
Njagala kukola pharmacy, misolo ki gye nina okusasula?
Omuntu yenna atandise pharmacy, ateekwa okwewandiisa n’ebitongole ebikwatibwako okuli ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB), ebitongole by’ebyobulamu nga National Drug Authority (NDA), nga wano, oweebwa layisinsi ekukkiriza okuddukanya pharmacy oluvannyuma ne yeewandiisa ku musolo, n’aweebwa ennamba y’omusolo, emanyiddwa nga TIN. Ebika by’omusolo ebisasulwa oyo alina pharmacy bye bino wammanga:
– Omusolo ku nnyingiza (Income tax) nga guno gutuukibwako oluvannyuma lw’okufuna ennyingiza ya pharmacy, n’oyawulako ensaasaanya yaayo, amagoba ne gaggyibwako ebitundu 30 ku 100 (30%)
– Omusolo ku nnyingiza y’abakozi ogumanyiddwanga Pay As You Earn (PAYE) nga guno guggyibwa ku bakozi ba pharmacy abasasulwa omusaala ogusukka 235,000 ne guweebwayo buli luvannyuma lwa mwezi.
– Omusolo gwa Withholding Tax. Guno guggyibwa kw’abo bonna abaguza pharmacy ebyamaguzi oba obuweereza obusukka ensimbi akakadde kamu, ku bitundu 6 ku 100 (6%) nga gusasulibwa buli mwezi. Kyokka guno okuguwooza, eddwaliro liteekeddwa okuba nga lyaweebwa olukusa okugukuŋŋaanya.
Essomero lyobwanannyini lisasula emisolo emeka awamu era gye giriwa?
Bw’oba otandise essomero ly’obwannannyini, ekisooka nkusaba oliwandiise mu mateeka ng’otandika n’ekitongole ekiwandiisa amakampuni ne bizinesi ekimanyiddwa nga Uganda Registration services Bureau (URSB) oluvannyuma oliwandiise ku musolo n’ekitongole kya Uganda Revenue Authority (URA) oweebwe ennamba y’omusolo emanyiddwa nga TIN. Jjukira nti weetaaga okuba ng’olina layisinsi okuva mu minisitule y’ebyanjigiriza. Emisolo gy’osuubira okusasula ng’olina essomero mulimu gino wammanga:
– Omusolo ku nnyingiza (Income tax). Wano, ofuna ensimbi zonna essomero lye ziyingizza, n’otoolako ensaasaanya. Amagoba agasigaddewo kwe kuggyiba ebitundu 30 ku 100
– Omusolo ku musaala gw’abakozi (Pay As You Earn). Ng’essomero, osuubirwa okubeera n’abakozi abali mu biti bibiri, nga kuno kuliko abasomesa n’abakola emirimu emirala egy’enjawulo ku ssomero. Buli mukozi asussa omusaala ogw’ensimbi 235,000 buli mwezi ateekeddwa okuggyibwako omusolo okusinziira ku bungi bw’ensimbi z’afuna.
– Omusolo gwa Withholdinga tax. Essomero lyo ery’obwannannyini bwe liba ligula ebyamaguzi oba obuweereza obusukka akakadde kamu okuva ku muntu yenna, liteekeddwa okuggyako ebitundu 6 ku 100, olwo ne liweereza ensimbi zino eri URA buli luvannyuma lw’omwezi.
Brian Muhumuza e Mbarara, UNEB esasuza abeesimbyewo emitwalo 60 okukakasa empapula za S.4 ne S.6, ssente zino mulinako oba zaabwe zonna?
Mwami Muhumuza, URA eggya omusolo ku bantu oba kkampuni ezirina ennyingiza ez’enjawulo. Ebitongole eby’enjawulo biggya ensimbi ku bantu n’ekigendererwa ky’okubaako obuweereza obw’enjawulo bwe bibatuusaako.
Ensimbi ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB ze kiggya ku bantu okukakasa empapula zaabwe tekuggyibwa musolo, wabula zino zikozesebwa mu kutambuza emirimu ku kitongole ekyo.
Mukoze mutya okuyamba ffe abalina bu bizinensi obutono, kuba bwe tusasula emisolo gyonna nga bwe mugisaba tubeera tulina kuggalawo.
Omusolo guggyibwa ku nnyingiza ya bizinesi nga bwe kirambikiddwa mu tteeka ly’omusolo ku nnyingiza. Jjukira nti bizinesi entonotono y’eyo ekola ettunzi okutuuka ku bukadde 150 mu mwaka.
Ku nsonga z’omusolo, bizinesi entonotono y’eyo ekola ettunzi erisukka obukadde 10 kyokka nga terisukka bukadde 150 mu mwaka. Kino kitegeeza nti bizinesi nga tennaweza ttunzi lya ssalira (threshold), teggyibwako musolo ku nnyingiza.
