
Omukulu Kamisona, nsaba kuntangaaza oba nga ddala enkola ya groupage yawerebwa.
Enkola ya groupage, ng’eno mwe muyitira abasuubuzi abatasobola kujjuza konteyina okwegattira awamu ne batikka konteyina tewerebwanga! Ekyawerebwa y’enkola y’aba container leaders mwe bagatta ebyamaguzi by’abasuubuzi ab’enjawulo nga bwe bituuka e Mombasa oba mu Uganda, ba container leader basaba abasuubuzi ensimbi okubasasulira omusolo. Enkola ekkirizibwa eri nti oyo ayamba abasuubuzi okuyingiza ebyamaguzi bw’abituusa, ateekeddwa okuwa buli nannyini mugugu House Bill ne yeekolera ku nsonga ze ez’omusolo ng’akozesa TIN ye.
Waliwo abakozi ba URA abakola ebikwekweto ne kwata ebintu ne babizza e Nakawa, bwe bagenda okuddamu okubala, kizuulibwa nga tewali busikkamu. Mu mbeera eno URA enoonya embeera yonna weesasuliza abasuubuzi ekitono ennyo akakadde kamu. Lwaki ebikwekweto ebyo bibaawo naddala ku akeedi okutundibwa engoye okuli eya Ham, Nabugabo n’endala.
Okuva enkola y’okubalirira omusolo ku ngoye lwe gwakyusibwa okuva kw’eyo eyaliwo okudda ku kubalirira nga tusinziira mu kkiro, waliwo abasuubuzi abakozesa enkola ey’ekifere ne bagezaako okwebalama okusasula omusolo omutuufu, ng’eno y’ensonga lwaki ebikwekweto eby’enjawulo bikolebwa okumalamu omuze ogwo. Abasuubuzi bakubirizibwa okwewala ebikolwa by’okukendeeza omusolo ogusasulwa, olwo beewale okutaataaganyizibwa mu mirimu gyabwe.
Kabi ki akali mu kugula emmotoka ne sikyusizaawo kaadi yaayo?
Emitawaana gy’obutakyusa kkaadi ya mmotoka oluvannyuma lw’okugigula giwerako era gye gino wammanga:
- Okuvunaana eyagitunda. Bwe wabaawo omusango oguleddwa omuvuzi w’emmotoka omuggya, bwe kizuulibwa nti ekyali mu mannya g’eyagitunda, nannyini mannya ago y’avunaanibwa.
- Emmotoka gy’oguze n’otagikyusa mannya, tosobola kugikozesa nga musingo mu mbeera yonna.
- Bwe weetaaga okusaba nnamba endala eyaayo bw’eba egudde oba akatabo kayo, tosobola kusaba nnamba oba katabo kalala.
N’olwekyo, nkubiriza buli aguze oba okutunda emmotoka okukakasa nti obwannannyini bwayo bukyuka obutasukka nnaku 14
Twawuliddeko nti waliwo omusolo omupya ogwaleeteddwa ku mpale za jean ne T-shirts. Nsaba kuntangaaza ku nsonga eno.
Emisolo gyonna emipya gitandika okukola ng’omwaka gw’ebyensimbi gutandika, so si mumakkati gwagwo. N’olwekyo, nsaba ogumiikirize omwaka gw’ebyensimbi ogujja gutandike.
Kamulegeya e Wandegeya; mwebale aba URA okubeera ekyokulabirako ne muggyawo container gye mwali mwateeka okumpi ne Kikuubo mu Kampala. Mulinawo ekiseera kye muwa bizinensi za Bannayuganda nga tebanasasula musolo nga zaakatandika?
Mwami Kamulegeya, mu nnongoosereza z’omusolo ez’omwaka guno (2025/26), bizinesi yonna etandikibwa munna Uganda okuna nga 01 July 2025 ne kapito atasukka bukadde 500 esonyiyibwa okusasula omusolo ku nnyingiza okumala emyaka esatu, singa eba etuukiriza obuvunaanyizibwa okuli okukuuma ebiwandiiko n’okussaamu litaani mu budde.
Richard Ssemujju e Myanzi-Kassanda – Naakavuga emmotoka emyaka 20 nga buli mwaka nsasula Third party naye sifunanga buzibu buzibu bwonna (accident). Aba yinsuwa balina akasiimo konna ke bayinza okumpa.
Mwami Ssemuju, tukwebaza okujjumbira okusasula Third Party y’emmotoka yo buli mwaka. Ensonga lwaki osasula ensimbi ezo kwe kwetegekera obusandali obuyinza okukugwako ng’ovuga emmotoka yo. Okumanya engeri y’okuliyirirwa, nkusaba otuukirire yinsuwa mw’osasulira Third Party, ojja kuyambibwa.
Sirina bizinensi yonna, kyokka nfuna obubaka ku ssimu okuva mu URA nga bantegeeza bwemanjibwa 5,402,390 ze baagala nsasule obutasukka 30/6/2026 nsobole okufuna ekisonyiwo n’obutasasula ngassi eya 3,978,886.
Omuntu yenna buli bwe yeewandiisa okufuna TIN, ateekeddwa okutubuulira ekika ky’ennyingiza gy’alina. Ebiseera ebisinga omuntu bw’atulaga bizinesi mu kwewandiisa, ateekeddwa okussaamu itaani nga kino bw’atakikola, system yaffe eteebereza omusolo n’emuweereza obubaka obumujjukiza okugusasula. N’olwekyo, kyalira woofiisi yaffe ekuli okumpi weekenneenye bye wawaayo ng’owandiisibwa ku musolo. Bwe kizuulibwa nga kuliko bizinesi kyokka nga togirina, TIN yo yaakukolebwako enkyukakyuka mu kimanyiddwa nga amendment.
Moris Ssekajja – Musolo ki ogwassibwa ku ttaka bwoba olitunda era gwa ssente meka?
Mwami Ssekajja, omuntu yenna bw’aba atunda ettaka ng’ekyobugagga kya bizinesi ye (business asset), taggyibwako musolo gwa Capital gains. Kyokka bw’aba atunda ettaka lye ng’omuntu, asasula omusolo gwa Capital gains, nga n’oyo alimugulako bw’aba yaweebwa olukusa lw’okukunngaanya omusolo gwa Withholdinga tax, bw’aba amusasula amuggyako ebitundu 6 ku 100 (6%). Bw’oba olina bizinesi y’okutunda ettaka, oggyibwako omusolo ku nnyingiza ya bizinesi yo ogumanyiddwa nga Income tax.
No Comments yet!