Buuza Kamisona 18

Nsaba kuntangaaza oba nga kituufu nti ssente z’ennyumba za bapangisa muzaagala tusasule nga tuyita ku nkola ya EFRIS.

Omusolo oguggyibwa ku nnyingiza ya nannyini kizimbe (landiloodi) gusasulwa ye kennyini. Naye ekizimbe kino bwe kiba nga kipangisibwa kukoleramu bizinesi (Comercial Building), ng’afunamu ensimbi ezisukka obukadde 150 mu mwaka, ateekeddwa okuwandiisibwa ku musolo gwa VAT, ng’era alina okukozesa enkola ya EFRIS ng’agaba e-invoices eri abapangizsa be. Kyokka ku nnyumba ezisulwamu, tekuggyibwa musolo gwa VAT, era nannyini kizimbe abapangisa abawa lisiiti eya bulijjo ng’eraga bino wammanga:

  • Amannya g’omupangisa,
  • Omuwendo gw’ensimbi z’asasudde
  • Emyezi gy’asasulidde
  • Ennyumba we zisangibwa
  • Ne TIN ya landiloodi.

Wabula landiloodi akubirizibwa okweyunga ku nkola ya EFRIS kimwanguyize okugaba e-receipt eri abapangisa be.

Faridah Nakate e Wakiso; Lwaki aba URA temutegekayo ebibalaza wansi mu byalo ne mutubangula ku by’emisolo kuba bingi tetubimanyi ate mmwe mulowooza tuli bagyemu.

Mukyala Nakate, buvunaaanyizibwa bwaffe okusomesa buli omu gyali okusinziira ku bwetaavu bw’alina ku mosolo, era mu lulimi lwe. Nkusaba otuukirire woofiisi ya URA ekuli okumpi esobole okuteekateeka omusomo mu kitundu kyo n’abalala baganyulwe.

Okuva URA lwe mwatandika enkola y’okwesolooleza emisolo okuva wansi mu byalo, kyakosa nnyo enyingiza ya Gavumenti z’ebitundu. Nsaba mukkirize ebitongole bya Gavumenti ebirala nabyo bikole ogwabyo.

Omusolo URA gw’ekungaanya gwegwo ogusasulwa bizinesi entonotono ng’era guno gusinziira ku nnyingiza ya bizinesi mu mwaka. Gavumenti z’ebitundu zikungaanya nsimbi za layisinsi. N’olwekyo weetaaga kubaawo okunnyonnyola abawi ba musolo ku njawulo eri wakati w’ensimbi zino.

Nsaba kumanya omusolo omutuufu gwe musala ku masanyalaze n’amazzi bye tukozesa ewaka kuba byanema okutegeera.

Omusolo ogusasulwa abakozesa amazzi n’amasannyalaze gwe gwa VAT nga gusasulwa ku bitundu 18 ku 100 (18%). Guno gubalibwa okusinziira ku bungi bw’amasannyalaze oba amazzi agakozeseddwa mu mwezi. Ebitongole okuli eky’amazzi n’amasannyalaze bikungaanya omusolo ogwo ne biguweereza eri URA ng’ennaku z’omwezi 15 mu mwezi oguddako tezinnayita.

Waliwo entekateeka URA gy’erina okukendeeza ku kukandaalirira okutera okulabibwaako ng’abasuubuzi beerese konteyina omuli emmaali yabwe ey’okutundibwa mu sizoni ya Ssekukulu? Abasinga tukooye embeera eno naddala ku offiisi zaayo e Nakawa ne Mombasa. 

Enteekateeka weeri okwanguyiza abasuubuzi okusasulira emmaali yaabwe enaatundibwa ku ssekukkulu. Mu nkola eno, abo abayingiza ebyamaguzi mu nkola ya groupage, buli omu aweebwa House Bill ye ne yeesasulira omusolo okusinga okukandaalirizibwa ababa tebannafuna nsibi za kusasulira byamaguzi byabwe. N’abalina konteyina ssekinnoomu baakwanguyizibwa. Kino kya kusoboka kubanga twayongerako abakozi okusobola okukola ku kkonteyina ezo mu budde.

Lwaki omusolo gw’emmotoka ezikolebwa mu nsi endala nga  Girimaani zigyibwaako omusolo mungi okusinga ku gw’emmotoka eziva e Japan?

Emmotoka z’e Bugirimaani ezaakolebwa mu myaka emitonotono e mabega ziggyibwako omusolo mungi ko okusinga kw’ezo ezaakolebwa e Japan mu myaka emingi ezitera okuyingizibwa abasinga obungi mu Uganda. N’olwekyo, genderera omwaka emmotoka gy’otumizza mwe yakolebwa kubanga kye kimu ku bye tusinziirako okugereka omusolo gwazo.

Kamisona nsaba buli muntu alina omugugu agubazise omusolo agutwale nga tebagizza mu container. Banannyini container baddamu ne basaba ssente nga zituuse weetikkulira n’amulemesa okutwala ebintu bye ng’ate amaze okusasula omusolo.

Enkola entuufu eri nti bwe muleetera wamu ebyamaguzi mu nkola emanyiddwa nga groupage, buli musuubuzi aweebwa aweebw House Bill ye ne yeesasulira omusulira omusolo ng’akozesa TIN ye. N’olwekyo, omusolo bwe gumala okusasulwa, teri akkirizibwa kuzza mmali yo mu kkonteyina ku lw’ensonga yonna. Embeera efaanana bw’eti bw’ekutuukako, nkusaba okubire Assistant Commissioner Trade ku nnamba 0772141106.

Biwandiiko ki bye nneetaaga okufuna TIN ya bizinesi yange?

Weetaaga Certificate of Registration okuva mu URSB, n’ekiwandiiko ekikwogerako ng’omuntu ng’eno y’endagamuntu. Bw’oba tolina ndagamuntu, funa ebiwandiiko bibiri ku bino; Passport, Driving Permit, Employment ID, Sitatimenti ya Bbanka ey’emyezi esatu egyakayita ng’ekakasiddwa bbanka n’ebirala. Kuno ogattako ennamba y’essimu esobola okuyitirwako okukutuukako.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content