Okubirizibwa okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo entonotono era osasule omusolo ng’okozesa okulambikibwa kuno wammanga:
|
ENNYINGIZA MU MWAKA |
OMUSOLO OGULINA OKUSASULWA BULI MWAKA |
|
|
|
Abakuuma ebiwandiiko |
Abatakuuma biwandiiko |
|
Ettunzi eritasukka bukadde 10 |
Tasasula |
Tasasula |
|
Ettunzi erisukka obukadde 10 kyokka nga tesukka bukadde 30 |
Obutundutundu buna ku kikumi (0.4%) obw’ettunzily’omwaka erisukka obukadde 10 |
Ugx 80,000 (Emitwalo munaana) |
|
Ettunzi erisukka obukadde 30 kyokka nga tesukka bukadde 50 |
Ensimbi 80,000 ogatteko obutundutundu butaano ku kikumi (0.5%) obw’ettunzi erisukka obukadde 30 |
Ugx 200,000 (Emitwalo abiri) |
|
Ettunzi erisukka obukadde 50 kyokka nga tesukka bukadde 80 |
Ensimbi 180,000 ogatteko obutundutundu mukaaga ku kikumi (0.6%) obw’ettunzi erisukka obukadde 50 |
Ugx 400,000 (Emitwalo ana) |
|
Ettunzi erisukka obukadde 80 kyokka nga tesukka bukadde 150 |
Ensimbi 360,000 ogatteko obutundutundu musanvu ku kikumi (0.7%) obw’ettunzi erisukka obukadde 80 |
Ugx 900,000 (Emitwalo kyenda) |
Mu mbeera endala, osobola okusasula omusolo okusinziira ku magoba agakoleddwa mu bizinesi yo, nga wano ofuna ennyingiza ya bizinesi n’oyawulako ensaasaanya yaayo, olwo amagoba ne gaggyibwako omusolo ku bitundu 30 ku 100 (30%) n’osasula ng’oyita mu kussaamu ennyanjula oba litaani.
N’olwekyo, omusolo tegusobola kukulemesa kukola bizinesi singa okuuma bulungi ebiwandiiko byo n’osasula omusolo nga bwe kirambikiddwa waggulu.
Lwaki URA mwatwala obuvunanyizibwa bwa Gavumenti z’ebitundu obwokukung’anya emisolo okuva ku bizinensi z’oku byalo.
Ng’ekitongole, tetuvunanyizibwa kukungaanya nsimbi kuva mu bizinesi entonotono ku lwa gavumenti z’ebitundu, nga muno mulimu layisinsi, property tax n’ebirala.
Twateekawo system ebitongole ebyo kwe biyitira okufuna ennamba okusasulirwa omusolo (PRN) olwo ensimbi ezo ne zikungaanyizibwa okuyitira ku akawunti za URA mu bbanka ez’enjawulo, oluvannyuma gavumenti n’ezizza ku bitundu okutambuza emirimu.
Kino kyakolebwa okutumbula obwerufu mu nkungaanya y’ensimbi ezo n’okusobozesa okuzirondoola.
Kituufu nti omukulembeze w’eggwanga takakatibwako kuwa musolo ebbanga lyamala nga y’afuga?
Okusinziira ku Ssemateeka w’eggwanga, Ennyingo 106(4) erambika nti omusaala gw’omukulembeze w’eggwanga guggyibwako musolo ogumanyiddwa nga Pay As You Earn (PAYE).
Kituufu nti mu biseera bya kampeyini muliko omusolo gwe musasuza ebipande by’abeesimbyewo era gwammeka?
Mu biseera by’okunoonya obululu, abeesimbyewo bakubisa ebipande ne babitimba mu bifo eby’enjawulo.
Nga URA, tetulina musolo guggyibwa ku bantu abo kyokka ebitundu ebimu naddala mu kibuga Kampala n’ebibuga eby’enjawulo okwetooloola eggwanga, waliwo ensimbi eziggyibwa ku batimba ebipande mu bifo ebyo byokka ebiba byakkirizibwa.
Kyokka, abeesimbyewo bateekeddwa okufuna Tax Clearance Clearance okuva mu URA ng’obukakafu obulaga nti bayimiridde bulungi mu nsonga z’omusolo.
Habiba Nansikombi e Mukono; kituufu nti okufuna letters of administration tuliko omusolo gwe tusasula era gwammeka?
Mukyala Nansikombi, okufuna letters of administration, nga kino kye kiwandiiko ekiwa omuntu olukusa okuddukanya ebyobugagga by’omugenzi wateekeddwa okubaawo omusolo gwa Stamp Duty ogusasulwa eri gavumenti nga gwa nsimbi 15,000.
Amakulu g’omusolo guno kwe kuba nti ekiwandiiko kino kikkirizibwa mu mateeka, nga bwe wabaawo obutakkaanya mu bantu, ekiwandiiko kino kisobola okukkirizibwa mu kkooti.
No Comments yet!