Buuza Kamisona 4

Paul Mwase, Njagala kumanya bantu ba kika ki mu Uganda atakakatibwako kuwa musolo?

Mwami Mwase, abantu wano wammanga tebakakatibwako kusasula musolo:

  • Omukozi asasulwa omusaala okutasukka 235,000
  • Abakuumaddembe b’ebitongole okuli poliisi, n’eggye ly’eggwanga, Internal Security Organisation (ISO) ne External Security Organisation (ESO).
  • Abakozi b’omuwoofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti (DPP)
  • Omuntu yenna minisita w’ebyensimbi gw’aba awadde ekisonyiwo ku musolo

Ssebo Kamisona Mr. Musinguzi, emmotoka eyingira wano mu ggwanga esasula emisolo emeka? Mpulira nti embalirira y’omwaka guno empya yayongeddeko omusolo omupya ogwa Import Declaration fee! Ekituufu kiri ki?

Emmotoka yonna eba egenda okuyingizibwa mu ggwanga, esasula omusolo gwa Import Duty ku bitundu 25%, ogwa VAT ku bitundu 18%, infrastructure levy ku bitundu 1.5% ne Withholding tax ku 6%. Kyokka emmotoka gy’oba oyingizza bw’eba esukka emyaka 9 okuva ku mwaka mwe yakolerwa, esasuzibwa environmental levy kubitundu 50%, olw’omukka omukyamu gw’efulumya ogwonoona obutonde bw’ensi. Jjukira Uganda yassaawo ekkomo ku myaka emmotoka eyingizibwa eggwanga gy’eba yakolebwamu nga bw’esukka emyaka 15, eba tekyakkirizibwa kuyingizibwa mu ggwanga. Mu nnongoosereza z’omwaka guno, ekitundu 1 ku 100 (100%) kyeyongeddeko ku muwendo gw’emmotoka ogumanyiddwa nga CIF nga kino kikoleddwa okuddukanya ebyobusuubuzi kinnawadda, okutereeza system za Kasitomu ez’enjawulo okuba nga tezitaataaganyizibwa, n’ensonga endala nnyingi.

Lwaki URA teggyawo oba okuyimiriza omusolo ku byuma ebyongera omutindo ku nnyama naddala ebigisala, okugisa n’okuginnyogoza okutusobozesa okukola omulimu gwaffe obulungi n’okuvuganya ne banaffe mu katale akagatta amawanga g’Afirika aka “African Continental Free Trade Area (AfCFTA)” gavumenti keeyagala tutwalemu eby’amagguzi byaffe okuli n’ennyama?

Nkwebaza okuba n’ekirowoozo ky’okwongera omutindo ku nnyama n’ekigendererwa ky’okugitunda mu katale ka Afirika akaawamu. Ennyumba ezikuuma ennyama ng’ekyali nnamu (cold rooms) teziggyibwako musolo nga nga firiiji zaazo ziyingizibwa mu ggwanga. Kyokka ebyuma ebisala n’okusa ennyama biggyibwako omusolo. Nkusaba okozese omukisa gw’ebyo ebyaggyibwako omusolo okusobola okuganyulwa mu mulimu gwo.

Nze Hajji Musa Ssenabulya, ssentebe wa “Kampala Butcher Traders’ Association (KABUTA)” Ndi ssentebe w’akakiiko akagaba emirimu ku disitulikitiki era nsasula omusolo gwa “Pay As You Earn-PAYE” buli mwezi.  Kyokka n’akasiimo aka buli mwaka (gratuity kagibwaako omusolo gwa bitundu 30) ng’ate etteeka ly’akasiimo terikkiriza ssente z’akasiimo okugyibwaako omusolo. Kino kiri mu mateeeka? Era nkoze ntya okuyambibwa kubanga njagala ssente ze batema mu bukyaamu bazinzirize.

Mwami Ssennabulya, etteeka ly’omusolo ku nnyingiza liggya omusolo ku bantu ababa bafunye ennyingiza ey’ekika kyonna bw’eba ng’egwa mu ttuluba ly’eyo eggyibwako omusolo nga n’akasiimo (gratuity) mw’okatwalidde. N’olwekyo, teri musolo guddizibwa muntu yenna aba agusasudde.

Tuwulira nti ebintu by’obulimi tebigyibwaako musolo,kyokka tusasula emisolo egyenjawulo nga tutambuza ebisolo byaffe okuva mu byalo. Kino ddala kya bwenkanya eri mwe abavunaanyibwa ku misolo mu ggwanga? Era lwaki mukyagenda mu maaso n’okusolooza emisolo ku bintu ebirina akakwaate ku bulimi?

