Buuza Kamisona 39

Nze Lillian e Kampala. Ndi dayirekita wa Kampuni entonotono atannakola bulungi mu bizinesi. Mbadde sifuna allowance ya Dayirekita, era nfuna musaala gwokka. Mbadde nzisaamu litaani za PAYE w’abakozi ba Kkampuni kyokka nga tennakola magoba. Kinkakatako nange okussaamu litaani yange ng’omuntu newankubadde nga tetunnakola magoba mu bizinesi?

Buvunaanyizibwa bwa buli Dayirekita wa Kampuni oba bizinesi yonna okussaamu litaani ye ng’omu ntu (individual Income tax return) buli mwaka okulaga ennyingiza n’ensaasaanya yo ku nsimbi z’oyingiza ng’omuntu. Mu mbeera eno, olina okussaamu litaani y’omusolo ku nnyingiza nga Dayirekita ng’olaga nti bizinesi ebadde tetambula bulungi mu mwaka, n’olwekyo nga teri nsimbi za kugabana nga magoba (dividends). N’olwekyo, kimanye nti buli bw’obeera n’ennyingiza esukka mw’emu, oteekeddwa okussaamu litaani y’ennyingiza eyo buli mwaka.

Omuntu alina pikipiki asasula musolo kika ki?

Omuntu alina pikipiki ng’ekozesebwa omulimu gw’okusaabaza abantu (Bodaboda), ateekeddwa okusasula omusolo ogumanyiddwa nga Advance Income tax gwa nsimbi 20,000 buli mwaka.

Nsobola ntya okufuna TIN Certificate?

TIN Certificate kye kiwandiiko ekiraga obukakafu nti omuntu oba bizinesi eweereddwa ennamba y’omusolo (TIN). Oluvannyuma lw’okwewandiisa, buli muwi wa musolo aweebwa ekiwandiiko ekyo mbagirawo. Mu ngeri y’emu, ne bw’oba weewandiisa dda ku musolo, osobola okukyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi n’oweebwa TIN Certificate.

Nina bizinesi eyatuukiriza ebisaanyizo by’okwewandiisa. Nzigyibwako omusolo aba kanso ne URA. Eno si double taxation?

Bw’owandiisa bizinesi yo ey’ekika kyonna, oteekeddwa okufuna olukusa lw’okugiddukanya (layisinsi) nga luno lukuweebwa gavumenti y’ekitundu kyo okugeza KCCA bizinesi bw’eba esangibwa Kampala, munisipaali, disitulikiti oba town council nga wano osasulayo ensimbi eza buli mwaka. URA etandika okukuggyako omusolo oluvannyuma lwa bizinesi yo okusobola okukola amagoba oba okufuna ettunzi erikkirizibwa mu mateeka. Ensimbi kinka kino ezikuggyibwako, bw’oba olaga omusolo ogulina okusasulwa, okirizibw aokuziggyako ng’ensaasaanya (allowable deduction). N’olwekyo, wano oba toggyiddwako musolo mirundi gisukka mu gumu.

Nze Emmy, Landiloodi e soroti. Njawulo ki eri wakati wa rental tax ne income tax era kijja kitya okubanga nsasula emisolo gyombi we nkolera?

Mwami Emmy, rental tax gwe musolo ogusasulwa ku nnyingiza y’ebipangisibwa okuli ennyumba, ebizimbe ebikolerwamu emirimu ssaako n’ebibangirizi, ate income tax gwe musolo oguggyibwa ku nnyingiza ya bizinesi yo.

Bw’oba olina ennyingiza ya mirundi ebiri okuli eggyibwa mu bizinesi yo  oteekeddwa okugisasulira omusolo  bw’eba ekola amagoba oba ng’ekola ettunzi erikkirizibwa okuggyibwako omusolo. Mu buwufu bwe bumu, bw’oba nga ye ggwe landiloodi w’ekizimbe, oteekeddwa okusasula omusolo okuva mu nnyingiza y’ekizimbe kyo. Jjukira nti litaani zino zaawukana era buli emu essibwamu ku lwayo.

Ng’aba URA musobola okunnyamba ku mukozesa wange alabika nga tanteerayo nsimbi zange mu NSSF?

Obuvunaanyizibwa b’womukozesa yenna okuteerayo omukozi we ensimbi mu NSSF bulondoolwa ekitongole ky’ekittavvu ekya NSSF. Bw’oba n’okwemulugunya ku mukozesa wo ku kukuteerayo ensimbi zino, nkusaba weekubire enduulu eri ekitongole kya NSSF ku nnamba 0800286773, ojja kuyambibwa.

Nsaba kuntangaaza ku musolo gwa Withholdinga tax.

Omusolo gwa Withholding tax gwegwo oguggyibwa ku muntu oba kampuni esasulwa ensimbi okuva eri omuntu oba kkampuni endala. Omusolo guno guggyibw kw’oyo asasuddwa ensimbi ezisukka okakadde kamu, ng’era gumuggyibwako oyo eyaweebwa olukusa (withholding agent). Oyo yenna aggye omusolo guno ku mulala ateekeddwa okugwanjula eri URA mu mwezi oguddako. Jjukira nti oyo aggyiddwako omusolo guno aweebwa ekiwandiiko ekiraga nti omusolo ng’era akikozesa okukendeeza ku musolo ogumubanjibwa mu kiseera w’ateeramu litaani y’omusolo ku nnyingiza.

Aron Lutabi e Mityana; naye ddala temulaba ng’emisolo gitta bizinensi z’abantu okuzimalawo lwaki temutegeeza Gavumenti n’ekendezaako nga mmwe abasolooza.

Mwami Lutabi, omuntu yenna akola bizinesi asaanidde okukuuma ebitabo bya bizinesi ye, okumanya ennyingiza n’ensaasaanya, kimwanguyize okussaamu ennyanjula buli mwaka. Embala y’omusolo eri nti omusolo guggyibwa ku magoba bwe gabaawo, ekitegeeza nti bwe gatabaawo, teri musolo gusasulwa. N’olwekyo, teri musolo gusasulwa kuva ku kapito wa bizinesi yo, ekitegeeza nti omusolo tegutta bizinesi.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content