Buuza Kamisona 33

Munnayuganda ali ku misomo mu America bwafunayo emmotoka ng’ekirabo, bwatuuka okukomawo e Uganda era kimukakatako okugisasulira omusolo?

Omuntu yenna awangaalira mu ggwanga eddala n’abaako emmotoka emuweebwa oba gy’agula n’amala nayo ebbanga eritakka wansi wa mwaka gumu, bw’atuuka okudda mu Uganda, emmotoka eyo tagisasulira musolo, bw’eba ng’ebiwandiiko byonna biri mu mannya ge.

Omuntu okutunda emmwanyi ebweru w’eggwanga alina kubeera na bisaanyizo ki era misolo ki egibeera gimulindiridde?

Omuntu atunda emmwanyi ebweru w’eggwanga, ateekeddwa okuba ng’awandiisizza bizinesi, n’afuna layisinsi emukkiriza okutunda emmwanyi ebweru w’eggwanga (export license) okuva mu Export Promotions Board esasulibwa buli mwaka, okufuna yinsuwa ya ddoola 25,000, okusasula ensimbi mu minisitule y’ebyobulimu n’obulunzi okuweebwa layisinsi ya 1,500,000, nga n’eno ya buli mwaka. Mu kufulumya emmwanyi ebweru w’eggwanga, osasula omusolo gwa bitundu 2 ku 100 (2%) ku muwendo gw’emmwanyi gw’otunze ebweru w’eggwanga.

Mitendera ki gyoyitamu okutandika bizinensi entonotono ey’okukola juice, kuba abaana engeri gye bazzeemu okusoma ejja kufuna kiralu.

Buli lw’oba n’ekirowoozo ky’okutandika bizinesi, oteekeddwa okugifunira erinnya n’olitwala mu kitongole kya Uganda Registration services Bureau (URSB), oluvannyuma n’oweebwa ekiwandiiko ekikakasa nti ogiwandiisizza ekimanyddwa nga Certificate of registration. Oluvannyuma wandiisa bizinesi yo ku musolo ng’okozesa ekiwandiiko ekikuweereddwa, oweebwe TIN yaayo. Olw’okuba nti okola juice, oteekeddwa okukyalira ekitongole ky’omutindo ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) okukakasa nti juice gw’otunda ali ku mutindo ogukkirizibwa.

Bwemba nkozesebwa, nsobola ntya okumanya omusolo gwa PAYE gwe munzigyeko?

Omusolo ku musaala gw’abakozi (PAYE) guggyibwa ku buli mukozi okusinziira ku nnyingiza ye eri abo abasukka 235,000 buli mwezi. Buvunaanyizibwa bwa mukozesa okutoolangako omutemwa gw’omusolo ku musaala gwo buli mwezi n’aguweereza eri URA. Kikakata ku mukozesa okuwa gw’akozesa obukakafu obulaga nti omusolo agusasudde ng’amuwa ekimanyiddwa nga pay slip. Oosobola n’okukyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi n’olagibwa statement y’omusolo gw’osasula buli mwezi.

Nina bizinesi esukka mw’emu. Buli emu nteekeddwa okugifunira TIN?

Bw’otandika bizinesi ey’ekika kyonna, owandiisa erinnya lyayo ne URSB n’oweebwa ekiwandiikko ekimanyiddwa nga Certificate of Registration nga kino kikuyamba okugiwandiisa ku musolo mu URA (n’oweebwa TIN). Bw’oba otandise bizinesi endala, osaanidde ogiwandiise ku TIN eyakuweebwa olubereberye. N’olwekyo, tekikwetaagisa kuggulirawo buli bizinesi TIN yaayo.

Kituufu nti okufuna letters of administration tuliko omusolo gwe tusasula era gwammeka?

Okufuna letters of administration, nga kino kye kiwandiiko ekiwa omuntu olukusa okuddukanya ebyobugagga by’omugenzi wateekeddwa okubaawo omusolo gwa Stamp Duty ogusasulwa eri gavumenti nga gwa nsimbi 15,000. Amakulu g’omusolo guno kwe kuba nti ekiwandiiko kino kikkirizibwa mu mateeka, nga bwe wabaawo obutakkaanya mu bantu, ekiwandiiko kino kisobola okukkirizibwa mu kkooti.

Bwe ntandika bizinesi y’ebyuma bya betting, Nsaba kuntangaaza ku musolo gwe nnina okusasula.

Bw’otandika bizinesi ya zzaala, okakatibwako okusassula emisolo gino wammanga:

  • Omusolo gwa Gaming and pool betting tax. Guno gusasulwa ku bitundu 20 ku 100 (20%) ku nsimbi z’ofissizza ng’amagoba oluvannyuma lw’okusasula abawangudde mw’abo abasibye n’ogusasula eri URA buli wiiki.
  • Omusolo gwa Withholding tax. Abawangudde bonna obatoolako omusolo gwa Withholding tax ku bitundu 15 ku 100 (15%) n’ogusasula eri URA buli wiiki.
  • Omusolo gwa VAT. Guno gusasulwa ku buweereza obuva ebweru w’eggwanga (imported services) okugeza ku software gw’okozesa.

Jjukira nti litaani z’omusolo guno zissibwamu nga buli Lwakusatu lwa wiiki eddako terunnayita.

Era buli luvannyuma lwa mwaka, URA ekusuubira okussaamu litaani y’omusolo ku nnyingiza (Income tax return) mu mbeera eya bulijjo.

Nsaba kuntangaaza ku nkola ya sitampu ze mutugamba okussa ku byamaguzi.

Mu mwaka gwa 2020, ebitongole okuli ekya URA ne UNBS byatandikawo okuteeka sitampu ku byamaguzi bya bika mukaaga okuli amazzi, soda, wines, spirits, beer ne segereeti. Mu 2022, olukalala lwayongerwako ebyamaguzi bya mirundi ebiri okuli sukaali ne seminti.  Mu 2023, olukalala lwayongerwako ebyamaguzi okuli butto, eby’okunywa ebiva mu bibala (fruit and vegetable juice) n’ebinywebwa birala byonna ebitamiiza okuleka obyasooka okuterwa ku lukalala, ebyokunywa byonna ebitatamiiza okuli ne energy drinks.

Buli ayingiza oba okukolera ebyamaguzi ebyogeddwako waggulu mu Uganda, ateekeddwa okubissaako sitampu, nga kino bw’atakikola, aweesebwa engassi ya nsimbi obukadde 50. Jjukira nti ebbeeyi ya sitampu zino eyawukana okusinziira ku ky’oba ogenda okugissaako.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content