
Ekibiina ekizannya firimu kisasula ssente meka okubaawo nga tekifunye buzibu okuva mu Gavumenti wadde nga tekirina nyingiza ntuufu nga kiyimiriddewo ku bazirakisa (Lawrence Bukenya)
Mwami Bukenya, omusolo guggyibwa ku bizinesi okusinziira ku nnyingiza yaayo. Ekibiina ekizannya firimu bwe kiba kirina amagoba ge kikola kisasula ebitundu 30 ku buli 100 (30%) ku magoba ago. Kyokka bwe watabaawo magoba gakoleddwa, teri musolo gusasulwa ku nnyingiza.
Weetegereze: Newankubadde nga wayinza okuba nga teri musolo gusasulwa ku nnyingiza y’ekibiina ekyo, abakozi baakyo bwe baba basasulwa omusaala ogusukka 235,000 buli mwezi, baggyibwako omusolo okusinziira ku bungi bw’omusaala gwe basasula.
Ng’oggyeeko omusolo ogukungaanyizibwa URA, buli bizinesi eteekeddwa okufuna olukusa lw’okukola emirimu olumanyiddwa nga Trading License okuva mu gavumenti y’ekitundu bizinesi eyo mw’esangibwa okugeza KCCA, ebibuga, munisipaali, Disitulikiti ne Town Council ez’enjawulo, nga wano bizinesi esasulayo akasente akatonotono okuweebwa olukusa olwo.
Lwaki abantu abalina bizinensi entono temutusasuza musolo nga nagwo mutono ku maduuka (ndi Kiboga).
Omuntu yenna okubalibwa ng’alina bizinesi entonotono, eteekeddwa okuba ng’ekola ettuzi eriri waggulu w’obukadde 10 kyokka nga terisukka bukadde 150 mu mwaka. Ono bw’aba ng’akuuma ebiwandiiko bya bizinesi ye asasula omusolo mutono ddala okusinziira ku nnyingiza ye. Wabula bw’aba takuuma biwandiiko, tugeraageranya okusinziira ku bizinesi ye ne tumugerekera. Nkukubiriza okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo weewale okukaluubiririwa mu kusasula omusolo.
Lukwago e Kakiri – Bannange omusolo gwa PAYE gususse obungi era kati kumpi gwe tukolerera. Lwaki temutwogererako ne gukendeera.
Mwami Lukwago, omusolo gwa Pay As You Earn gusasulwa buli muntu alina ennyingiza eva mu kukozesebwa. Ennongoosereza mu mateeka gano zikolebwa Palamenti, awamu ne minisitule y’ebyensimbi, olwo URA n’essa mu nkola ennongoosereza zino. Enkola y’omusolo guno eri nti guwoozebwa okusinziira ku nnyingiza. Oyo ayingiza ekitono, asasula omusolo mutono, kyokka oyo ayingiza ekingi, asasula omusolo ogusingako.
Musuubira mutya okufuna emisolo ng’abantu abandigiwadde ate mubagobaganya ku nguudo nga mukwasisa trade order?
Enteekateeka ya Trade Order yaleetebwa gavumenti n’ekigendererwa ky’okulungamya engeri emirimu gye gikolebwamu okuli okubeera ne bizinesi empandise mu mateeka nga ziddukanyizibwa mu bifo ebitegeerekeka, okukuuma ebibuga byaffe nga biyonjo, ssaako n’okussaawo okuvuganya okw’ekyenkanyi ng’abantu bonna bakolera mu bifo ebirambikiddwa obulungi. Mu ngeri endala, enteekateeka eno eyambako mu kwongeza omusolo ogukungaanyizibwa kubanga bizinesi ziba mpandiise nga n’omusolo gwe zisasula gutegeerekeka bulungi. N’olwekyo, abasuubuzi bakubirizibwa okweyuna ebifo ebirambikiddwa okukoleramu okwewala okutaataaganyizibwa.
Kamisoma nze mbuuza nti ssente obukadde 315 ezigenda okuweebwa buli mubaka mu Palamenti ye 12 okwegulira emmotoka muziggyako omusolo?
Ensimbi eziweebwa ababaka ba Paalamenti okugula emmotoka teziggyibwako musolo okusinziira ku tteeka ly’omusolo ku nnyingiza. Ababaka ba Paalamaenti baggyibwako omusolo ku musaala gwe bafuna gwokka. Ensako endala zonna teziggyibwako musolo. Newankubadde ensimbi zino teziggyibwako musolo mu kiseera we ziweebwa omubaka wa Paalamenti, emmotoka gy’anaagula ya kusasula emisolo egy’enjawulo ng’eyingizibwa mu ggwanga.
Aba URA lwaki temuwabula Gavumenti ku tteeka lya Sovereignity Bill temulaba nga ligenda kubafiiriza emisolo gye mwandifunye ku ssente eziyingira mu ggwanga nga tekuli kkomo?
Ekitongole kya URA kivunaanyizibwa ku kugereka, kukungaanya n’okulaga omusolo ogukungaanyiziddwa ne guweerezabwa mu ggwanika ly’eggwanga (Consolidated Fund). Kuno kugattibwako n’okuwabula gavumenti ku mateeka agakwatagana n’omusolo. Etteeka ery’obwetengereze bw’eggwanga eryaleetebwa era ne liyisibwa mu lukiiko lw’eggwanga olukulu lyafuna okuwabulwa okuva ku njuyi ez’enjawulo okuli ababaka, akulira bbanka ya Uganda enkulu, ebitongole bya bannakyewa n’abantu abalala.
Aba URA nsaba muleme kukoma ku kya kukung’anya misolo kyokka, wabula mulondoole ne ku ngeri gye zikozesebwamu kuba kitumalamu amaanyi okuyita mu lujja nga tumaze okuzibawa?
Obuvunaanyizibwa bwa URA kwe kukungaanya omusolo ne guweerezebwa mu ggwanika ly’eggwanga (Consolidated Fund). Okulondoola ensimbi zino bye zikola kwa bitongole okuli Ssaababalirizi w’eggwanga (Auditor General), Kaliisoliiso w’eggwanga (Inspector General of Government) ssaako n’obukiiko bwa Paalamenti okuli COSASE, Public Accounts Committee n’ebitongole ebirala. Ekitongole kya URA okuweebwa obuvunaanyizibwa bw’okulondoola ensimbi zino kulina kuyita mu tteeka lya Paalamenti.
Lwaki portal yammwe bwoba webuuza ku musolo ng’oyingiza emmotoka mu ggwanga tetwanguyiza kutuddamu?
Neeyanzizza nnyo okutuddiza obubaka ku nkola zaffe ez’okumutimbagano. Nsaba okukutegeeza nti engeri gy’okeberamu omusolo ku kibanja kyaffe y’eno wammanga:
- Kyalira ekibanja kyaffe ku ura.go.ug
- Wansi w’ekibanja kino, nyiga ku kigambo Compute Tax
- Kebera awali Motor Vehicle Import Tax
- Jjuzaamu ebikubuuziddwa, oluvannyuma onyige Submit
Weetegereze: Okwanguyirwa, osabibwa okubeera n’empapula ezoogera ku mmotoka eno, ne gy’eva.
No Comments yet!