Buuza Kamisona 28

Lwaki amasomero g’obwanannyini mugaggyako omusolo munene ng’ate gatuyamba okutuusa obuweereza ku bantu?

Amasomero g’obwannannyini, gavumenti gye buvuddeko yagawa ku buweerero olw’omulimu ettendo gwe gatuusa ku banna Uganda nga kino kyamala emyaka etaano (okuva mu 2008 okutuuka mu 2013). Obuweerero buno bwabubaweebwa olw’ensimbi ze baali batadde mu byenjigiriza ekiseera ekyo. Obudde buno, omusolo omukulu ku masomero gwegwo oguwoozebwa ku nnyingiza yaago (Income Tax). Ebika by’omusolo ebirala tebisasulwa masomero butereevu okugeza omusolo ku musaala gw’abakozi b’essomero, ogwa Withholding tax nga guno guggyibwa kw’oyo aba atuusizza obuweereza ku ssomero, ng’omuwendo gw’obuweereza gusukka akakadde kamu. Jjukira nti gavumenti yassa n’obuweerero ku biyamba mu kusomesa ebimu ku nsonga y’omusolo gwa VAT (ku bitundu 0 ku 100 (0%) n’ekigendererwa ky’okufuna ebikozesebwa bino ku nsimbi ensaamusaamu.

Lwaki kampuni ezikola ku kuziika kwabafu tezigibwako musolo? Baba bataasa ki ng’ate nabo bali mu bizinensi?

Kampuni ezikola ku kuwerekera abo Katonda b’ajjuludde zaweebwa obuweerero ku musolo gw’emmotoka ezitambuza emibiri gy’abagenzi mu kiseera we ziyingizibwa egganga, era y’ensonga lwaki ziba n’ennamba emyufu (ennamba z’emmotoka ezisonyiyibwa omusolo). Okusinziira ku tteeka ly’omusolo gwa VAT, obuweereza bwa kampuni ezikola mu kuwerekera abo Katonda b’ajjuludde tebuggyibwako musolo gwa VAT (Exempt). Ensonga lwaki obuweerero buno bwassibwawo kwe kusobola okusikiriza abantu okuyingira obuweereza kika kino obutaali mu ggwanga. Kyokka kkampuni zino zisasula omusolo ku nnyingiza yaazo (Income Tax).

Munsinziira ku ki okugereka layisinsi za bizinensi kuba osanga omuntu alina bizinensi y’obukadde 20 ne 100 nga basasula layisinsi y’emu.

Obuvunaanyizibwa bw’okukuwa olukusa wookolera bizinesi (okugereka layisinsi) bwakwasibwa KCCA mu Kampala ne minisitule ya gavumenti z’ebitundu ng’eyitira mu munisipaali, disitulikiti ne Town council.

Lwaki mufuna amawulire okuva ku bantu abatuliranye ababawa amawulire amakyamu ku bitukwatako ne mutugerekera omusolo mu bukyamu. Ye bwe twekubira enduulu lwakiri mulwawo okukitereeza?

Enkola y’okuwooza omusolo mu ggwanga yeesigamizibwa ku muntu okwebala nga ye olwo n’atwanjulira bizinesi ye bwekoze (self-assessment). Bwe kisangibwa nga waliwo amagoba agaafunikawo, aba alina omusolo gw’alina okusasula. Nannyini bizinesi bwe yeesuulirayo ogwa nnaggamba, ne tufuna okutemezebwako omuntu yenna, tubalirira omusolo ku bizinesi ye nga tuyita mu mateeka oluvannyuma ne tumusaba asasule omusolo oluusi ogubaamu amagoba n’engassi. Omuntu oyo bw’aba alina okwemulugunya ku musolo ogumugerekeddwa, alina eddembe ly’okwekubira enduulu obutasukka nnaku 45 okuva lw’agerekerwa omuwendo gwatakkiriziganya nagwo. Kino kikolebwa okuyita ku kibanja kyaffe (web portal), mu akawunti ye eya TIN. Wano, okuddibwamu kusuubirwa mu nnaku 90 oluvannyuma lw’okufuna okusaba kwe.

Nalina amayumba ga bapangisa e Bwaise kyokka ne gagwa olw’amazzi, kyokka nakati bakyangerekera omusolo? Munyambye mutya?

Tukusaasidde nnyo olw’enjega eyatuuka ku nnyumba zo ez’abapangisa. Nkusaba okwatagane ne woofiisi yaffe esangibwa ku Akamwesi Complex ku luguudo lw’e Gayaza. Ojja kulambulwa okukakasa okutuukawo kw’obuzibu buno, oluvannyuma TIN yo eggyibweko omusolo ku nnyingiza eva mu bipangisibwa (Rental Income Tax). Kino bwe kinaakolebwa, tojja kuddamu kufuna bubaka bufaanana butyo.

Bwe mba njagala okutegeka ekivulu mu nnaku enkulu, nina kuwa misolo kika ki?

Ng’omutegesi w’ebivvulu, sooka weewandiise ku musolo oweebwe TIN. Bw’otegeka ekivvulu, emisolo gino wammanga gye gitunuulirwa:

  • Omusolo ku nnyingiza (Income Tax) nga guno guggyibwa ku magoba
  • Omusolo gwa VAT bw’oba ng’oyingiza ensimbi eziwera obukadde 37.5 mu myezi esatu egyomuddiringanwa oba obukadde 150 mu mwaka, nga guno guwoozebwa ku bitundu 18 ku 100 (18%) ku buli tikiti gy’otunda
  • Omusolo gwa Withholding tax tukusuubira okuguggya kw’abo b’oba opatanye nabo okukuwa obuweereza mu kivvulu okugeza abakupangiza ebidongo, nannyini kifo, abatimbi, obulango bw’oyisa ku mikutu gy’empuliziganya n’abalala.

Twaha Boogere e Nansana – Muyinza kutuyamba mutya ffe abalina bizinensi entono ey’okutunda ebinyebwa n’okusiika emberenge okugiwandiisa mu mateeka kuba simanyi we ntandikira?

Mwami Boogere, weebale kuba na buvunaanyizibwa ku nsonga z’omusolo mu ggwanga. Nkusaba okyalire woofiisi ekutwala (ey’e Nansana) n’endagamuntu yo, owandiisibwe ku musolo, oluvannyuma oweebwe TIN. Abakozi ku woofiisi eyo ba kukulambika engeri gy’olina okutuukiriza obuvunaanyiizibwa bwo ku musolo. Bw’oba weetaaga okumanya ebisingawo, kuba ku nnamba zaffe ezitasasulirwa ku 0800117000 oba 08000217000.

Lwaki abakazi abatunda mu tonninnyira ku makubo batuggyako empooza ya buli lunaku mu kifo ky’okutusasuza omwezi?

Obuvunaanyizibwa bw’okugereka empooza bugwa mu kitongole kya KCCA ne minisitule ya gavumenti ez’ebitundu.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content