopa ebikolwa by’ekifere nga bayitira ku nnamba y’essimu; 0800257700 oba okututemyako nga bayitira mu mitendera gino wammanga:

  • Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug
  • Wansi ku mukono ogwa kkono, londako Whistleblow
  • Jjuzaamu ffoomu ekuweereddwa
  • Oluvannyuma nyiga Submit

Nze Kyeyune, Nina emmotoka gye natunda emyaka etaano emabega, kyokka gwe twagiguza yagaana okukyusa amannya okuva mu gaffe.  Mu kiseera kino aba URA batusindikira obubaka ku ssimu obutubanja emisolo. Tuyinza kuyambibwa tutya?

Mwami Kyeyune, URA yakuwa TIN ekiseera ekyo ng’ogula emmotoka. Jjukira nti ng’oweebwa ennamba eno obuuzibwa ennyingiza yo era kwe tusinziira okukugerekera omusolo gw’okusasula buli mwaka. bw’oba ofuna obubaka obukujjukiza okusasula omusolo, kyalira ofiisi ya URA ekuli okumpi, TIN yo yaakukeberwa, nga bwe wanaabaawo ennyingiza eyawandiisibwa mu bukyamu, yaakuggyibwako okuyita mu kimanyiddwa nga Objection. Ku ky’emmotoka etaakyusibwa mannya kuva mu gago kudda mu g’oyo gwe wagiguza, nkusaba okyalire woofiisi ekola ku nsonga z’ebidduka (Ministry of Works) ku kitebe kya URA e Nakawa, obawe kkopi y’endagaano eraga nti watunda, oteekeko ne gwe waguza n’ennamba ye ey’essimu, olwo tumanye alina obwa nnannyini ku mmotoka eyo.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content