
Gerald Kafuluma e Mityana; Eno e Kitongo-Butayunja mu disitulikiti ye Mityana, amasanyalaze gamaze emyezi etaano nga tegaliiko era bizinensi twaziggala. Kati naffe musuubira okutusaba emisolo gyegimu ng’ababadde bakola, kuba ekizibu kya kampuni ya UEDCL eya Gavumenti.
Mwami Kafuluma, tukusaasidde nnyo ku kutaataaganyizibwa kw’oyitamu mu bizinesi yo. Jjukira nti omusolo guggyibwa ku nnyingiza, nga bw’eba etaataaganyiziddwa, teguyinza kuba gwe gumu n’ogwo oguggyibwa mu bitundu awatali kusoomoozebwa. Kyokka okukakasa nti tokoze bulungi mu bizinesi yo, oteekeddwa okuba ng’okuuma ebiwandiiko okunaasinziirwa okumanya omuwendo gw’ensimbi ogukoleddwa.
Nasuubula ebintu bya kompyuta okuva ebweru ne babikwatira ku kisaawe olwokusasula omusolo omutono. Nakkiriza ne nyongerayo ssente ze baali bansabye kyokka era baagaana okubimpa, kati olwo omuntu akole ki?
Bw’oba oyingizza ebyamaguzi mu ggwanga, n’osangibwa ng’omusolo gw’osasudde mutono okusinziira ku by’oyingizza, n’osabibwa okwongerako ensimbi n’ozisasula, teri nsonga yonna lwaki ebyamaguzi byo biba tebikuweebwa. Mu mbeera eno, tuukirira atwala ekisaawe ku lwa URA ku nnamba y’essimu; 0772142581, ojja kuyambibwa.
James Tweheyo e Isingiro; bwemba njagala kugula emmotoka empya okuva e Japan, misolo kika ki gye nina okusasula?
Mwami Tweheyo, bw’oba oyagala okuyiniza emmotoka yonna mu ggwanga, esasula omusolo gwa Import Duty ku bitundu 25%, ogwa VAT ku bitundu 18%, infrastructure levy ku bitundu 1.5% ne Withholding tax ku 6%. Kyokka emmotoka gy’oba oyingizza bw’eba esukka emyaka 8 okuva ku mwaka mwe yakolerwa, esasuzibwa environmental levy kubitundu 35%, olw’omukka omukyamu gw’efulumya. Jjukira Uganda yassaawo ekkomo ku myaka emmotoka eyingizibwa eggwanga gy’eba yakolebwamu nga bw’esukka emyaka 15, eba tekyakkirizibwa kuyingizibwa mu ggwanga.
Okulangira bizinensi ku mikutu gya social media, kituufu mbu nayo mbeera nina okusasula omusolo?
Omuntu yenna akola bizinesi ng’alina ennyingiza, bizinesi bw’etuuka mu ttulunba ly’okusasula omusolo. N’olwekyo, oba olanze ku mukutu gwonna oba tolanze, kasita oba ng’enyyingiza yo egwa mu ttuluba eriggyibwako omusolo, oba oteekeddwa okusasula.
Twagala kutandikawo enkola y’okusondera bannaffe ssente z’okuzimba, kituufu nti ssente ezo tuba tulina okuzisasulira omusolo?
Omusolo gusasulwa ku nnyingiza ya bizinesi oba amagoba agakoleddwa. Bwe wabaawo okusondera omuntu ensimbi okukola ekintu kyonna, teziggyibwako musolo kubanga ziba tezivudde mu kukola mirimu.
Nkola ki gye muyitamu okugereka omusolo gw’edduuka, musinziira ku ki okusalawo ssente ze tulina okusasula?
