
Ssengooba e Nansana – Bwemba n’ennyumba zange ez’abapangisa kyokka ne zimala ebbanga nga tezisulwamu, mubalirira mutya omusolo?
Mwami Ssengooba, bwe tuba tubalirira omusolo ku nnyingiza eggyibwa mu bipangisibwa, tukubiriza nnyo landiloodi yeebalirire omusolo ku nnyingiza eno mu bwerufu, oluvannyuma asseemu litaani y’omusolo n’okugusasula. Bwe weesanga nga waliwo emyezi gy’otafuniddeemu bapangisa, tugattire era otwanjulire emyezi egyo gyokka mw’ofunye ennyingiza olwo tubalirire omusolo. Jjukira nti kino olina okukikola mu bwerufu ng’okwataganye ne woofiisi ekutwala ku musolo okwewala okuweesebwa engassi olw’okutuwa amawwulire ku nnyingiza yo amakyamu.
Ffe abatali mu bibuga, wa gye tulina okusasulira omusolo?
Okusasula omusolo buvunaanyizibwa bwa buli muntu alina ennyingiza eggyibwako omusolo awatali kwawula oba asangibwa mu kibuga oba mu kyalo. URA erina woofiisi okwetooloola eggwanga, n’olwekyo, okubirizibwa okukyalira woofiisi ekuliraanye bakuwe akapapaula kw’olina okusasulira omusolo. Jjukira nti bw’oba olina yintaneeti, osobola okwekolera ku nsonga z’okusasula omusolo wonna w’oli, olwo n’ogusasula ng’okozesa enkola ez’enjawulo okuli bbanka, mobile money n’enkola endala nnyingi.
Twagala kuwandiisa kibiina kyaffe eky’obwegassi mwe tuyita okwewola (SACCO) ku musolo. Twetaaga biwandiiko ki okukifunira TIN?
Ekibiina ky’obwegassi omuyitirwa okwewola omusolo (SACCO) yeetaaga ebiwandiiko bino wammanga okwewandiisa ku musolo:
- Certificate of registration ng’ekiwandiiko kino kye kikakasa nti SACCO yawandiisibwa mu mateeka
- Layisinsi okuva mu kitongole ekirungamya emirimu gya SACCO ekimanyiddwa nga Uganda Microfinance Regulatory Authority (UMRA)
- Statement of Particulars, ng’eno eraga abalina obuvunaanyizibwa ku kuddukanya SACCO.
- Ssemateeka wa SACCO
Omuntu okutunda ebintu mawanga g’ebweru ayita mitendera ki?
Ng’amawanga g’omukago gw’obuvanjuba bw’Afirika, tulina enteekateeka efaanagana mu kufulumya ebyamaguzi, ekitegeeza nti ebyamaguzi bwe biba bifulumizibwa ebweru w’amawanga ago, weetaaga okukyalirako woofiisi ya Export Promotions Board ofune okuluamizibwa ku ngeri y’okubifulumyamu.
Bwe nsasula omusolo omungi okusinga kw’ogwo gwe mmanjibwa nkola ntya?
Bw’osasula omusolo omungi okusinga gw’obanjibwa, waliwo enkola ez’enjawulo mwe tuyita okugonjoola ensonga eno.
- Okusinziira ku kika ky’omusolo gw’osasula okugeza omusolo ku nnyingiza oba ogwa VAT, ensimbi ezo z’osasudde mu bungi obusukkiridde, osobola okuzikozesa okukendeeza ku musolo gw’oba oteekeddwa okusasula mu kiseera ekiddako.
- Mu ngeri endala, osobola okussaamu okusaba okuddizibwa ensimbi ezo ng’oyitira ku mutimbagano oluvannyuma lw’okussaamu ennyanjula ey’ekiseera ensonga eno mw’erabikidde mu kimanyiddwa nga tax refunds, olwo n’oddizibwa ensimbi zo.
Isabirye e Iganga – nayingiza emmotoka okuva e Japan ne ngisasulira omusolo. Nkola ntya okuddizibwa omusolo gwa Withholding tax?
Omusolo gwa Withholding tax guddizibwa abo ababeera baguze emmotoka okuva ebweru w’eggwanga mu mbeera zino wammanga:
- Oteekeddwa okuba nga ennyingiza yo eggyibwa mu musaala ogukuweebwa gwokka, mu bufunze ng’okozesebwa, era ng’oggyibwako omusolo gwa Pay As You Earn (PAYE).
- Bw’oba ng’olina bizinesi, omusolo ogwo gukozesebwa okukendeeza kw’ogwo gw’oba olina okusasula ku nnyingiza ya bizinesi yo.
N’olwekyo, bw’oba weetaaga okuddizibwa ensimbi ezo, nkusaba oleete obukakafu obulaga nti ennyingiza yo eggyibwa mu kukozesebwa kwokka ku woofiisi ya URA ekutwala, olwo ensonga yo ekolebweko.
Singa mba ne bizinesi n’ekola loss, URA embalirira etya ku musolo gw’okusasula?
Omusolo ogusasulwa ku nnyingiza (Income tax) gubalibwa okusinziira ku magoba, nga bizinesi bw’eba ekoze loss nga kirambikiddwa bulungi mu litaani teri musolo gusasulwa mu kiseera ekyo. Wano, loss eno esindikibwa mu kiseera ekiddako, nga bw’otuuka okubala omusolo mu kiseera ekyo, eyambako okukendeeza ku musolo gw’okusasula.
Bizinesi ezikola ku kuziika abafu zisasula emisolo? Era misolo ki egyo?
Bizinesi ekola ku kuziika abafu esasula emisolo gino wammanga:
- Omusolo ku nnyingiza ogumanyiddwa nga Income tax ku magoba g’eba ekoze
- Omusolo gw’abakozi ogumanyiddwa nga Pay As You Earn (PAYE), oguggyibwa ku misaala gy’abakozi ne gusasulwa buli mwezi.
Jjukira nti waliwo obuweerero obwaweebwa bizinesi kika kino ku omusolo gwa VAT nga zino teziggyibwako musolo ogwo ku buweereza bwe zituusa ku bantu.
No Comments yet!