
1- Halimah Mpanga e Kassanda: ennyumba ya bapangisa evaamu obukadde 17 omwaka, URA egiggyako omusolo gwenkana ki?
Mukyala Mpanga, ennyumba yo nga ssekinnoomu gy’oggyamu ensimbi obukadde 17 mu kugipangisa, buli mwaka tugibalira omusolo nga bwe kiragiddwa wammanga:
Ku nnyingiza y’ensimbi 17,000,000/=, tufuna ensimbi ezo ne tuzikendeezaako 2,820,000/=, olwo ezisigaddewo neziggyibwako ebitundu 12 ku 100 (12%) ng’omusolo, nga bwe gubalibwa wammanga:
Omugatte gw’ennyingiza = 17,000,000/=
Ezitoolwako (zino teziggyibwako musolo) = 2,820,000/=
Eziggyibwako omusolo = 17,000,000 – 2,820,000 = 14,180,000
= 12% X 14,180,000
Omusolo ogusasulwa guli 1,701,600/=
Jjukira nti ng’omuntu ssekinnoomu, bw’ossaamu ennyanjula buli luvannyuma lwa myezi esatu okuva omwaka gw’eby’ensimbi lwe gutandika okutuuka lwe guggwaako, osasula omusolo ogwo mu bitundutundu bina.
2- Bwogula emmotoka ku nnyondo (auction) nga ya land cruiser hardtop nga teyasasula misolo ng’eyingira mu ggwanga mugibala mutya?
Mu kutunda emmotoka eyalemererwa okusasula omusolo ku nnyondo, gavumenti egendereramu kununula musolo gwe yali erina okusasula. bw’ogula emmotoka eyo ku nnyondo, teri musolo gwe weeyongera kusasula eri gavumenti.
3- Ebipande byokwesimbawo kituufu okubitimba biwa omusolo? Bwe biba biwa gwa mmeka?
Ebipande by’abesimbyewo tebirina musolo gwe bisasuzibwa, kyokka omuntu yenna okutimba ekipande, naddala mu bibuga, ateekeddwa okufuna olukusa okuva eri abatwala ekibuga ekyo.
4- Kituufu nti mulina enteekateeka y’okubala omusolo ku bifo ebitaliimu kikolebwamu naddala mu bibuga?
Ennyingiza eggyibwa mu bibangirizi esasula omusolo oguggyiba ku balina ebipangisibwa. Ng’ekitongole, tetuggya musolo watali nnyingiza. N’olwekyo, teri nteekateeka yonna ya kuggya musolo ku bibangirizi bitalina kikolebwamu.
5- Bantu ba kika ki abatalina kusasula musolo gwa PAYE?
Abantu b’ebika bino wammanga tebasasula musolo guggyibwa ku bakozi, ogumanyiddwa nga Pay As You Earn (PAYE):
- Abakozi abasasulwa omusaala ogutasukka nsimbi 235,000/= buli mwezi.
- Abakozi b’omuwoofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti – jjukira nti abasonyiyibwa omusolo bateekeddwa kuba nga bawaabi bokka, okugeza omubalirizi w’ebitabo mu woofiisi ya ssaabawaabi asasula omusolo guno.
- Abaserikale b’eggye ly’eggwanga erya UPDF
- Abaserikale ba poliisi y’eggwanga
- Abaserikale b’amakomera
- Abakozi b’omu bitongole okuli ekya Internal Security Organisation (ISO) ne External Security Organisation (ESO).
6- Fred Lumbuye: bwe nkola bizinensi n’emala emyaka nga tekola magoba eri mu kufiirizibwa, temusibola kugisonyiwa misolo?
Mwami Lumbuye, URA eggya omusolo ku bizinesi oluvannyuma lw’okufuna ennyingiza n’etoolebwako ensaasaanya mu mwaka, olwo amagoba ne gaggyibwako omusolo. Mu mbeera endala, twesigama ku ttunzi eriba likoleddwa, olwo omusolo ne gugerekebwa okusinziira ku ttunzi eryo. Ng’ekitongole tetuggya musolo ku bizinesi etakola magoba kyokka nannyini bizinesi eyo ateekeddwa okussaamu litaani okulaga nti bizinesi tekola magoba, nga bw’atakikola, teri ngeri gye tuyinza kutegeera nti teyakola magoba.
7- Bakama bange ku mulimu bansalako omusolo gwa PAYE ne Local Service Tax. Nteekeddwa okusasula emisolo gyombi?
Omusolo gwa PAYE gwe guggyibwa ku nnyingiza y’abakozi buli mwezi, nga guno gusasulwa buli mukozi afuna omusaala ogusukka ensimbi 235,000/=. Omusolo gwa Local Service Tax (LST) gwe gwasikira ogw’omutwe (Graduated Tax), nga gusasulwa eri gavumenti ez’ebitundu okugeza KCCA mu Kampala, ne minisitule ya gavumenti z’ebitundu mu bitundu by’eggwanga ebirala. Guno gusasulwa buli mukozi, buli mwaka nga guno guweebwayo mu kitundu omukozi gy’asula, okusobola okuddukanya emirimu gy’ekitundu ekyo. Ng’omukozi, oteekeddwa okusasula omusolo gwa PAYE bw’oba ng’ogwa mu ttuluba ly’abagusasula, wamu ne Local Service Tax (LST) okukulaakulanya ekitundu w’osula.
8- Lwaki ebirime temubiggyako misolo ng’ate abantu abasinga kwe bayimiridde. Kino tekifiiriza ggwanga misolo.
Omukulembeze w’eggwanga yayisa ekiragiro obutaggya musolo ku birime, naddala ababitundira ku luggya oba mu nnimiro, kyokka bwe bituusibwa mu maduuka gye bitundibwa, ababitunda basasula omusolo. Kino kyakolebwa okutumbula ebyobulimi, nga bino eggwanga kweriyimiridde, nekigendererwa ky’okusobozesa abeenyigira mu mulimu guno okufuna ensimbi ezibayimirizaawo.
No Comments yet!