URA terina musolo gwonna gw’eggya ku muntu atambuza ebisolo. Kyokka, minisitule y’ebyobulimi obulunzi n’obuvubi erina ensimbi z’eggya ku batambuza ebisolo n’ekigendererwa ky’okubawa layisinsi. Ng’oggyeeko bano, teri mulala yenna akkirizibwa kuggya musolo ku muntu atambuza ebisolo mu ggwanga.

URA eddiza ddi ku Bannansi naddala abasuubuzi abasasula emisolo gyayo egyenjawulo buli mwaka?

Ekitongole kya URA kirina enteekateeka ez’enjawulo mwe kiyitira okusiima abawi b’omusolo ababa batuukirizza obuvunaanyizibwa bwabwe, okuva mu bitundu eby’enjawulo. Buli mwaka, URA esiima abawi b’omusolo ng’eyitira mu nteekateeka okuli okubakyalira ku bizinesi zaabwe n’okubayita okuweebwa ebirabo ku mukolo oguba gutegekeddwa. N’olwekyo, tukubiriza abawi b’omusolo okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe, ng’okuyita mu kino, baakusiimibwa ekitongole ky’omusolo.

URA esobola okututeekerawo amakubo ng’oggyeeko ery’okugenda mu kkooti abasuubuzi ge bayinza okweyambisa okufuna obwenkanya singa abaserikale ba URA babakwaatira emmaali yaabwe nga bagittikulira ku maduuka gabwe? Ekikolwa ky’okuzzaayo emmaali eno ku kitebe kya URA ereetedde abasuubuzi bangi okubbibwa boofiisa ba URA olw’okutya okubamalira obudde okuddamu okugyeetegereza.

Emmaali ekwatibwa URA ng’etikkulwa ku maduuka kitera okuva ku kwekobaana kw’abasuubuzi ne bakendeeza ebyo bye baalisasulidde omusolo, ng’era kino kiva ku mawulire ag’ekikessi ge tuba tufunye ku musuubuzi oba abasuubuzi abo. Ekikolwa ky’okuzza ebyamaguzi ku kitebe kya URA ekikulu kikolebwa lwa kunoonya bwerufu n’obwenkanya mu kusasula omusolo. Teri mukozi wa URA akkirizibwa kunyigiriza musuubuzi mu kukola kino kubanga omusuubuzi ne ajenti we bateekeddwa okubeerawo ng’ebyamaguzi bino biddibwamu okubalibwa. Kyokka bwe wabaawo obutali bumativu, osobola okuwandiikira Assistant Commissioner Enforcement n’onnyonnyola ensonga lwaki ebintu tebyandizziddwa Nakawa, nga wano bisobola okuddamu okubalibwa ku sitoowa yo. Nsaba abasuubuzi bonna okwanjula ebyamaguzi mu kiseera we bayingiriza ebyamaguzi mu ggwanga okwewala okutaataaganyizibwa.

Waliwo ekkubo omusuubuzi mwayinza okuyitira okuddamu okukola ennongosereza mu mateeka g’emisolo agaayisidwa mu bajeti y’omwaka guno naddala agataliimu bw’enkanya? We gabeerawo,nsaba ogatubuulire tukole enoongosereza mu ngassi ya EFRIS gye mwalemeza mu mbalirira y’omwaka guno?

Mu mwaka gw’ebyensimbi, ennongoosereza ezikoleddwa mu mateeka g’omusolo zisobola okwemulugunyizibwako okuyita mu makubo ag’enjawulo, okuli:

  • Okuwandiikira Assistant Commissioner Business Policy mu URA ng’omutegeeza etteeka lye wandyetaaze likusibwe n’ensonga lwaki.
  • Okuyita mu bibiina bya bannakyewa ebikola ku nsonga z’okulungamya bizinesi n’omusolo okugeza CSBAG ne SEATINI.

Oluvannyuma lw’okutuusa okwemulugunya kwo, ensonga ezo zitunulwamu, era nga bajeti y’omwaka oguddako nga tennasomebwa, minisitule y’ebyensimbi eyita olukungaana okwetegereza ensonga ezo, olwo okusalawo ne kukolebwa okusinziira ku buzito bwazo.

Jjukira nti ennongoosereza tesobola kukyusibwamu mu mwaka ogwo oluvannyuma lw’omukulembeze w’eggwanga okugissaamu omukono.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content