
Muyinza mutya okunyamba okumanya engeri ennyangu ey’okubalamu ebitabo bya business yange kuba bintawaanya?
Obumu ku buvunaanyizibwa bw’ekitongole kya URA kwe kusomesa abawi b’omusolo ku ngeri gye basobola okukuumamu ebiwandiiko bya bizinesi zaabwe. Bw’oba olina obw’etaavu ku kuyigirizibwa engeri y’okukuumamu ebiwandiiko bya bizinesi yo, tuukirira ofiisi yaffe ekuli okumpi oba otukubire ku nnamba zaffe ezitasasulirwa ku 0800117000 oba 0800217000, ojja kuyambibwa.
Nkakatibwako ddi okukozesa sitampu za digito (DTS) era nzigula wa?
Omuntu yenna akola okuyita mu kkolero oba okuyingiza ebyamaguzi bino wammanga okuva ebweru w’eggwanga, akakatibwako okuubissaako sitampu za digito: Amazzi, Soda, Bbiya, Wine, Spirit, Segereeti, Sukaali, Seminti, Butto, Eby’okunywa ebirala ebitamiiza, Ebyokunywa ebirala ebitatamiiza, Ebyokunywa ebikaatuuse, Eby’okunywa ebirala byonna ebisogolebwa mu bibala.
URA erina enkolagana ne kkampuni ya SICPA okufulumya sitampu za digito, era esangibwa Ntinda ku Henley Road.
Neetaaga ki okuwandiisa bizinesi yange ku musolo gwa VAT?
Okuwandiisa bizinesi yo ku musolo gwa VAT, weetaaga okutuukiriza obukwakkulizo buno wammanga:
- Ebyamaguzi oba obuweereza biteekeddwa okuba nga byassibwako omusolo gwa VAT ku bitundu 18% oba 0% (Taxable supplies)
- Okuva nga 01 July 2026, omuntu yenna okwewandiisa ku mu solo gwa VAT, ettunzi lye lirina okuba nga liwera n’okusukka ensimbi obukadde 300 mu mwaka oba obukadde 75 mu myezi esatu egy’omuddirinnganwa.
- Oteekeddwa okuba ng’olina w’okolera bizinesi aw’ekalakkalira
- Olina okuba ng’okuuma ebiwandiiko bya zinesi yo ku nnyingiza n’ensasaanya.
Waliwo n’omuntu w’akkirizibwa okwewandiisa ku musolo gwa VAT kyeyagalire ne bw’aba n’ettunzi mu mwaka oba oluvannyuma lw’emyezi esatu nga liri wansi w’ensimbi eziragiddwa waggulu, ng’ayita mu kussaamu okusaba eri Commissioner General.
Jjukira nti bw’oba weewandiisizza ku musolo guno, okakatibwako okukozesa enkola ya EFRIS era n’okussaamu litaani za buli mwezi.
Singa nsasula omusolo nga sitaddeemu litaani, wabaawo obuzibu bwonna?
Yee. Kubanga ekimu ku bikusuubirwamu mu mateeka g’omusolo kwe kussaamu litaani. Bw’osasula omusolo nga totaddeemu litaani oba totusiigidde kifaananyi ku ngeri bizinesi yo gy’ekola, ate nga wano we wasinziirwa okulaga omusolo gw’olina okusasula. Jjukira, bw’otassaamu litaani, oweesebwa engassi ya nsimbi 200,000 oba ebitundu 2% eby’omusolo gwe wandisasudde, ekisinga obungi ku bibiri. Engassi eno esinziira ku kika ky’omusolo ky’oteeramu litaani okugeza, waliwo eza buli wiiki, omwezi, olvannyuma lw’emyezi esatu emyezi mukaaga nga kw’ossa n’omwaka mulamba.
Nawulirako nti bwe ntandika bizinesi empya nsonyiyibwa omusolo. Bizinesi kika ki era bukwakkulizo ki bwe nnina okutuukiriza?
Okuva nga 01 July 2025, bizinesi ezituukiriza obukwakkulizo buno wammanga, zisonyiyibwa okusasula omusolo ku nnyingiza okumala emyaka esatu:
- Bizinesi eziwandiisiddwa okuva nga 01 July 2025 n’okweyongerayo nga kapito waazo tasukka bukadde 500.
- Nannyini bizinesi alina akuba ng’abalibwa ng’omutuuze w’omukago gwa East Africa mu mateeka ng’era taganyulwanga mu kisonyiwo ku musolo kyonna
- Nannyini bizinesi ateekeddwa okuba ng’asobola okussaamu litaani ezimanyiddwa nga Business Information Returns.
Bwemba ne tax credit ku kika ky’omusolo ekimu, nzikirizibwa okukozesa ssente ezo okusasula ekika ky’omusolo ekirala?
Nedda. Teri tax credit ya kika kya musolo kimu Asobola kukozesebwa mu kukendeeza ebbanja ly’omusolo eddala. Eky’okulabirako, tax credit ey’omusolo gwa Withholding ekozesebwa kukendeeza musolo ku nnyingiza (Income tax) mu litaani ey’enkomeredde (Final income tax return), ate tax credit y’omusolo gwa (VAT Withholding) ekozesebwa okukendeeza ku bbanja lya VAT mu ledger.
Natandika bizinesi yange mu mwaka gwa 2018. Aba URA ne bankyalira mu mwaka gwa 2026 nga gutandika ne bampandiisa ku musolo, ne bammanja okuva bizinesi lwe yatandika. Njagala kumanya oba kino kituufu kubanga nnali sisomesebwanga kumanya kya kukola.
Kino kituufu kubanga bw’oggulawo bizinesi, okakatibwako okugiwandiisa n’okusasula musolo. Nga URA, tulina obuvunaanyizibwa okubanja omusolo okuva bizinesi lwe yaggulibwawo singa kizuulibwa ntui nnyini yo yali tatuukiriza buvunanyizibwa buno.
Omusolo mpulira nga nandyagadde okuguwa, naye nfunirawa ng’ekkubo mwempitira e Nateete nga lijudde ebinnya okumala emyaka?
Omusolo ogukunngaanyizibwa URA guteekebwa mu kittavvu ky’eggwanga (Consolidated Fund), ng’obuvunaanyizibwa bwagwo kwe kuli okuzimba enguudo zi mwasanjala, okuzimba amalwaliro, okuteekamu eddagala n’abasawo, okunyweza eby’okwerinda by’eggwanga, okuzimba amasomero n’okusasula abasomesa n’ensonga endala nnyingi.
No Comments yet!