
Lugoloobi e Nsambya – Nsaba kuntangaaza ku nnongoosereza ku muwendo ogw’essalira omuntu gw’ayingiza okusobola okuwandiisibwa ku musolo gwa VAT ez’omwaka guno.
Okusinziira ku nnongoosereza z’omusolo ez’omwaka 2026/2027, ettunzi ery’essalira omuntu ly’akola mu mwaka okusobola okuwandiisibwa ku lukalala lw’abo abasasula omusolo gwa VAT lyaseeseetuddwa okuva ku bukadde 150 okudda ku bukadde 300. N’olwekyo, oyo yenna ataweza bukadde 300 mu ttunzi mu mwaka omulamba, agenda kuwandiikirwa ategeezebwe nti ku lukalala lwa VAT aggyiddwako okuva ku nnaku z’omwezi ezinaamutegeezebwa.
Bintu ki ebitaggyibwako musolo nga biyingizibwa mu Uganda?
Okusinziira ku Schedule 5 ey’etteeka ly’omusolo gwa Kasitomu erimanyiddwa nga East African Community Customs Management Act 2004 nga bweryakolebwamu ennongoosereza, bino wammanga bye bimu ku bitaggyibwako musolo nga biyingizibwa mu ggwanga:
- Ebijimusa ebikozesebwa mu kulima
- Obukoko bw’olunaku olumu
- Ebyamaguzi ebikozesebwa ku pulojekiti z’obugabirizi bw’obuyambi (Aid funded projects goods)
N’ebirala.
Bizinesi empya zikyasonyiyibwa omusolo nga bwe kyali mu nnongoosereza mu mateeka g’omusolo ez’omwaka oguwedde?
Yee. Bizinesi zonna ezaatandikibwawo okuva nga 01 July 2025 zisonyonyibwa omusolo ku nnyingiza bwe ziba zituukiriza obukwakkulizo buno wammanga:
- Kapito waazo talina kusukka bukadde 500
- Bizinesi erina okuba nga nnannyini yo batuuze b’erimu ku mawanga g’omukago gwa East Africa nga ne Uganda mw’ogitwalidde
- Nannyini yo ateekeddwa okuba ng’agissizaamu litaani emanyiddwa nga Business Information Return
- Nnyini yo ateekeddwa okuba nga taganyulwangangako mu kisonyiwo kirala kyonna ku musolo.
Jjukira nti bizinesi kika kino zisonyiyibwa omusolo ku nnyingiza okumala emyaka esa okuva nga 01 July 2025.
Lwaki ebintu ebiva e Kenya mubikwata olw’obutasasula musolo ate ng’eggwanga eryo liri mu mukago n’ogwa East Africa?
Ebyamaguzi ebiva mu limu ku mawanga g’omukago gwa East Africa nga ne Kenya mw’ogitwalidde tebisasuzibwa musologwa Import Duty bwe biba nga ddala byakolebwa mu limu ku mawanga ago. Kyokka, waliwo ebika by’omusolo ebisasulwa okugeza omusolo gwa VAT, ogwa Excise Duty n’ogwa Withholding tax. Jjukira nti oyo yenna ebiyingiza eggwanga ateekeddwa okulaga ekiwandiiko kya Certificate of Oringin nga kino kye kikakasa wa ebyamaguzi ebyo gye byakolerwa (Birina okuba nga byakolerwa mu limu ku mawanga g’omukago gwa East Africa).
Bwemba ne bizinesi empya nga tennakola magoba, litaani kika ki gye ngiteeramu ku nnyingiza? Era bizinesi eno nayo esasula omusolo?
Bw’oba ng’olina bizinesi yonna gy’otandiseewo, okubirizibwa okugiwandiisa n’ekitongole kya URSB n’eweebwa erinnya, okugiwandiisa ne URA ku musolo oluvannyuma n’ogifunira layisinsi. Wano, oba n’obuvunaanyizibwa bw’okussaamu litaani, otusiigire ekifaananyi ku nnyingiza n’ensaasaanya yaayo. Bizinesi yo nga tennakola magoba, osuubirwa okussaamu litaani mu bwesimbu, nga kino kituyambako okulondoola ob’olyawo abo b’okolagana nabo.
Nkola ntya singa mbeera ntambuza ebyamaguzi ne byonoonekera mu kkubo ng’ate amaze okubisasulira omusolo.
Mwami Walugembe, bizinesi yonna bw’oba ogikola, oteekeddwa okumanya kiki ky’osuubula. Bw’oba nga by’osuubula byonooneka mangu, nkusaba okubitambuliza mu mmotoka erimu firiigi. Era bw’olaba ng’ebyamaguzi by’otambuza byonooneka mangu nkusaba okufuna yinsuwa y’ebyamaguzi ebyo. Mu mbeera y’omusolo, ebyamaguzi bwe bikwonoonekako, oteekeddwa okuba n’empapula eziraga nti wabisuubula, oluvannyuma osseemu ennyanjula ya bizinesi yo ng’otulaga bulungi nti waliwo ebyamaguzi ebyayonooneka. Ensimbmi ezo zikendeezebwa kw’ezo okuhggyibwa omusolo, olwo omusolo gw’osasula ne gukendeeramu.
Singa mba n’ennyuma z’abapangisa ne nneesanga nga sifunyeemu bapangisa bamala kumpa nnyingiza esasulwako musolo, nkola ntya okwewala okuweesebwa amagoba n’engassi?
Buli lw’oba n’ennyingiza yonna awatali kwawula oba eggyibwa mu bizinesi oba mu nnyumba z’abapangisa, okubirizibwa okussaamu litaani okulambika URA ku ngeri bizinesi yo gy’etambulamu, nga bwe wabaawo omusolo gw’okusasula oguwaayo eri URA. Bw’oba n’ennyumba z’abapangisa n’otasobola kuggyamu nsimbi ziggyibwako musolo, kakasa nti buli mupangisa omuwa lisiiti ng’obukakafu nti osasudde, omugatte gw’ensimbi ezo gw’ossa mu litaani ng’ennyingiza yo. Ensaasaanya yo nayo olina okugiraga n’obukakafu bwa lisiiti, nga bwe weesanga ng’ensimbi ezo tekuli musolo gwa kusasula, tosasula. Jjukira omusolo guggyibwa ku nnyingiza eyo yokka ekkirizibwa okuguggyibwako mu mateeka.
Nsaba kuntangaaza. Ebyamaguzi ebigwa mu ttuluba lya restricted goods bye biriwa?
Ebyamaguzi ebigwa mu ttuluba lya restricted goods byebyo ebiziyizibwa okuyingizibwa mu ggwanga ng’omuntu yenna takkirizibwa kubiyingiza okuggyako nga waliwo olukusa olw’enjawulo olumuweereddwa ekimu ku bitongole bya gavumenti. Ebyokulabirako kuliko eddagala ly’abantu ery’ebika byonna, ebisolo eby’endyo ez’enjawulo n’ebirala.
No Comments yet!