
Kituufu nti waliwo omusolo gwe mwateekawo gwe mujja ku ba agent ba mobile money, kuba bwe tuba tusindika ssente kati batuggyako ssente mbu musolo mupya.
Ajenti wa Mobile Money aggyibwako omusolo ku nnyigiza ye (commission) ku bitundu 10 ku 100 (10%) nga zino zimuggyibwako kkampuni y’essimu gy’akolera, olwo kkampuni eyo n’eguweereza eri URA buli mwezi. Ku luuyi olulala, omusolo oguggyibwa ku kuweereza ensimbi okuyita ku mobile money gwa bitundu 15 ku 100 (15%) ku charges ez’okusindika n’okuggyayo ensimbi.
Deo Ssebuliba; Singa neesanga mu mbeera nga nsasula bulungi emisolo naye ne nfunamu obuzibu nga sirina ssente zimazaako omwana wange ku yunivasite, mulina engeri gye muyinza okunyambamu?
Mwami Ssebuliba, nkwebaza okuba n’obuvunaanyizibwa bw’okusasula omusolo mu budde. Tukakasa nti mu bannafe abawi b’omusolo mulimu okusoomoozebwa ku nsonga z’ensimbi ez’enjawulo. Mu mbeera eno osobola okwogerezeganya ne yunivasite ku nsonga z’ebisale olabe oba osobola okuyambibwa n’osasula mu bitundutundu nga n’omwana bwe yeeyongera okusoma.
Lwaki omusolo ku bintu bye tusuubula ebweru w’eggwanga bibalibwa mu ddoola ng’ate ffe tubitunda mu shillings.
Ddoola ekozesebwa amawanga agasinga obungi agakola bizinesi. Y’ensonga lwaki ne Uganda egoberera enkola eyo.
Fred Mayanja e Kijabijo; URA ekkirizibwa okuyimiriza emmotoka ku nguudo okuziggyako omusolo?
Mwami Mayanja, emmotoka naddala enneetissi z’ebyamaguzi ziteekeddwa okusasula omusolo ogumanyiddwa nga Advance Income Tax okusinziira ku buzito bwe zeetikka. Omusolo guno gusasulwa omulundi gumu mu mwaka. Emmotoka bw’eba tesasudde musolo ogwo, ebikwekweto bikolebwa ne gubanjibwa. Mu ngeri endala emmotoka ezisaabaza abantu okugeza takisi, bbaasi n’endala zisasula omusolo guno mu kiseera layisinsi zaazo we ziddizibwa obuggya.
Njagala kumanya lwaki emmaali yange bwe bagikwata ne bagitwala e Nakawa ne bwe nsasula era kitwala ebbanga okugimpa oluusi n’etuuka ng’ebimu byonoonese?
Ensonga ezitwaza emmaali e Nakawa za njawulo okuli okwanjula omuwendo gw’ebyamaguzi omutono okusinziira ku byo, ekiviirako okusasula omusolo omutono. Emmali yo bw’etwalibwa e Nakawa n’omaliriza ensonga z’okusasula omusolo, nkusaba ogigoberere, okusinga ensonga zonna okuzirekera ajenti w’omusolo gwa Kasitomu. Oluvannyuma lw’okusasula omusolo n’okutuukiriza obukwakkulizo obulala bwonna teri nsonga lwaki emmaali yo eba erwisibwa e Nakawa.
Fred Twinamasiko; Ebiseera bino abafere bangi, nyinza ntya okwawula agenti wa URA omutuufu ku mufere.
Mwami Twinamasiko, okwawula ajenti w’omusolo omutuufu ku mufere, goberera emitendera gino wammanga:
- Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug
- Bw’otuuka ku kibanka kyaffe, tunula wansi ojja kulaba awali ekigambo, Choose an Agent ekitegeeza nti Londako ajenti w’omusolo gw’oyagalaa okukolagana naye
- Ojja kulaba awali Licensed Customs Agent, okanyigeko
- Ojja kutwalibwa ku lukalala lwa ba ajenti, olondeko ow’okukolagana naye.
Omuntu yenna eyeeyita ajenti w’omusolo nga tali ku lukalala luno, tokolagana naye okwewala abafere.
Singa ajenti ambalirira omusolo ne ndaba ng’anyigiriza, nyinza kwekubirawa enduulu n’enfuna obuyambi?
Ajenti w’omusolo bw’akulaga omusolo gw’olina okusasula n’otamatira na ngereka yaagwo, osobola okwekulbira enduulu eri Assistant Commissioner avunaanyizibwa ku mbalirira y’ebyamaguzi ebiyingizibwa mu ggwanga (Valuation) ng’ono ye mwami Henry Kwaligonza. Ojja kuyambibwa.
Singa mbeera n’ennyumba ezipangisibwa ekitongole kya gavumenti okugeza poliisi, ne balwawo okunsasula, nkola ntya okwewala okuweesebwa engassi n’amagoba ku kulwawo okusaamu litaani n’okusasula omusolo?
Gavumenti yatunula mu nsonga eyo n’essaawo embeera ey’enjawulo nti ku musolo gwa VAT oguggyibwa ku bizimbe ebikolebwamu bizinesi, nga bwe weesanga ng’ekizimbe kyo kipangisibwa ekitongongole kya gavumenti kyokka ng’oluddewo okusasulwa, ossaamu litaani mu mwezi ogwo n’olaga nti gavumenti tennakusasula nsimbi za bupangisa. Tulinda gavumenti lw’ekusasudde olwo URA n’esuubira okugisasula omusolo, ng’enkola eno emanyiddwa nga Cash Accounting Basis. Ku musolo ku nnyingiza y’ebipangisibwa, kisigala kikukakatako okussaamu litaani ya buli mwezi n’olaga obungi bw’ensimbi z’osuubira okuyingiza na wag ye ziva. Bw’osasula ensimbi ezo, kikukakatako okuggyako omusolo gwa gavumenti n’oguweereza eri URA.
No Comments yet!