Bw’otandika bizinesi, weetaaga okwewandiisa ku musolo, oweebwe ennamba emanyiddwa nga TIN, n’okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi, kisobozese okumanya ettunzi lyayo oba amagoba agakoleddwa. Edduuka lyo bwe liba likola ettunzi erisukka obukadde kkumi kyokka nga terisukka bukadde 150, ligwa mu ttuluba lya bizinesi entonotono, ng’era lisasula omusolo okusinziira ku miteeko gino wammanga:
|
ENNYINGIZA MU MWAKA |
OMUSOLO OGULINA OKUSASULWA BULI MWAKA |
|
|
|
Abakuuma ebiwandiiko |
Abatakuuma biwandiiko |
|
Ettunzi eritasukka bukadde 10 |
Tasasula |
Tasasula |
|
Ettunzi erisukka obukadde 10 kyokka nga tesukka bukadde 30 |
Obutundutundu buna ku kikumi (0.4%) obw’ettunzily’omwaka erisukka obukadde 10 |
Ugx 80,000 (Emitwalo munaana) |
|
Ettunzi erisukka obukadde 30 kyokka nga tesukka bukadde 50 |
Ensimbi 80,000 ogatteko obutundutundu butaano ku kikumi (0.5%) obw’ettunzi erisukka obukadde 30 |
Ugx 200,000 (Emitwalo abiri) |
|
Ettunzi erisukka obukadde 50 kyokka nga tesukka bukadde 80 |
Ensimbi 180,000 ogatteko obutundutundu mukaaga ku kikumi (0.6%) obw’ettunzi erisukka obukadde 50 |
Ugx 400,000 (Emitwalo ana) |
|
Ettunzi erisukka obukadde 80 kyokka nga tesukka bukadde 150 |
Ensimbi 360,000 ogatteko obutundutundu musanvu ku kikumi (0.7%) obw’ettunzi erisukka obukadde 80 |
Ugx 900,000 (Emitwalo kyenda) |
Mu mbeera endala, osobola okusasula omusolo okusinziira ku magoba agakoleddwa, nga wano tufuna ennyingiza ne twawulako ensaasaanya, olwo amagoba ne gaggyibwako omusolo ku bitundu 30 ku 100 (30%).
Neesimbyewo ku kifo ekimu, naye waliwo abatugamba mbu nga tetunatimba bipande tulina kusooka kusasula musolo, ekyo kituufu?
Okutimba ebipande mu kibuga kyonna, oteekeddwa okufuna olukusa okuva mu batwala ekibuga ekyo. Omusolo guwoozeba okuva ku nnyingiza y’omuntu. Mu mbeera yonna, bw’oba weesimbyewo ku kifo kyonna oba nga teweesimbyewo kyokka ng’olina ennyingiza oteekeddwa okugusasula.
Pastor Robert Kayanja twawulidde yakung’anyizza ssente eziri mu buwumbi mu lukung’ana lwa Ben Hinn, abeera talina kubawa musolo ate nga yayingizza?
Ekkanisa n’amasinzizo gonna, ekiweebwayo, tekuggyibwa musolo. Kino kiri bwe kityo kubanga ennyingiza eno eba tevudde mu kukola bizinesi za kufuna magoba, ng’eno ye nsonga lwaki ensimbi ezo gavumenti yaziwa obuweerero. Kyokka amasinzizo bwe gafuna ennyingiza okuva mubintu ng’amasomero, leediyo, TV ebifo ebipangisibwa n’endala, ennyingiza eyo teyaweebwa buweerero, n’olwekyo, eggyibwako omusolo.
Emikutu gyammwe lwaki girwawo okutuddamu ffe abaweereza obubaka mu Luganda naddala ku Twitter?
URA eyogerezeganya n’abawi b’omusolo ng’eyita ku mikutu egyenjawulo, okuli ne gi mugattabantu. Muno mulimu facebook, X, WhatsApp, Tik Tok ne Linkedin. Tukola kaweefube okulaba ng’abayitira ku mikutu egyo baddibwamu bunnambiro, mu nnimi ennansi ez’enjawulo, olwa ttiimu ezassibwawo okukola ku nsonga ezo.
Omuntu bwaba ayagala okwegatta ku URA ng’omukozi alina kuyita mu mitendera ki?
Emirimu girangibwa okuyita mu mpapula z’amawulire, ku kibanja kya URA (www.ura.go.ug), n’emikutu gi mugattabantu. Abantu abalina ebisaanyizo basabibwa okussaamu okusaba, olwo ne bagezesebwa mu mitendera egy’enjawulo. Abakira ku bannaabwe ku bisaanyizo baweebwa emirimu okusobola okuweereza mu kitongole.
No Comments yet!