Eno ye bizinesi ng’ettunzi lyayo tesukka nsimbi bukadde 150 mu mwaka.
Naye, ku nsonga z’omusolo, URA ebala bizinesi entonotono okuba ng’ekola ettunzi erisukka ensimbi obukadde 10, kyokka nga tesukka nsimbi bukadde 150. Mu bufunze, bizinesi kika kino zisuubirwa okuba nga zikola ettunzi lya nsimbi 34,700 mu lunaku.
URA yaleeta engeri y’okuwoozaamu omusolo ku bizinesi entonotono ng’era gumanyiddwa nga Presumptive tax
Omusolo guno gisasulwa ba nnannyini bizinesi entonotono.
Nedda. Abakugu mu mirimu egy’enjawulo okugeza abasawo b’amannyo, abasawo aba bulijjo ba yinginiya, ababazi b’ebitabo n’abakugu abala bangi tebasasula musolo kika kino.
Emiteeko gy’engeri omusolo ku bizinesi entonotono gye guwoozebwamu giragiddwa wammanga:
ENNYINGIZA MU MWAKA |
OMUSOLO OGULINA OKUSASULWA BULI MWAKA |
|
|
Abakuuma ebiwandiiko |
Abatakuuma biwandiiko |
Ettunzi eritasukka bukadde 10 |
Tasasula |
Tasasula |
Ettunzi erisukka obukadde 10 kyokka nga tesukka bukadde 30 |
Obutundutundu buna ku kikumi (0.4%) obw’ettunzily’omwaka erisukka obukadde 10 |
Ugx 80,000 (Emitwalo munaana) |
Ettunzi erisukka obukadde 30 kyokka nga tesukka bukadde 50 |
Ensimbi 80,000 ogatteko obutundutundu butaano ku kikumi (0.5%) obw’ettunzi erisukka obukadde 30 |
Ugx 200,000 (Emitwalo abiri) |
Ettunzi erisukka obukadde 50 kyokka nga tesukka bukadde 80 |
Ensimbi 180,000 ogatteko obutundutundu mukaaga ku kikumi (0.6%) obw’ettunzi erisukka obukadde 50 |
Ugx 400,000 (Emitwalo ana) |
Ettunzi erisukka obukadde 80 kyokka nga tesukka bukadde 150 |
Ensimbi 360,000 ogatteko obutundutundu musanvu ku kikumi (0.7%) obw’ettunzi erisukka obukadde 80 |
Ugx 900,000 (Emitwalo kyenda) |
Weetegereze
Osobola okusasula omusolo ng’ogoberera emitendera gino wammanga:
Nyiga wano okusasula omusolo gwo
Kakasa nti osasudde omusolo ogukugerekeddwa. Osobola okututuukirira ku woofiisi zaffe okwetooloola eggwanga okufuna okuyambibwa oba tukubire ku ssimu zaffe ezitasasulirwa; 0800117000/0800217000 oba ku WhatsApp: 0772 140000